“Alina Essanyu Omuntu Agumiikiriza ng’Agezesebwa”
1 Abakristaayo bonna balina okwolekagana n’okugezesebwa. (2 Tim. 3:12) Okugezesebwa kuno kuyinza okuba obulwadde, obuzibu bw’eby’enfuna, okukemebwa, okuyigganyizibwa, oba ekintu ekirala kyonna. Setaani atuleetera okugezesebwa okwo ng’alina ekigendererwa eky’okutumalamu amaanyi mu by’omwoyo, okutuleetera okulagajjalira obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo, oba n’okutulemesa okuweereza Katonda. (Yob. 1:9-11) Tuyinza tutya okufuna essanyu bwe tugumiikiriza nga tugezesebwa? 2 Peet. 2:9.
2 Weetegekere Okugezesebwa: Yakuwa atuwadde Ekigambo kye eky’amazima, nga kirimu n’ebyo ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’enjigiriza ze. Bwe tuwuliriza ebyo Yesu by’agamba era ne tubikola, tuba tweteerawo omusingi omunywevu, era ekyo kitusobozesa okwetegekera okugezesebwa. (Luk. 6:47-49) Era waliwo n’ebirala ebituzzaamu amaanyi—baganda baffe Abakristaayo, enkuŋŋaana z’ekibiina, n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebituweebwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Ate era, Katonda atuwadde n’ekirabo eky’okusaba.—Mat. 6:13.
3 Yakuwa era atuwadde essuubi. Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu mu bisuubizo bya Yakuwa, essuubi lyaffe lifuuka ‘essika ery’obulamu, eritabuusibwabuusibwa era erinywevu.’ (Beb. 6:19) Mu biseera bya Baibuli, abantu tebaasaabaliranga mu lyato nga teririiko ssika, obudde ne bwe bwabanga obulungi. Omuyaga bwe gwajjanga, okussa essika kwasobozesanga eryato obutatomera njazi. Mu ngeri y’emu, bwe tunyweza okukkiriza kwaffe kati mu bisuubizo bya Katonda, kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu nga twolekaganye n’embuyaga z’ebizibu. Ebizibu bisobola okujja embagirawo. Wadde nga mu kusooka abantu b’omu Lusitula baasanyukira okubuulira kwa Pawulo ne Balunabba, embeera yakyuka mbagirawo Abayudaaya abaali baziyiza Obukristaayo bwe baatuuka.—Bik. 14:8-19.
4 Obugumiikiriza Buvaamu Essanyu: Bwe tweyongera okubuulira wadde nga tuziyizibwa, tufuna emirembe mu mutima. Tusanyuka bwe tubonyaabonyezebwa ku lwa Kristo. (Bik. 5:40, 41) Bwe tugumiikiriza nga tugezesebwa kituyamba okweyongera okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’obwetoowaze, obuwulize, n’obugumiikiriza. (Ma. 8:16; Beb. 5:8; Yak. 1:2, 3) Okugumiikiriza kutuyigiriza okussa obwesige bwaffe mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye, era n’okumutwala ng’ekiddukiro kyaffe.—Nge. 18:10.
5 Tukimanyi nti okugezesebwa kwa kaseera buseera. (2 Kol. 4:17, 18) Okugezesebwa kutuwa akakisa okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa. Bwe tugumiikiriza nga tugezesebwa, tuwa Yakuwa eky’okuddamu eri Setaani. N’olwekyo, tetuggwaamu maanyi! “Alina essanyu omuntu agumiikiriza ng’agezesebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa, ajja kufuna engule ey’obulamu.”—Yak. 1:12, NW.