Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka Ekisooka
“ABATUUKIRIVU bwe beeyongera, abantu basanyuka: naye omuntu omubi bw’afuga, abantu basinda.” (Engero 29:2) Ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka kiraga bulungi obutuufu bw’ebigambo ebyo. Kitubuulira ebikwata ku Sulemaani, era nti mu bufuzi bwe eggwanga lya Isiraeri lyakulaakulana nnyo era nti lyali mu mirembe. Ate era ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka kyogera ku ngeri eggwanga eryo gye lyagabanyizibwamu nga Sulemaani afudde, era ne ku bakabaka 14 abaamuddirira, ng’abamu bafugira mu Isiraeri ate abalala mu Yuda. Ku bakabaka abo bonna babiri bokka be baali abeesigwa eri Yakuwa. Ate era, ekitabo kino kiraga ebyo bannabbi omukaaga bye baakola, nga mw’otwalidde ne Eriya.
Ekitabo kino nnabbi Yeremiya yakiwandiikira mu Yerusaalemi ne mu Yuda. Ebikirimu byaliwo mu myaka nga 129—okuva mu 1040 B.C.E. okutuuka mu 911 B.C.E. Ng’awandiika ekitabo kino, Yeremiya yeeyambisa ebiwandiiko eby’edda gamba nga “ekitabo ky’ebikolwa bya Sulemaani.” Ebiwandiiko ebyo tebikyaliwo.—1 Bassekabaka 11:41; 14:19; 15:7.
KABAKA OW’AMAGEZI ALEETA EMIREMBE N’ENKULAAKULANA
Ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka kitandika n’ebyo ebikwata ku Adoniya mutabani wa Kabaka Dawudi, ng’agezaako okweddiza obwakabaka bwa kitaawe. Nnabbi Nasani abaako ky’akolawo okumulemesa era mutabani wa Dawudi, Sulemaani, afuulibwa kabaka. Yakuwa awuliriza okusaba kwa Kabaka omuppya era amuwa ‘omutima omugezigezi era omutegeevu, n’obugagga n’ekitiibwa.’ (1 Bassekabaka 3:12, 13) Kabaka aba mugezi nnyo era aba mugagga okusinga abantu bonna. Wabaawo emirembe mu Isiraeri okumala ekiseera era eggwanga eryo likulaakulana.
Mu ebyo Sulemaani by’azimba mwe muli yeekaalu ya Yakuwa n’ebizimbe ebirala. Yakuwa akakasa Sulemaani nti singa asigala nga mwesigwa, ‘ajja kunyweza entebe y’obwakabaka bwe mu Isiraeri emirembe gyonna.’ (1 Bassekabaka 9:4, 5) Ate era Katonda ow’amazima amulabula ku kabi akayinza okuvaamu singa amujeemera. Kyokka, Sulemaani awasa abakyala bangi abagwira. Bamuleetera okusinza bakatonda ab’obulimba ng’akaddiye. Yakuwa alagula nti obwakabaka bwe bujja kugabanyizibwamu. Mu 997 B.C.E., Sulemaani afa, era obufuzi bwe obw’emyaka 40 bukoma. Mutabani we Lekobowaamu amuddira mu bigere.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:5—Lwaki Adoniya yagezaako okweddiza obwakabaka nga Dawudi akyali mulamu? Baibuli tetubuulira nsonga lwaki yakola bw’atyo. Olw’okuba Amunoni ne Abusaalomu bakulu ba Adoniya baali bafudde, oboolyawo nga ne mutabani wa Dawudi Kireyaabu afudde, kisoboka okuba nti Adoniya yalowooza nti y’alina okuba kabaka okuva bwe kyali nti ye yali omwana wa Dawudi omukulu eyali asigaddewo. (2 Samwiri 3:2-4; 13:28, 29; 18:14-17) Olw’okuba yali afunye obuwagizi bwa Yowaabu omukulu w’eggye, n’obwa Abiyasaali kabona omukulu, Adoniya yalowooza nti ajja kutuuka ku buwanguzi. Baibuli tetubuulira oba nga Adoniya yali akimanyi nti Dawudi ayagala Sulemaani amuddire mu bigere. Adoniya bwe yali agenda okuwaayo ‘ekiweebwayo,’ Sulemaani ne mikwano gya Dawudi teyabayita. (1 Bassekabaka 1:9, 10) Kino kiraga nti yali atwala Sulemaani okuba omulabe we.
