Emikisa gya Yakuwa Ginaakutuukako?
“N’emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo.”—EKYAMATEEKA 28:2.
1. Kiki ekyandisinziddwako Abaisiraeri okufuna emikisa oba ebikolimo?
NGA basemberedde enkomerero y’olugendo lwabwe olw’emyaka 40 mu ddungu, Abaisiraeri baali basiisidde ku Nsenyi za Mowaabu. Baali banaatera okutuuka mu Nsi Ensuubize. Awo, Musa yawandiika ekitabo Ekyamateeka, ekyalaga emikisa egitali gimu n’ebikolimo. Singa Abaisiraeri ‘beeyongera okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa,’ nga bamugondera, ‘bandifunye’ emikisa. Yakuwa yabaagala nnyo ‘ng’eggwanga lye ery’envuma,’ era yayagala okwolesa amaanyi ge ku lwabwe. Naye singa tebandyeyongedde kumuwuliriza, ebikolimo tebyandiremye kubatuukako.—Ekyamateeka 8:10-14; 26:18; 28:2, 15.
2. Makulu ki agali mu bigambo by’Olwebbulaniya ‘okuwulirizanga’ ne ‘okutuukako,’ ebikozeseddwa mu Ekyamateeka 28:2?
2 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ‘okuwulirizanga,’ ekikozeseddwa mu Ekyamateeka 28:2, kitegeeza okweyongera okukola ekintu. Abantu ba Yakuwa tebalina kumuwuliriza bwa lumu, wabula bateekwa okumuwuliriza obulamu bwabwe bwonna. Olwo nno, lwe bandifunye emikisa gya Yakuwa. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivuunuddwa ‘okutuukako,’ kikwataganyizibwa n’okuyigga, ng’emirundi egisinga kirina amakulu ‘g’okusanga’ oba okukwata.
3. Tuyinza tutya okuba nga Yoswa, era lwaki ekyo kikulu nnyo?
3 Yoswa, omukulembeze Omuisiraeri, yalondawo okuwuliriza Yakuwa era n’afuna emikisa. Yoswa yagamba: “Mulonde leero gwe munaaweerezanga . . . Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” Awo abantu ne baddamu nti: “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala.” (Yoswa 24:15, 16) Olw’okuba Yoswa yalina endowooza ennungi, yali omu ku bantu ab’emyaka gye abaatuuka mu Nsi Ensuubize. Leero, tuli ku njegoyego y’Ensi Ensuubize esingawo, nga lwe lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu yo, emikisa mingi okusinga n’egyo egyali mu kiseera kya Yoswa, girindiridde abo abasiimibwa Katonda. Emikisa bwe gityo ginaakutuukako? Gijja kukutuukako singa oneeyongera okuwuliriza Yakuwa. Okukuyamba okunyweza obumalirivu bwo okukikola, weekenneenye ebyafaayo by’eggwanga lya Isiraeri ey’edda n’ebyokulabirako eby’abantu kinnoomu ebiyigiriza.—Abaruumi 15:4.
Mikisa oba Bikolimo?
4. Nga Katonda addamu okusaba kwa Sulemaani, kiki kye yamuwa, era twanditutte tutya emikisa ng’egyo?
4 Kumpi mu bufuzi bwonna obwa Kabaka Sulemaani, Abaisiraeri baafuna emikisa egitali gya bulijjo okuva eri Yakuwa. Baalina obutebenkevu n’ebintu ebirungi mu bungi. (1 Bassekabaka 4:25) Wadde ng’obugagga bwa Sulemaani bwamanyika nnyo, yali tasabye Katonda kubumuwa. Okuleka ekyo, ng’akyali muto era nga talina bumanyirivu, yali asabye abeere muwulize—okusaba Yakuwa kwe yaddamu ng’amuwa amagezi n’okutegeera. Kino kyayamba Sulemaani okulamula obulungi abantu, ng’ayawulawo ekirungi n’ekibi. Wadde nga Katonda yamuwa obugagga n’ekitiibwa, ng’omuvubuka, Sulemaani yasiima nnyo omugaso gw’eby’obugagga eby’omwoyo. (1 Bassekabaka 3:9-13) Ka kibe nti tulina eby’obugagga bingi oba bitono, nga tuba basanyufu nnyo bwe tufuna emikisa gya Yakuwa era ne tuba bagagga mu by’omwoyo!
