LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 35 lup. 86-lup. 87 kat. 1
  • Kaana Asaba Katonda Afune Omwana ow’Obulenzi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kaana Asaba Katonda Afune Omwana ow’Obulenzi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yategeeza Katonda Ebyamuli ku Mutima
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Leka Yakuwa Akugumye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Omulenzi Omuto Aweereza Katonda
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Emikisa gya Yakuwa Ginaakutuukako?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 35 lup. 86-lup. 87 kat. 1
Kaana ng’aleese Samwiri ku weema entukuvu era ng’amukwasa Eli

ESSOMO 35

Kaana Asaba Katonda Afune Omwana ow’Obulenzi

Waaliwo omusajja Omuyisirayiri ayitibwa Erukaana eyalina abakazi babiri. Omu ku bakazi abo yali ayitibwa Kaana ate ng’omulala ayitibwa Penina. Naye yali asinga kwagala Kaana. Penina yayeeyanga Kaana buli kiseera olw’okuba Kaana yali tazaala ate nga ye Penina yalina abaana bangi. Buli mwaka, Erukaana yatwalanga ab’omu maka ge okusinza ku weema entukuvu e Siiro. Lumu bwe baali e Siiro, Erukaana yakiraba nti Kaana yali munakuwavu nnyo. Yagamba Kaana nti: ‘Kaana, tokaaba. Nkwagala nnyo.’

Oluvannyuma, Kaana yavaawo n’agenda yekka okusaba. Yasaba Yakuwa amuyambe era yasaba nga bw’akaaba. Yasuubiza Yakuwa nti: ‘Yakuwa, bw’onoompa omwana ow’obulenzi, nja kumukuwa akuweereze obulamu bwe bwonna.’

Eli kabona asinga obukulu ng’atunuulira Kaana; Kaana asaba nga bw’akaaba

Eli, Kabona Asinga Obukulu, bwe yalaba Kaana ng’akaaba yalowooza nti yali atamidde. Kaana yagamba Eli nti: ‘Mukama wange, sitamidde. Nnina ekizibu eky’amaanyi, era nkitegeeza Yakuwa.’ Eli yakiraba nti yali ategedde bubi Kaana era n’agamba Kaana nti: ‘Katonda k’akuwe ky’oyagala.’ Kaana yawulira bulungi era n’avaawo n’agenda. Mu mwaka nga gumu, Kaana yazaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Samwiri. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Kaana!

Kaana teyeerabira kye yasuubiza Yakuwa. Bwe yamala okuggya Samwiri ku mabeere, yamutwala okuweereza ku weema entukuvu. Kaana yagamba Eli nti: ‘Ono ye mwana ow’obulenzi gwe nnasaba Yakuwa. Mmuwaddeyo aweereze Yakuwa obulamu bwe bwonna.’ Erukaana ne Kaana baakyaliranga Samwiri buli mwaka era baamutwaliranga ekizibaawo ekitaliiko mikono. Yakuwa yasobozesa Kaana okuzaala abaana abalala basatu ab’obulenzi n’ab’obuwala babiri.

“Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula.”​—Matayo 7:7

Ebibuuzo: Kiki ekyali kireetedde Kaana okunakuwala? Yakuwa yawa atya Kaana emikisa?

1 Samwiri 1:1–2:11, 18-21

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share