1:49-53; 2:13-25—Lwaki Sulemaani yatta Adoniya ng’ate yali amaze okumusonyiwa? Wadde nga Basuseba yali talina ky’amanyi, Sulemaani yategeera ekigendererwa kya Adoniya eky’okutuma Basuseba okusaba Kabaka amuwe Abisaagi okuba mukazi we. Wadde Dawudi yali teyeegattangako na Abisaagi, yali atwalibwa okuba mukazi we. Ng’empisa bwe yali mu kiseera ekyo, omusika wa Dawudi ye yekka eyali asobola okutwala mukazi we. Adoniya ayinza okuba yalowooza nti bw’awasa Abisaagi, asobola okweddiza entebe y’obwakabaka. Bwe yategeera nti Adoniya anoonya ngeri ya kufunamu bwakabaka, Sulemaani yamutta wadde nga yali amaze okumusonyiwa.
6:37–8:2—Yeekaalu yaweebwayo ddi? Yeekaalu yamalirizibwa mu mwezi ogw’omunaana mu 1027 B.C.E., omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Sulemaani. Kirabika kyabatwalira emyezi 11 okugiyooyoota n’okugiteekateeka obulungi. N’olwekyo eteekwa okuba nga yaweebwayo mu mwezi ogw’omusanvu mu 1026 B.C.E. Nga tekinnayogera ku kuweebwayo kwa yeekaalu, ekitabo kino kisooka kwogera ku bizimbe byonna ebyazimbibwa oluvannyuma lwa yeekaalu, nga kirabika kyali kiwumbawumbako ebyo byonna Sulemaani bye yazimba.—2 Ebyomumirembe 5:1-3.
9:10-13—Ekyo Sulemaani kye yakola eky’okuwa Kiramu Kabaka ow’e Tuulo ebibuga 20 eby’e Ggaliraaya, kyali kikkirizibwa mu Mateeka ga Musa? Etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 25:23, 24 lyali likwata ku bitundu byokka ebyalingamu Abaisiraeri. Kirabika ebibuga Sulemaani bye yawa Kiramu byalimu bannaggwanga wadde nga byali ku njegoyego y’Ensi Ensuubize. (Okuva 23:31) Ate era kiyinza n’okuba nti ekyo Sulemaani kye yakola kyava ku kulemererwa okugoberera Mateeka kubanga ‘yeefunira embalaasi nnyingi’ n’awasa n’abakazi bangi. (Ekyamateeka 17:16, 17) Wadde nga yamuwa ebintu bingi, Kiramu teyasiima. Oboolyawo abantu abaali mu bibuga ebyo baali tebabikuuma bulungi oba kyandiba ng’ettaka lyayo teryali ddungi.
11:4—Obukadde bwe bwaleetera Sulemaani obutaba mwesigwa? Nedda. Sulemaani yali akyali muto we yatandikira okufuga era wadde nga yafugira emyaka 40, yali tannakaddiwa nnyo. Ate era teyaviira ddala ku Yakuwa. Kirabika yagezaako kugattika nzikiriza.
Bye Tuyigamu:
2:26, 27, 35. Byonna Yakuwa by’asuubiza, bituukirira. Okuggibwa kwa Abisaayi mutabani wa Eri ku bwakabona, kyatuukiriza ‘ebyo Yakuwa bye yayogera ku nnyumba ya Eri.’ Eky’okuzza Zadooki ow’omu lunyiriri lwa Finekaasi mu kifo kya Abisaayi nakyo kyali kituukiriza obunnabbi obuli mu Okubala 25:10-13.—Okuva 6:25; 1 Samwiri 2:31; 3:12; 1 Ebyomumirembe 24:3.