5. Kiki ekyabaawo abantu ba Isiraeri ne Yuda bwe baalemererwa okuwuliriza Yakuwa?
5 Abaisiraeri baalemererwa okusiima emikisa gya Yakuwa. Olw’okuba tebeeyongera kumuwuliriza, ebikolimo ebyalagulwa byabatuukako. Kino kyaviirako okuwangulwa abalabe baabwe era n’abantu ba Isiraeri ne Yuda okuwaŋŋangusibwa. (Ekyamateeka 28:36; 2 Bassekabaka 17:22, 23; 2 Ebyomumirembe 36:17-20) Abantu ba Katonda baayigira ku kubonaabona okwo ne bamanya nti emikisa gya Katonda gituuka ku abo bokka abeeyongera okumuwuliriza? Ensigalira y’Abayudaaya abaakomawo mu nsi ya boobwe mu 537 B.C.E., baalina omukisa okulaga oba nga baali bafunye ‘omutima ogw’amagezi,’ nga kati balaba obwetaavu bw’okweyongera okuwuliriza Katonda.—Zabbuli 90:12.
6. (a) Lwaki Yakuwa yatuma Kaggayi ne Zekkaliya okulagula eri abantu be? (b) Musingi ki ogweyoleka mu bubaka bwa Katonda okuyitira mu Kaggayi?
6 Abayudaaya abakomezeddwawo ku butaka baazimba ekyoto era ne batandika okuzimba yeekaalu y’omu Yerusaalemi. Naye okuziyiza okw’amaanyi bwe kwabalukawo, obunyiikivu bwabwe bwaddirira era n’okuzimba ne kuyimirira. (Ezera 3:1-3, 10; 4:1-4, 23, 24) Baatandika okukulembeza eby’okwejalabya. N’olwekyo, Katonda yatuma bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya okukubiriza abantu be okuddamu okunyiikirira okusinza okw’amazima. Okuyitira mu Kaggayi, Yakuwa yagamba: “Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno ng’ebeerera awo ng’erekeddwawo? . . . Mulowooze amakubo gammwe. Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; . . . N’oyo afuna empeera afuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.” (Kaggayi 1:4-6) Okwesamba eby’omwoyo okusobola okunoonya eby’obugagga, tekivaamu mikisa gya Yakuwa.—Lukka 12:15-21.
7. Lwaki Yakuwa yagamba Abayudaaya: “Mulowooze amakubo gammwe”?
7 Nga beemalidde ku bintu ebya bulijjo, Abayudaaya baali beerabidde nti emikisa gya Katonda ng’enkuba n’ebiseera ebirungi ebibaza emmere, byandibatuuseeko singa beeyongera okuweereza Katonda n’obwesigwa, wadde ne mu kuziyizibwa. (Kaggayi 1:9-11) N’olwekyo, ng’okubuulirira kuno kutuukirawo bulungi: “Mulowooze amakubo gammwe.”! (Kaggayi 1:7) Mu butuufu, Yakuwa yali abagamba: ‘Mufumiitirize! Mulabe akakwate akali wakati w’okufuba kwammwe mu massamba gammwe omutavudde kalungi, n’embeera embi ey’ennyumba yange ey’okusinzizaamu.’ Mu nkomerero, ebigambo bya bannabbi ba Yakuwa ebyaluŋŋamizibwa, byatuuka ku mitima gy’abaali babawuliriza, kubanga abantu baddamu buto okuzimba yeekaalu era ne bagimaliriza mu 515 B.C.E.
