LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 45 lup. 110-lup. 111 kat. 2
  • Obwakabaka Bwawulwamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka Bwawulwamu
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Obwakabaka Bwawuddwamu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yandibadde Asiimibwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka Ekisooka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 45 lup. 110-lup. 111 kat. 2
Akiya ng’ayuzaamu ekyambalo kye ebitundu 12 mu maaso ga Yerobowaamu

ESSOMO 45

Obwakabaka Bwawulwamu

Ekiseera kyonna Sulemaani kye yamala ng’asinza Yakuwa, eggwanga lya Isirayiri lyali mu mirembe. Naye ekiseera kyatuuka Sulemaani n’awasa abakazi bangi okuva mu mawanga amalala, ate ng’abakazi abo baali basinza ebifaananyi. Mpolampola Sulemaani yagenda akyuka naye n’atandika okusinza ebifaananyi. Ekyo kyanyiiza nnyo Yakuwa. Yakuwa yagamba Sulemaani nti: ‘Abantu b’omu lunyiriri lwo bagenda kuggibwako obwakabaka bwa Isirayiri, bwawulwemu ebitundu bibiri. Ekitundu ekisinga obunene ŋŋenda kukiwa omu ku baweereza bo, era abantu b’omu lunyiriri lwo bajja kufuga ekitundu ekisinga obutono.’

Yakuwa yeeyongera okulaga Sulemaani ekyo kye yali asazeewo. Lumu omu ku baweereza ba Sulemaani ayitibwa Yerobowaamu bwe yali atambula, yasisinkana nnabbi ayitibwa Akiya. Akiya yayuzaamu ekyambalo kye ebitundu 12 n’agamba Yerobowaamu nti: ‘Yakuwa agenda kuggya obwakabaka ku Sulemaani abugabanyeemu ebitundu bibiri. Twala ebitundu bino ekkumi eby’olugoye lwange kubanga ogenda kuba kabaka w’ebika kkumi.’ Ekyo Kabaka Sulemaani bwe yakiwulira yayagala okutta Yerobowaamu! Yerobowaamu yadduka n’agenda mu Misiri. Nga wayiseewo ekiseera, Sulemaani yafa era mutabani we Lekobowaamu yafuuka kabaka. Awo Yerobowaamu yakiraba nti yali asobola okuddayo mu Isirayiri.

Abayisirayiri bangi nga basinza ennyana eya zzaabu Yerobowaamu gye yakola

Abakadde b’omu Isirayiri baagamba Lekobowaamu nti: ‘Abantu bw’obayisa obulungi bajja kukunywererako.’ Naye mikwano gya Lekobowaamu abaali abavubuka baamugamba nti: ‘Abantu olina kubakwata na bukambwe! Bakozese emirimu egy’amaanyi ennyo!’ Lekobowaamu yakolera ku magezi ga mikwano gye abavubuka. Yayisa bubi abantu era ne bamujeemera. Baalonda Yerobowaamu okuba kabaka w’ebika ekkumi ebya Isirayiri, ebyamanyibwa ng’obwakabaka bwa Isirayiri. Ebika ebirala ebibiri byanywerera ku Lekobowaamu era byamanyibwa nga obwakabaka bwa Yuda. Kati ebika 12 ebya Isirayiri byali byeyawuddemu ebitundu bibiri.

Yerobowaamu yali tayagala bantu ba mu bwakabaka bwe kugenda kusinziza mu Yerusaalemi, kubanga Yerusaalemi yali mu bwakabaka bwa Lekobowaamu. Omanyi ensonga lwaki? Yerobowaamu yatya nti abantu bajja kumuvaako batandike okuwagira Lekobowaamu. Bwe kityo, Yerobowaamu yakola ennyana bbiri eza zzaabu n’agamba abantu be nti: ‘Yerusaalemi kiri wala. Musinzize wano.’ Abantu baatandika okusinza ennyana eza zzaabu era ne beerabira Yakuwa.

“Temwegattanga wamu na batali bakkiriza. Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? . . . Oba omukkiriza atabagana atya n’atali mukkiriza?”​—2 Abakkolinso 6:14, 15

Ebibuuzo: Lwaki obwakabaka bwa Isirayiri bwagabanyizibwamu? Bintu ki ebibi Kabaka Lekobowaamu ne Kabaka Yerobowaamu bye baakola?

1 Bassekabaka 11:1-13, 26-43; 12:1-33

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share