EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Genda n’Amaanyi g’Olina”
Yakuwa yawa Gidiyoni omulimu ogutaali mwangu (Bal 6:2-6, 14)
Gidiyoni yawulira nga talina bisaanyizo kukola mulimu ogwo, era nga tasaanira (Bal 6:15; w02 3/1 lup. 6-7)
Yakuwa yayamba Gidiyoni n’asobola okukola omulimu ogwo (Bal 7:19-22; w05-E 7/15 lup. 16 ¶3)
Yakuwa atusuubira okukozesa amaanyi ge tulina okusobola okumuweereza. Omwoyo gwe omutukuvu gusobola okutwongera amaanyi ne tusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe.—Is 40:30, 31.