8. Kubuulirira ki Yakuwa kwe yawa Abayudaaya mu kiseera kya Malaki, era lwaki?
8 Oluvannyuma, mu biseera bya nnabbi Malaki, Abayudaaya baddamu nate okuddirira mu by’omwoyo, ne batuuka n’okuwaayo ebiweebwayo ebitakkirizibwa mu maaso ga Katonda. (Malaki 1:6-8) Bwe kityo, Yakuwa yabakubiriza okuleeta ekitundu eky’ekkumi eky’ebibala byabwe mu ggwanika lye, era bamukeme balabe oba nga taabaggulirewo bituli eby’omu ggulu n’abafukira omukisa, okutuusa nga tewakyaliwo ayagala. (Malaki 3:10) Nga kyali kya busiru Abayudaaya okunyiikirira okukolerera ebintu byennyini Katonda bye yali asobola okubawa mu bungi, singa baali beeyongedde okuwuliriza eddoboozi lye!—2 Ebyomumirembe 31:10.
9. Bulamu bwa bantu ki abasatu aboogerwako mu Baibuli bwe tujja okwekenneenya?
9 Ng’oggyeko okwogera ku byafaayo by’eggwanga lya Isiraeri, era Baibuli eraga obulamu bw’abantu kinnoomu abaafuna emikisa gya Katonda oba ebikolimo, okusinziira ku ngeri gye baawulirizaamu eddoboozi lya Yakuwa. Ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku bantu basatunga be Bowaazi, Nabali ne Kaana. Ku nsonga eno, oyinza okusoma ekitabo kya Luusi, 1 Samwiri 1:1–2:21, ne 1 Samwiri 25:2-42.
Bowaazi Yawuliriza Katonda
10. Bowaazi ne Nabali baali bafaanaganya bintu ki?
10 Wadde nga Bowaazi ne Nabali tebaaliwo mu kiseera kye kimu, baalina bye baali bafaanaganya. Ng’ekyokulabirako, abasajja bano bombi baali babeera mu nsi ya Yuda. Baali bagagga nga balina amataka, era bombi baalina omukisa okulaga ekisa omuntu eyali mu bwetaavu. Kyokka, bye bafaanaganya awo we bikoma.
11. Bowaazi yalaga atya nti yawulirizanga Yakuwa?
11 Bowaazi yaliwo mu kiseera ky’abalamuzi b’omu Isiraeri. Yawanga abalala ekitiibwa, era n’abakunguzi be baamussangamu nnyo ekitiibwa. (Luusi 2:4) Ng’agondera Amateeka, Bowaazi yakakasanga nti mu nnimiro ye, ensigalira y’ebikunguddwa erekerwa abanaku n’abaavu. (Eby’Abaleevi 19:9, 10) Bowaazi yakola ki bwe yateegeera ebikwata ku Luusi ne Nawomi, era n’alaba nga Luusi afuba okulabirira nnyazaala we eyali akaddiye? Yalaga okufaayo okw’enjawulo eri Luusi era n’alagira abasajja be okumuleka akuŋŋaanye ensigalira y’ebikunguddwa mu nnimiro ye. Mu bigambo era ne mu bikolwa bye eby’okwagala, Bowaazi yakiraga nti yali musajja afaayo ku by’omwoyo era eyawulirizanga Yakuwa. Bwe kityo, yasiimibwa Katonda era n’afuna emikisa gye.—Eby’Abaleevi 19:18; Luusi 2:5-16.
12, 13. (a) Bowaazi yalaga atya nti afaayo nnyo ku tteeka lya Yakuwa ery’okununula? (b) Mikisa ki okuva ewa Katonda Bowaazi gye yafuna?