2:37, 41-46. Nga kiba kya kabi nnyo omuntu okulowooza nti asobola okumenya etteeka lya Katonda n’asimattuka okubonerezebwa! Abo abava mu ‘kkubo ery’akanyigo eridda mu bulamu’ bajja kwolekagana n’ebyo ebiva mu kusalawo kwabwe okutali kwa magezi—Matayo 7:14.
3:9, 12-14. Yakuwa addamu okusaba kw’abaweereza be bwe bamusaba okubawa amagezi n’obulagirizi basobole okukola emirimu gye.—Yakobo1:5.
8:22-53. Nga Sulemaani yasiima nnyo Yakuwa—Katonda ow’okwagala, atuukiriza ebisuubizo bye, era awuliriza okusaba! Bwe tufumiitiriza ku kusaba kwa Sulemaani ng’awaayo Yeekaalu, tujja kwongera okusiima engeri za Yakuwa ezoogeddwako waggulu, n’engeri ze endala.
11:9-14, 23, 26. Yakuwa yaleka Sulemaani okulumbibwa abalabe bwe yamujeemera ng’akaddiye. Omutume Peetero agamba nti: “Katonda aziyiza ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.”—1 Peetero 5:5.
11:30-40. Kabaka Sulemaani yayagala okutta Yerobowaamu olw’ebyo Akiya bye yali alagudde. Ng’ekyo kyali kya njawulo nnyo ku ekyo kye yakola emyaka 40 emabega bwe yagaana okuwoolera eggwanga ku Adoniya n’abalala abaali baagala okumulyamu olukwe! (1 Bassekabaka 1:50-53) Kino kyali kityo lwa kuba yali avudde ku Yakuwa.
OBWAKABAKA OBWALI OBUMU BUGABANYIZIBWAMU
Yerobowaamu n’abantu abalala bajja eri Kabaka Lekobowaamu nga bamusaba okuwewula ku kikoligo kya kitaawe Sulemaani. Mu kifo ky’okubakolera kye basabye, Lekobowaamu abatiisatiisa okubatikka ekikoligo ekikakali ennyo n’okusinga ekya kitaawe. Ebika ekkumi byewaggula era bifuula Yerobowaamu kabaka waabyo. Kino kiviirako obwakabaka okugabanyizibwamu. Lekobowaamu afuga obwakabaka obw’ebukiika ddyo, obulimu ekika kya Yuda ne Benyamini, ate Yerobowaamu afuga ebika ekkumi ebya Isiraeri eby’omu bukiika kkono.
Ng’alemesa abantu okugenda e Yerusaalemi okusinza, Yerobowaamu abakolera obuyana bubiri obwa zaabu—akamu akateeka e Daani akalala e Beseri. Abamu ku bakabaka abafuga Isiraeri oluvannyuma lwa Yerobowaamu be bano: Nadabu, Baasa, Era, Zimuli, Tibuni, Omuli, Akabu, ne Akaziya. Ate mu Yuda, bano be bakabaka abaddirira Lekobowaamu: Abiyaamu, Asa, Yekosofaati, ne Yekolaamu. Bannabbi abaaliwo mu biseera bya bakabaka abo baali Akiya, Semaaya, n’omusajja wa Katonda atamanyiddwa, awamu ne Yeeku, Eriya, ne Mikaaya.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
18:21—Lwaki abantu baasirika Eriya bwe yabagamba okulondawo okugoberera Yakuwa oba Baali? Kyandiba nga baakitegeera nti baali tebeemalidde ku kusinza Yakuwa era nga omuntu waabwe ow’omunda abalumiriza. Oba, kirabika omuntu waabwe ow’omunda yali tabalumiriza bwe kityo nga tebalaba kikyamu kyonna kiri mu kusinza Baali wadde nga baali beegamba okuba abasinza ba Yakuwa. Yakuwa yamala kubalaga nti wa maanyi ne balyoka bagamba nti: ‘Yakuwa ye Katonda! Yakuwa ye Katonda ow’amazima!’—1 Bassekabaka 18:39.
