ESSUULA ESOOKA
Katonda y’Ani?
1, 2. Bibuuzo ki abantu bye batera okwebuuza?
ABAANA babuuza ebibuuzo bingi. Oyinza okuddamu ebibuuzo bye baba bakubuuzizza, naye era ne bakubuuza nti, ‘Lwaki?’ Ne bw’obaddamu bayinza okwongera ne bakubuuza nti, ‘Naye lwaki?’
2 Ka tube bato oba bakulu, ffenna tuba n’ebibuuzo bye twebuuza. Tuyinza okwebuuza kye tunaalya, kye tunaayambala, oba kye tunaagula. Oba tuyinza okuba nga tulina ebibuuzo ebikulu bye twebuuza ebikwata ku bulamu ne ku biseera eby’omu maaso. Naye bwe tutafuna bya kuddamu bimatiza, tuyinza okulekera awo okunoonya eby’okuddamu.
3. Lwaki abantu bangi balowooza nti tebasobola kufuna bya kuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo bye beebuuza?
3 Bayibuli eddamu ebibuuzo ebikulu ennyo bye twebuuza? Abantu abamu balowooza nti Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo, naye bagamba nti nzibu nnyo okutegeera. Balowooza nti abakulembeze b’amadiini n’abasomesa eddiini be basobola okuddamu ebibuuzo ebyo. Ate abalala bawulira nti kiba kibaswaza okugamba nti tebamanyi bya kuddamu. Ggwe olina ndowooza ki ku nsonga eno?
4, 5. Bibuuzo ki bye weebuuza, era lwaki osaanidde okweyongera okunoonya eby’okuddamu?
4 Oyinza okuba ng’oyagala okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: Lwaki Katonda yantonda? Kiki ekinaantuukako nga nfudde? Ezimu ku ngeri za Katonda ze ziruwa? Yesu, Omuyigiriza omwatiikirivu, yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” (Matayo 7:7) Tolekera awo kunoonya okutuusa ng’ofunye eby’okuddamu ebimatiza.
5 Bw’oneeyongera ‘okunoonya’ eby’okuddamu, ojja kubizuula. Bayibuli eddamu ebibuuzo bye twebuuza era ebiddamu mu ngeri ennyangu okutegeera. (Engero 2:1-5) By’onooyiga bijja kukuleetera essanyu kati, era bijja kukusobozesa okuba n’essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Kati ka twogere ku kibuuzo ekitawaanya abantu bangi.
KATONDA ATUFAAKO OBA TALINA KISA?
6. Lwaki abantu abamu balowooza nti Katonda tabafaako?
6 Abantu bangi balowooza nti Katonda tatufaako. Bagamba nti singa yali atufaako ensi teyandibadde nga bw’eri kati. Ensi ejjudde entalo n’obukyayi, era abantu bangi banakuwavu. Abantu balwala, babonaabona, era bafa. Abamu beebuuza nti, ‘Ddala Katonda bw’aba ng’atufaako, lwaki taggyaawo okubonaabona kuno okuliwo?’
7. (a) Abakulembeze b’amadiini baleetedde batya abantu okulowooza nti Katonda talina kisa? (b) Lwaki tuli bakakafu nti Katonda si ye nsibuko y’ebintu ebibi?
7 Abakulembeze b’amadiini emirundi egimu baleetera abantu okulowooza nti Katonda talina kisa. Ekintu ekibi bwe kibaawo, bagamba nti Katonda bw’atyo bw’aba ayagadde oba nti ebadde nteekateeka ye. Bwe boogera bwe batyo, baba bategeeza nti Katonda y’akireese. Naye Bayibuli egamba nti Katonda si ye nsibuko y’ebintu ebibi. Yakobo 1:13 walaga nti Katonda tagezesa muntu yenna ng’akozesa ebintu ebibi. Wagamba nti: “Omuntu yenna bw’agezesebwanga [oba, bw’akemebwanga] tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’ Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” Kino kitegeeza nti wadde nga Katonda taziyiza bintu bibi kubaawo, si y’abireeta. (Soma Yobu 34:10-12.) Ka tulabeyo ekyokulabirako.
8, 9. Lwaki tekiba kya bwenkanya okugamba nti Katonda y’atuleetera ebizibu bye tufuna? Waayo ekyokulabirako.
8 Lowooza ku muvubuka abeera ne bazadde be. Taata we amwagala nnyo era abaddenga amuyamba okuyiga okusalawo obulungi. Kyokka, ekiseera kituuka omuvubuka oyo n’ajeemera taata we era n’asalawo okuva awaka. Ng’ali eyo gy’agenze, akola ebintu ebibi era agwa mu mitawaana. Wandigambye nti taata we y’avuddeko emitawaana egyo olw’okuba teyamugaana kuva waka? Kya lwatu nedda! (Lukka 15:11-13) Okufaananako taata oyo, Katonda taziyiza bantu bwe basalawo okumujeemera ne bakola ebintu ebibi. N’olwekyo, ekintu ekibi bwe kibaawo, tusaanidde okukijjukira nti Katonda si y’aba akireese. Tekiba kya bwenkanya kunenya Katonda.