12 Obujulizi obwenkukunala obulaga nti Bowaazi yawulirizanga Yakuwa, y’engeri ey’obuteerowoozaako gye yeeyisaamu ku bikwata ku tteeka lya Katonda ery’okununula. Bowaazi yakola kyonna ekisoboka okukakasa nti obusika bwa Erimereki gwe yalinako oluganda era nga ye yali bba wa Nawomi, busigala mu maka ga Erimereki. Ng’empisa bwe yali, nnamwandu yalinanga okufumbirwa muganda w’omufu ow’oku lusegere ennyo, ne kiba nti omwana omulenzi gwe bazaala, asobola okusigaza obusika. (Ekyamateeka 25:5-10; Eby’Abaleevi 25:47-49) Luusi yeewaayo okufumbirwa mu kifo kya Nawomi eyali asusse emyaka egy’okuzaala. Oluvannyuma lw’ow’oluganda wa Erimereki ow’oku lusegere okugaana okuyamba Nawomi, Bowaazi yawasa Luusi. Mutabani waabwe, Obedi, yatwalibwa ng’owa Nawomi era omusika wa Erimereki omutuufu.—Luusi 2:19, 20; 4:1, 6, 9, 13-16.
13 Bowaazi yafuna emikisa mingi olw’okugondera etteeka lya Katonda mu ngeri ey’obuteerowoozaako. Okuyitira mu mutabani waabwe Obedi, ye ne Luusi baafuna enkizo ey’okubeera bajjajja ba Yesu Kristo. (Luusi 2:12; 4:13, 21, 22; Matayo 1:1, 5, 6) Kye tuyigira ku bikolwa bya Bowaazi eby’obuteerowoozaako, kiri nti emikisa gituuka ku abo abalaga okwagala eri abalala, era ne bakolera ku Katonda by’abeetaagisa.
Nabali Teyawuliriza
14. Nabali yali muntu nnabaki?
14 Okwawukana ku Bowaazi, Nabali teyawuliriza Yakuwa. Teyakolera ku tteeka lya Katonda erigamba: “Onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Eby’Abaleevi 19:18) Nabali yali tafaayo ku bintu eby’omwoyo. Yali “wa kkabyo era [nga] mubi mu bikolwa bye.” N’abasajja be bennyini baamutwala okuba ‘omusajja omusirusiru.’ Nga kituukirawo bulungi, erinnya lye, Nabali, litegeeza “omusirusiru.” (1 Samwiri 25:3, 17, 25) N’olwekyo, Nabali yandyeyisizza atya ng’afunye omukisa okulaga ekisa eri omuntu ali mu bwetaavu—Dawudi omulonde wa Yakuwa?—1 Samwiri 16:13.
15. Nabali yayisa atya Dawudi, era mu kino, Abbigayiri yali atya ow’enjawulo ku bbaawe?
15 Bwe baali nga basiisidde okumpi n’ebisibo bya Nabali, Dawudi n’abasajja be baabikuuma okuva ku banyazi awatali kusaba kusasulwa kwonna. Omu ku basumba ba Nabali yagamba: “Baabanga bbugwe gye tuli emisana n’ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga.” Kyokka, abasajja ba Dawudi bwe baasaba okubawa ku mmere, Nabali ‘yabavuma’ era baddayo ngalo nsa. (1 Samwiri 25:2-16) Kyokka, amangu ddala mukyala wa Nabali, Abbigayiri, yatwalira Dawudi emmere. Nga munyiivu nnyo, Dawudi yali abulako katono okusaanyaawo Nabali n’abasajja be. Bwe kityo, Abbigayiri okubaako ky’akolawo, kyawonya obulamu bw’abantu bangi era ne kikugira Dawudi okuyiwa omusaayi. Kyokka, omululu gwa Nabali n’ekkabyo byali biyitiridde. Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, “Mukama n’alwaza Nabali n’afa.”—1 Samwiri 25:18-38.
