LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 4/1 lup. 16-17
  • Katonda y’Ani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda y’Ani?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Katonda y’Ani?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Katonda y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 4/1 lup. 16-17

Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda

Katonda y’Ani?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya ebirowoozo naawe ku by’okuddamu bino.

1. Katonda y’ani?

Katonda ow’amazima ye Mutonzi w’ebintu byonna. Bayibuli emuyita “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” ekitegeeza nti talina ntandikwa era talina nkomerero. (Okubikkulirwa 15:3) Okuva bwe kiri nti Katonda y’Ensibuko y’obulamu, ye yekka gwe tusaanidde okusinza.​—Soma Okubikkulirwa 4:11.

2. Katonda muntu wa ngeri ki?

Tewali n’omu yali alabye Katonda kubanga Mwoyo, ekitegeeza nti obulamu bwe bwa waggulu nnyo okusinga obw’ebitonde ebiri ku nsi. (Yokaana 1:18; 4:24) Engeri za Katonda zeeyolekera mu bintu bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, bwe tufumiitiriza ku bika by’ebibala n’ebimuli eby’enjawulo n’engeri eyeewuunyisa gye byakolebwamu, tulaba okwagala Katonda kw’alina gye tuli awamu n’amagezi ge. Obwaguuga bw’obwengula butuyamba okutegeera amaanyi ga Katonda.​—Soma Abaruumi 1:20.

Tusobola n’okuyiga ebisingawo ku ngeri za Katonda okuva mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etubuulira ebyo Katonda by’ayagala n’ebyo by’atayagala, engeri gy’ayisaamu abantu, era n’enneewulira gy’alina ku bintu ebitali bimu.​—Soma Zabbuli 103:7-10.

3. Katonda alina erinnya?

Yesu yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Wadde nga Katonda alina ebitiibwa bingi, naye alina erinnya limu lyokka. Mu buli lulimi, lyatulwa mu ngeri ya njawulo. Mu Luganda erinnya lya Katonda ye “Yakuwa.”​—Soma Zabbuli 83:18.

Mu Bayibuli ezisinga obungi erinnya lya Katonda lyaggibwamu era mu kifo kyalyo ne muteekebwamu ebitiibwa, Mukama oba Katonda. Naye Bayibuli bwe yawandiikibwa, erinnya lya Katonda lyalimu emirundi nga 7,000. Yesu yamanyisa abantu erinnya lya Katonda ng’alikozesa bwe yabanga abannyonnyola Ekigambo kya Katonda. Yayamba abantu okumanya Katonda.​—Soma Yokaana 17:26.

4. Yakuwa atufaako?

Yakuwa alaga nti atufaako nga ye kennyini y’awuliriza okusaba kwaffe. (Zabbuli 65:2) Olw’okuba waliwo okubonaabona kungi, ekyo kiba kitegeeza nti Katonda tatufaako? Abantu bangi bagamba nti Katonda atuleetera okubonaabona asobole okutugezesa, naye ekyo si kituufu. Bayibuli egamba nti: “Mazima Katonda taakolenga bubi.”​—Yobu 34:12; Soma Yakobo 1:13.

Katonda awadde abantu ekitiibwa ng’abawa eddembe ery’okwesalirawo. Tetusiima ddembe lye tulina ery’okwesalirawo okuweereza Katonda? (Yoswa 24:15) Waliwo okubonaabona kungi olw’okuba abantu bangi basalawo okukola bannaabwe ebintu ebikyamu. Kinakuwaza nnyo Yakuwa bw’alaba obutali bwenkanya ng’obwo.​—Soma Olubereberye 6:5, 6.

Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukozesa Yesu okuggyawo okubonaabona awamu n’abo abakuleeta. Mu kiseera kino, Yakuwa alina ensonga ennungi lwaki akkirizza okubonaabona okubeerawo okumala ekiseera kitono. Ekitundu ekinnyonnyola ensonga lwaki Katonda akkirizza okubonaabona okubaawo kye kimu ku bitundu ebinaafulumira mu magazini eno gye bujjako awo.​—Soma Isaaya 11:4.

5. Katonda atwetaagisa ki?

Yakuwa yatutonda nga tulina obusobozi obw’okumumanya n’okumwagala. Ayagala tuyige amazima agamukwatako. (1 Timoseewo 2:4) Bwe tusoma Bayibuli, tumanya Katonda era ne kitusobozesa okufuuka mikwano gye.​—Soma Engero 2:4, 5.

Okuva bwe kiri nti Yakuwa atuwadde obulamu, tusaanidde okumwagala okusinga omuntu omulala yenna. Tusobola okulaga Katonda nti tumwagala nga twogera naye okuyitira mu kusaba era nga tukola ebyo by’atwetaagisa. (Engero 15:8) Yakuwa ayagala tuyise abantu abalala mu ngeri ey’okwagala.​—Soma Makko 12:29, 30; 1 Yokaana 5:3.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 1 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Waliwo ensonga ennungi eyinza okuleetera omuzadde okuleka omwana we okuyita mu bulumi okumala akaseera?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share