9 Katonda alina ensonga lwaki akyaleseewo ebintu ebibi. Ojja kuyiga Bayibuli ky’egamba ku nsonga eyo mu Ssuula ey’ekkumi n’emu. Naye ba mukakafu nti Katonda atwagala nnyo era nti si y’atuleetera ebizibu. Mu butuufu, ye yekka asobola okubiggyawo.—Isaaya 33:2.
10. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Katonda ajja kuzzaawo ebintu byonna abantu ababi bye boonoonye?
10 Katonda mutukuvu. (Isaaya 6:3) Buli ky’akola kiba kirongoofu, kiyonjo, era kirungi, n’olwekyo, tusobola okumwesiga. Abantu bo si bwe batyo bwe bali. Oluusi bakola ebintu ebibi. N’abafuzi abasingayo okuba abeesimbu tebaba na busobozi bwa kuzzaawo ebyo byonna abantu ababi bye baba boonoonye. Katonda y’asingayo okuba ow’amaanyi; tewali amwenkana. Asobola okuzzaawo ebintu byonna abantu ababi bye boonoonye era ajja kubizzaawo. Ajja kuggirawo ddala ebintu ebibi byonna.—Soma Zabbuli 37:9-11.
KATONDA AWULIRA ATYA NG’ABANTU BABONAABONA?
11. Katonda awulira atya bw’alaba ng’obonaabona?
11 Katonda awulira atya bw’alaba embeera eriwo mu nsi n’ebizibu by’olina? Bayibuli egamba nti Katonda “ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28) N’olwekyo tayagalira ddala kulaba bintu bikyamu nga bikolebwa. Tayagala kulaba bantu nga babonaabona. Bayibuli eraga nti mu biseera eby’edda, Katonda ‘yanakuwala mu mutima gwe’ bwe yalaba ng’ebikolwa ebibi biyitiridde mu nsi. (Olubereberye 6:5, 6) Katonda takyukanga. (Malaki 3:6) Bayibuli egamba nti Katonda ‘akufaako.’—Soma 1 Peetero 5:7.
Bayibuli eraga nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna
12, 13. (a) Lwaki twagala abantu abalala, era tuwulira tutya bwe tulaba nga babonaabona? (b) Lwaki tuli bakakafu nti Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya?
12 Bayibuli egamba nti Katonda yatutonda mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:26) Ekyo kitegeeza nti Katonda yatutonda nga tulina engeri ennungi ng’ezize. N’olwekyo, bw’oba ng’owulira bubi okulaba abantu nga babonaabona, Katonda alina okuba ng’awulira bubi nnyo n’okukusinga! Ekyo tukimanya tutya?
13 Bayibuli egamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Okwagala kwe kumukubiriza okukola buli kintu kyonna ky’akola. N’olwekyo, twagala abalala olw’okuba Katonda kwagala. Lowooza ku kino: Singa walina obusobozi, wandiggyeewo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya ebiriwo mu nsi? Awatali kubuusabuusa wandibiggyeewo, kubanga oyagala abantu. Ate ye Katonda wandimusuubidde kukola ki? Olw’okuba alina obusobozi era atwagala, ajja kuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya. Mu butuufu, ebintu byonna Katonda bye yasuubiza ebyogerwako mu nnyanjula y’akatabo kano bijja kutuukirira! Naye okusobola okuba omukakafu nti ebisuubizo ebyo bijja kutuukirira, weetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda.
KATONDA AYAGALA OMUMANYE
Bw’oba oyagala okufuuka mukwano gw’omuntu, omubuulira erinnya lyo. Katonda atutegeeza erinnya lye mu Bayibuli
14. Erinnya lya Katonda y’ani, era lwaki tusaanidde okulikozesa?
14 Bw’oba oyagala okufuuka mukwano gw’omuntu, kiki kye wandisoose okumubuulira? Wandisoose kumubuulira linnya lyo. Katonda alina erinnya? Amadiini mangi gagamba nti erinnya lye ye Katonda oba Mukama, naye ago si mannya. Ebyo bitiibwa butiibwa, nga “kabaka” oba “pulezidenti.” Katonda atutegeeza nti erinnya lye ye Yakuwa. Zabbuli 83:18 wagamba nti: “Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.” Erinnya lya Katonda lisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka emirundi nkumi na nkumi. Yakuwa ayagala omanye erinnya lye era olikozese. Akutegeeza erinnya lye osobole okufuuka mukwano gwe.
15. Erinnya Yakuwa litegeeza ki?
15 Erinnya lya Katonda, Yakuwa, lirina amakulu. Litegeeza nti Katonda asobola okutuukiriza kyonna ky’aba asuubizza era nti asobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Tewali kisobola kumulemesa. Yakuwa yekka y’asobola okuba n’erinnya eryo.a
16, 17. Ebitiibwa, “Omuyinza w’Ebintu Byonna,” ne “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” era ne “Omutonzi” bitegeeza ki?
