LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 48 lup. 116-lup. 117 kat. 1
  • Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Nnamwandu w’e Zalefaasi Yafuna Emikisa olw’Okwoleka Okukkiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Katonda we yamugumya
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Waliwo lw’Olowooza nti Oli Wekka era n’Owulira ng’Otidde?
    Yigiriza Abaana Bo
  • Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 48 lup. 116-lup. 117 kat. 1
Eriya ng’ajja eri nnamwandu, nga nnamwandu alonderera obuku

ESSOMO 48

Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu

Ensumbi y’obuwunga n’ensumbi y’amafuta

Mu kiseera ky’ekyeya, Yakuwa yagamba Eriya nti: ‘Genda e Zalefaasi. Eyo waliyo nnamwandu ajja okukuwa emmere.’ Eriya bwe yatuuka ku mulyango oguyingira mu kibuga, yalaba nnamwandu omwavu ng’alonderera obuku. Eriya yasaba nnamwandu oyo amuleetere ku mazzi anyweko. Nnamwandu bwe yali agenda okugamuleetera, Eriya yamuyita n’amugamba nti: ‘Nkwegayiridde ndeeteraayo n’akagaati.’ Naye nnamwandu yamugamba nti: ‘Sirina kagaati ka kukuwa. Nninawo obuwunga butono n’otufuta tutono era ŋŋenda kufumba akamere nze n’omwana wange tukalye.’ Eriya yamugamba nti: ‘Yakuwa agambye nti singa onfumbira akagaati, obuwunga bwo n’amafuta go tebijja kuggwaawo okutuusa ng’enkuba ezzeemu okutonnya.’

Nnamwandu yagenda n’afumbira nnabbi wa Yakuwa omugaati. Nga Yakuwa bwe yali agambye, nnamwandu ne mutabani we baalina emmere mu kiseera kyonna eky’ekyeya. Ensumbi ye ennene teyaggwaamu buwunga n’akasumbi ke akatono tekaggwaamu mafuta.

Naye waliwo ekintu ekibi ekyaliwo. Mutabani wa nnamwandu yalwala nnyo n’afa. Nnamwandu yeegayirira Eriya amuyambe. Eriya yaggya ku nnamwandu omwana oyo eyali afudde n’amwambusa mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba ya nnamwandu. Eriya yagalamiza omwana oyo ku kitanda n’asaba ng’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, nkwegayiridde omwana k’addemu obulamu.’ Omanyi ensonga lwaki ekyo Eriya kye yasaba Yakuwa okukola kyali kyewuunyisa nnyo? Kyali kyewuunyisa kubanga waali tewabangawo muntu yenna azuukira. Okugatta ku ekyo, nnamwandu oyo ne mutabani we tebaali Bayisirayiri.

Omwana oyo yaddamu obulamu era n’atandika okussa! Eriya yagamba nnamwandu nti: ‘Laba! Omwana wo mulamu.’ Nnamwandu yasanyuka nnyo n’agamba Eriya nti: ‘Kati nkimanyi nti ddala oli musajja wa Katonda, kubanga oyogera ebyo byokka Yakuwa by’aba akugambye okwogera.’

Eriya ng’awa nnamwandu mutabani we eyali azuukidde

“Mutunuulire nnamuŋŋoona: tezisiga, tezikungula, era tezirina ggwanika, kyokka Katonda aziriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okusinga ebinyonyi?”​—Lukka 12:24

Ebibuuzo: Nnamwandu w’e Zalefaasi yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa? Kiki ekiraga nti ddala Eriya yali nnabbi wa Yakuwa?

1 Bassekabaka 17:8-24; Lukka 4:25, 26

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share