20:34—Lwaki Akabu teyatta kabaka Benikadadi ng’ate Yakuwa yali agabudde Abasuuli mu mukono gwe? Mu kifo ky’okutta Benikadadi, Akabu yakola naye endagaano n’akkiriza okumuwa enguudo mu kibuga kya Busuuli ekikulu Damasiko, asobole okuzimbayo obutale. Emabegako, taata wa Benikadadi naye yali yeetwalira enguudo z’omu Samaliya okusobola okukolerayo eby’obusuubuzi. N’olwekyo, Akabu teyatta Benikadadi asobole okutandikawo bizineesi mu Damasiko.
Bye Tuyigamu:
12:13, 14. Bwe tuba tusalawo ku nsonga enkulu ennyo, tusaanidde okutuukirira abantu ab’amagezi era abakulu mu by’omwoyo, abamanyi obulungi Ebyawandiikibwa era nga bafaayo nnyo okugoberera emisingi gya Katonda basobole okutuwa ku magezi.
13:11-24. Singa omuntu akuwa amagezi gooteekakasa bulungi k’abe nga mukkiriza munno, sooka olabe obanga geesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.—1 Yokaana 4:1.
14:13. Yakuwa atunuulira ebirungi bye tukola. Wadde biyinza okuba ebitono ennyo, asobola okutuyamba okubikulaakulanya singa tufuba okumuweereza.
15:10-13. Tuteekwa okwewala okusinza ebifaananyi ne tukulaakulanya okusinza okw’amazima.
17:10-16. Olw’okuba nnamwandu wa Zalefaasi yakkiriza nti Eriya nnabbi era n’amusembeza, Yakuwa yamuwa omukisa olw’ebikolwa bye eby’okukkiriza. Ne leero, Yakuwa alaba ebikolwa byaffe eby’okukkiriza era awa omukisa abo abawagira omulimu gw’Obwakabaka mu ngeri ez’enjawulo.—Matayo 6:33; 10:41, 42; Abaebbulaniya 6:10.
19:1-8. Bwe twolekagana n’okuziyizibwa okw’amaanyi, tube bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwanirira.—2 Abakkolinso 4:7-9.
19:10, 14, 18. Abasinza ab’amazima tebali bokka. Yakuwa ali wamu nabo era balina n’oluganda olw’ensi yonna.
19:11-13. Yakuwa teyeeyolekera mu maanyi ga butonde.
20:11. Benikadadi bwe yeewaana olw’okuzikiriza Samaliya, kabaka wa Isiraeri yamuddamu nti: “Eyeesiba eby’okulwanyisa bye [ng’agenda mu lutalo] aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula” ng’akomyewo okuva mu lutalo era ng’awangudde. Nga tetunnakola kintu kyonna, tetusaanidde kwekakasa kiyitiridde wadde okwewaana.—Engero 27:1; Yakobo 4:13-16.
Bituganyula Nnyo
Ng’abajjukiza Amateeka agabaweebwa ku Lusozi Sinaayi, Musa yagamba abaana ba Isiraeri nti: “Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’okukolimirwa; omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira leero: n’okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero.”—Ekyamateeka 11:26-28.
Ng’obutuufu bw’ebigambo ebyo bweyolekera bulungi nnyo mu kitabo kya Bassekabaka Ekisooka! Nga bwe tulabye, ekitabo kino kirimu eby’okuyiga ebirala bingi nnyo. Mazima ddala obubaka obukirimu bulamu era busobola okuleetera omuntu okubaako ky’akolawo.—Abaebbulaniya 4:12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Yeekaalu n’ebizimbe ebirala Sulemaani bye yazimba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Nga Yakuwa amaze okubalaga nti wa maanyi, abantu baagamba: ‘Yakuwa ye Katonda!