16 Nga bwe tulabye, Zabbuli 83:18 lwogera bwe luti ku Yakuwa: “Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu.” Ate era, Okubikkulirwa 15:3 wagamba nti: “Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, emirimu gyo mikulu era gyewuunyisa. Kabaka ow’emirembe n’emirembe, amakubo go ga butuukirivu era ga mazima.” Ekitiibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” kitegeeza ki? Kitegeeza nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi. Ate ekitiibwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe” kitegeeza nti abaddewo emirembe n’emirembe. Zabbuli 90:2 lulaga nti abaddewo emirembe gyonna era wa kweyongera okubaawo emirembe gyonna. Ekyo nga kyewuunyisa nnyo!
17 Yakuwa yekka ye Mutonzi. Okubikkulirwa 4:11 wagamba nti: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” Yakuwa ye yatonda ebintu byonna by’oyinza okulowoozaako! Yatonda bamalayika abali mu ggulu, emmunyeenye eziri ku ggulu, ebibala ebiri ku miti, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja.
OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA YAKUWA?
18. Lwaki abantu abamu balowooza nti tebasobola kubeera mikwano gya Katonda, naye Bayibuli eyogera ki ku nsonga eyo?
18 Abantu abamu bwe basoma ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo, bawuniikirira era ne bagamba nti, ‘Katonda alina amaanyi amangi ennyo, ow’ekitiibwa ennyo, era ali ewala ennyo, ddala asobola okuntwala ng’ow’omugaso?’ Naye Katonda ayagala tulowooze bwe tutyo? Nedda. Yakuwa ayagala okuba mukwano gwaffe ow’oku lusegere. Bayibuli egamba nti Katonda “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Katonda ayagala omusemberere era agamba nti naye ajja ‘kukusemberera.’—Yakobo 4:8.
19. (a) Oyinza otya okufuuka mukwano gwa Katonda? (b) Ku ngeri za Yakuwa, eruwa gy’osinga okwagala?
19 Oyinza otya okufuuka mukwano gwa Katonda? Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Weeyongere okuyiga Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa ne Yesu, era ekyo kijja kukusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Ng’ekyokulabirako, twalabye dda nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:16) Naye era alina n’engeri endala ennungi nnyingi. Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘musaasizi era wa kisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima mangi.’ (Okuva 34:6) Yakuwa ‘mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Katonda mugumiikiriza era mwesigwa. (2 Peetero 3:9; Okubikkulirwa 15:4) Bw’oneeyongera okusoma Bayibuli, ojja kumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri ze ennungi.
20-22. (a) Oyinza otya okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda ng’ate tosobola kumulaba? (b) Kiki ky’osaanidde okukola singa wabaawo abaagala okukulemesa okuyiga Bayibuli?
20 Oyinza otya okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda ng’ate tosobola kumulaba? (Yokaana 1:18; 4:24; 1 Timoseewo 1:17) Bw’osoma ebikwata ku Yakuwa mu Bayibuli, osobola okumutegeera obulungi n’aba wa ddala gy’oli. (Zabbuli 27:4; Abaruumi 1:20) Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ojja kweyongera okumwagala era ojja kuwulira ng’ofuuse mukwano gwe.
Bataata baagala nnyo abaana baabwe, naye Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo n’okusingawo
21 Ojja kukitegeera nti Yakuwa ye Kitaffe. (Matayo 6:9) Yatuwa obulamu, era atwagaliza obulamu obusingayo obulungi. Ekyo omuzadde yenna ayagala abaana be ky’abeera abaagaliza. (Zabbuli 36:9) Bayibuli eraga nti osobola okufuuka mukwano gwa Yakuwa. (Yakobo 2:23) Kiteeberezeemu. Yakuwa, Omutonzi w’ebitonde byonna, ayagala obeere mukwano gwe!
22 Abantu abamu bayinza okwagala okukulemesa okuyiga Bayibuli. Bayinza okuba nga batya nti ojja kuva mu ddiini yo. Naye tokkiriza muntu yenna kukulemesa kufuuka mukwano gwa Yakuwa. Ye w’omukwano asinga bonna.
23, 24. (a) Lwaki kikulu okweyongera okubuuza ebibuuzo? (b) Kiki kye tunaayogerako mu ssuula eddako?
23 Nga weeyongera okuyiga Bayibuli, waliwo ebintu ebiyinza okukukaluubirira okutegeera. Totya kubuuza bibuuzo. Yesu yagamba nti tusaanidde okuba abeetoowaze ng’abaana abato. (Matayo 18:2-4) Abaana abato babuuza ebibuuzo bingi. Katonda ayagala ofune eby’okuddamu mu bibuuzo byo. N’olwekyo, weekenneenye bulungi ebyo by’oyiga mu Bayibuli osobole okukakasa nti by’oyiga ge mazima.—Soma Ebikolwa 17:11.
24 Engeri esingayo obulungi ey’okuyigamu ebikwata ku Yakuwa, kwe kuyiga Bayibuli. Mu ssuula eddako, tujja kulaba ensonga lwaki Bayibuli ya njawulo ku bitabo ebirala byonna.
a Bayibuli yo bw’eba nga teriimu linnya Yakuwa, oba bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ku makulu g’erinnya lya Katonda n’enjatula yaalyo, laba Ekyongerezeddwako Na. 1.