16. Tuyinza tutya okukoppa Bowaazi ate ne twesamba ebikolwa ebibi ebya Nabali?
16 Ng’enjawulo yali ya maanyi nnyo wakati wa Bowaazi ne Nabali! Ka twesambe ekkabyo n’okwerowoozaako ebya Nabali, ate tukoppe ekisa n’obuteerowoozaako ebya Bowaazi. (Abaebbulaniya 13:16) Ekyo tuyinza okukikola nga tussa mu nkola okubuulirira kw’omutume Pawulo: “Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Leero, ‘ab’endiga endala,’— Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, balina enkizo okukola obulungi abalonde ba Yakuwa—ensigalira ya 144,000, abajja okuweebwa obulamu obutafa mu ggulu. (Yokaana 10:16; 1 Abakkolinso 15:50-53; Okubikkulirwa 14:1, 4) Yesu atwala ebikolwa bwe bityo eby’okwagala ng’ebikoleddwa eri ye kennyini, era okukola ebikolwa ebyo ebirungi, kivaamu okuweebwa Yakuwa emikisa mingi.—Matayo 25:34-40; 1 Yokaana 3:18.
Okugezesebwa kwa Kaana n’Emikisa Gye Yafuna
17. Bigezo ki Kaana bye yayolekagana nabyo, era yayoleka ndowooza ki?
17 Era, Kaana, omukazi eyali atya Katonda, yafuna emikisa gya Yakuwa. Yali abeera mu nsozi za Efulayimu ne bba Erukaana, Omuleevi. Nga kituukagana n’Amateeka, Erukaana yalina omukyala omulala ayitibwa Penina. Kaana yali mugumba, ekyali ekivume eri omukyala Omuisiraeri, ate nga Penina yalina abaana abawerako. (1 Samwiri 1:1-3; 1 Ebyomumirembe 6:16, 33, 34) Kyokka, mu kifo kya Penina okubudaabuda Kaana, yamunakuwaza n’atuuka n’okukaaba n’okulemererwa okulya. Era kino kyabangawo ‘buli mwaka,’ amaka bwe gaagendanga e Siiro awali ennyumba ya Yakuwa. (1 Samwiri 1:4-8) Nga Penina yalaga ettima, era nga kwali kugezesebwa kwa maanyi nnyo eri Kaana! Naye, Kaana teyavunaana Yakuwa, wadde okusigala eka ng’omwami we agenze e Siiro. Kyokka, yali wa kutuukibwako omukisa ogw’amaanyi mu nkomerero.
18. Kyakulabirako ki Kaana kye yateekawo?
18 Kaana yateekawo ekyokulabirako ekirungi eri abantu ba Yakuwa leero, naddala abo abayinza okuba nga bakoseddwa ebigambo by’abalala. Mu mbeera ng’eyo, tekigasa okweyawula ku balala. (Engero 18:1) Kaana teyaganya bigezo bye yalina okumulemesa okubeera gye baayigiririzanga Ekigambo kya Katonda era ne we baakuŋŋaaniranga okumusinza. Bwe kityo, yasigala nga munywevu mu by’omwoyo. Embeera ye ennungi ey’eby’omwoyo eragibwa mu kusaba kwe okuli mu 1 Samwiri 2:1-10.a
19. Tuyinza kulaga tutya nti tusiima ebintu eby’omwoyo?
19 Ng’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, tetusinziza mu weema ye. Wadde kiri kityo, tusobola okulaga nti tusiima ebintu eby’omwoyo nga Kaana bwe yakola. Ng’ekyokulabirako, tusobola okulaga nti tusiimira ddala eby’obugagga eby’eby’omwoyo nga tubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ennene n’entono obutayosa. Ka tukozese enkuŋŋaana ezo okuzziŋŋanamu amaanyi mu kusinza kwa Yakuwa okw’amazima, atuwadde enkizo ‘ey’okumuweereza nga tetuliiko kye tutya, mu butukuvu ne mu butuukirivu.’—Lukka 1:74, 75; Abaebbulaniya 10:24, 25.
