LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 34 lup. 84-lup. 85 kat. 2
  • Gidiyoni Yawangula Abamidiyaani

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Gidiyoni Yawangula Abamidiyaani
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Gidyoni n’Abasajja Be 300
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abakadde Muyigire ku Gidiyoni
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yakuwa—Mukwano Gwaffe Asingayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Genda n’Amaanyi g’Olina”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 34 lup. 84-lup. 85 kat. 2
Gidiyoni n’abasajja be nga bafuuwa amakondeere, nga baasa ebibya, nga bawuuba emimuli, era nga baleekaana

ESSOMO 34

Gidiyoni Yawangula Abamidiyaani

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abayisirayiri baddamu ne bava ku Yakuwa ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Bwe kityo, okumala emyaka musanvu, Abamidiyaani babbanga ensolo z’Abayisirayiri era ne boonoona n’ebirime byabwe. Okusobola okwetaasa Abamidiyaani, Abayisirayiri beekwekanga mu mpuku ne mu nsozi. Abayisirayiri baasaba Yakuwa abayambe. Yakuwa yatuma malayika we eri omuvubuka ayitibwa Gidiyoni. Malayika yagamba Gidiyoni nti: ‘Yakuwa akulonze okubeera omulwanyi ow’amaanyi.’ Gidiyoni yabuuza malayika nti: ‘Nnyinza ntya okununula Isirayiri? Nze sirina bwe ndi.’

Gidiyoni yanditegedde atya nti Yakuwa yali amulonze? Gidiyoni yateeka ebyoya by’endiga ku ttaka n’agamba Yakuwa nti: ‘Bwe bunaakya ng’omusulo guli ku byoya by’endiga kwokka naye ng’ettaka lyonna kkalu, nja kukimanya nti oyagala nnunule Isirayiri.’ Bwe bwakya, Gidiyoni yalaba ng’ebyoya by’endiga bibisi ate ng’ettaka lyonna kkalu! Naye era Gidiyoni yasaba Yakuwa nti enkeera ebyoya by’endiga bibe bikalu ate ettaka lyonna libe bbisi. Bwe kityo bwe kyali, era ekyo kyakakasa Gidiyoni nti Yakuwa yali amulonze. Gidiyoni yakuŋŋaanya abasirikale be okugenda okulwanyisa Abamidiyaani.

Yakuwa yagamba Gidiyoni nti: ‘Nja kusobozesa Abayisirayiri okuwangula olutalo. Naye olw’okuba olina abasirikale bangi, muyinza okulowooza nti olutalo muluwangudde mu maanyi gammwe. Gamba abantu nti buli awulira nti atidde addeyo ewuwe.’ Bwe kityo, abasirikale 22,000 baddayo ewaabwe, era Gidiyoni n’asigaza abasirikale 10,000. Oluvannyuma Yakuwa yamugamba nti: ‘Abasirikale b’olina bakyali bangi nnyo. Batwale ku mugga obagambe banywe amazzi. Abo bokka abanaanywa amazzi ng’eno bwe batunula okulaba obanga waliwo omulabe ajja, b’ojja okusigaza.’ Abasajja 300 bokka be baanywa amazzi nga bali bulindaala. Yakuwa yamusuubiza nti abasajja abo abatono baali bagenda kuwangula abasirikale Abamidiyaani 135,000.

Ekiro ekyo, Yakuwa yagamba Gidiyoni nti: ‘Ekiseera kituuse okulumba Abamidiyaani!’ Gidiyoni yawa abasajja be eŋŋombe n’ensumbi ennene ezaalimu emimuli. Gidiyoni yabagamba nti: ‘Muntunuulire, kye nkola nammwe kye muba mukola.’ Gidiyoni yafuuwa eŋŋombe ye, n’ayasa ensumbi ye, era n’awuubawuuba omumuli ogwaka, n’aleekaana nti: ‘Ekitala kya Yakuwa n’ekya Gidiyoni!’ Abasajja bonna 300 nabo baakola bwe batyo. Abamidiyaani baatya nnyo ne batandika okudduka. Mu kakyankalano ako, baatandika okuttiŋŋana. Ne ku mulundi guno, Yakuwa yayamba Abayisirayiri okuwangula abalabe baabwe.

Abasirikale ba Midiyaani nga batidde

“Amaanyi agasinga ku ga bulijjo galyoke gabeere ga Katonda so si gaffe.”​—2 Abakkolinso 4:7

Ebibuuzo: Yakuwa yakakasa atya Gidiyoni nti yali amulonze? Lwaki Gidiyoni yalina abasajja 300 bokka?

Ekyabalamuzi 6:1–16; 6:36–7:25; 8:28

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share