20, 21. Kaana yafuna mikisa ki olw’okwemalira ku Katonda?
20 Yakuwa yakiraba nti Kaana yali amwagala nnyo era n’amuwa emikisa mingi. Ku lumu ku ŋŋendo z’amaka ez’okugenda e Siiro ezaalingawo buli mwaka, Kaana eyali akulukusa amaziga, yasaba Katonda era ne yeeyama: “Ai Mukama ow’eggye, bw’oliba ng’otunuulidde ennaku omuzaana wo z’alabye, n’onjijukira n’oteerabira muzaana wo, naye n’owa omuzaana wo omwana ow’obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe.” (1 Samwiri 1:9-11) Katonda yawulira okusaba kwa Kaana era n’amuwa omwana ow’obulenzi, n’amutuuma Samwiri. Bwe yava ku mabeere, yamutwala e Siiro asobole okuweereza mu weema.—1 Samwiri 1:20, 24-28.
21 Kaana yalaga okwagala eri Katonda era n’atuukiriza obweyamo bwe ku bikwata ku Samwiri. Era lowooza ku mikisa emingi ye n’Erukaana gye baafuna olw’okuba mutabani waabwe omwagalwa yaweereza mu weema ya Yakuwa! Abazadde Abakristaayo bangi balina essanyu n’emikisa ng’egyo olw’okuba abaana baabwe baweereza nga bapayoniya ab’ekiseera kyonna, Babeseri, oba baweereza mu ngeri endala yonna egulumiza Yakuwa.
Weeyongere Okuwuliriza Yakuwa!
22, 23. (a) Twandibadde bakakafu ku ki singa tweyongera okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa? (b) Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekinnaddako?
22 Tuyinza kuba bakakafu ku ki singa tweyongera okuwuliriza Yakuwa? Tujja kubeera bagagga mu by’omwoyo singa tulaga nti twagala Katonda n’emmeeme yaffe yonna era ne tukiraga mu bulamu bwaffe nti tuli baweereza be abeewaddeyo gy’ali. Ne bwe kiba nti okukola bwe tutyo kiyinza okutuviiramu okugumiikiriza okugezesebwa okw’amaanyi, awatali kubuusabuusa tujja kufuna emikisa gya Yakuwa, emirundi mingi mu ngeri ez’amaanyi ze tutayinza na kulowooza.—Zabbuli 37:4; Abaebbulaniya 6:10.
23 Abantu ba Katonda bajja kuweebwa emikisa mingi nnyo mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuwuliriza Yakuwa, ‘ab’ekibiina ekinene’ bajja kuwonyezebwa mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ era bajja kunyumirwa obulamu mu nsi ya Katonda empya. (Okubikkulirwa 7:9-14; 2 Peetero 3:13) Mu yo, Yakuwa ajja kukola ku byetaago by’abantu be. (Zabbuli 145:16) Kyokka, ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga, na kati abo abeeyongera okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, bafuna ‘ebirabo ebirungi n’ebitone ebituukirivu okuva waggulu.—Yakobo 1:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebigambo bya Kaana bifaanaganako n’ebyo ebyayogerwa Malyamu amangu ddala nga yakakitegeera nti yali wa kuzaala Masiya.—Lukka 1:46-55.
Ojjukira?
• Ebyafaayo bya Isiraeri bituyigiriza ki ku mikisa egiva eri Katonda?
• Bowaazi yayawukana atya ku Nabali?
• Tuyinza tutya okukoppa Kaana?
• Lwaki twandyeyongedde okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Kabaka Sulemaani yasaba abe muwulize, era Yakuwa n’amuwa amagezi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Bowaazi yassa ekitiibwa mu balala era n’abalaga ekisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Kaana yafuna emikisa mingi olw’okwesigama ku Yakuwa