LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 69 lup. 164-lup. 165 kat. 2
  • Gabulyeri Alabikira Maliyamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Gabulyeri Alabikira Maliyamu
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Malayika Akyalira Malyamu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yesu Aweebwa Ekitiibwa nga Tannazaalibwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • “Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 69 lup. 164-lup. 165 kat. 2
Malayika Gabulyeri alabikira Maliyamu

ESSOMO 69

Gabulyeri Alabikira Maliyamu

Malayika alabikira Yusufu mu kirooto

Erizabeesi yalina omu ku b’eŋŋanda ze ayitibwa Maliyamu, eyali abeera mu kibuga ky’e Nazaaleesi mu Ggaliraaya. Maliyamu yali ayogerezebwa Yusufu omubazzi. Bwe waali wayise emyezi mukaaga bukya Erizabeesi afuna olubuto, malayika Gabulyeri yalabikira Maliyamu. Yamugamba nti: ‘Emirembe gibe naawe Maliyamu, ggwe asiimibwa ennyo Yakuwa.’ Maliyamu teyategeera makulu ga bigambo ebyo Gabulyeri bye yayogera. Oluvannyuma Gabulyeri yamugamba nti: ‘Ojja kuba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi era olimutuuma erinnya Yesu. Omwana oyo aliba Kabaka era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.’

Maliyamu yagamba Malayika nti: ‘Ekyo kinaasoboka kitya ng’ate sirina musajja gwe nneegatta naye?’ Gabulyeri yamuddamu nti: ‘Tewali kitasoboka eri Yakuwa. Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era ojja kuzaala omwana. Erizabeesi gw’olinako oluganda, naye ali lubuto.’ Maliyamu yagamba Malayika nti: ‘Nze ndi muzaana wa Yakuwa. Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.’

Maliyamu ali lubuto era Yusufu amutwala okuba mukyala we

Maliyamu yagenda okukyalira Erizabeesi. Erizabeesi yali abeera mu kibuga ekyali kisangibwa mu bitundu by’ensozi. Maliyamu bwe yatuukayo n’alamusa Erizabeesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erizabeesi yabuukabuuka. Erizabeesi yajjuzibwa omwoyo omutukuvu n’agamba nti: ‘Maliyamu, Yakuwa akuwadde omukisa. Nga nkizo ya maanyi okukyaza maama wa Mukama wange!’ Maliyamu yagamba nti: ‘Ntendereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna.’ Maliyamu yabeera ne Erizabeesi okumala emyezi esatu, oluvannyuma n’addayo e Nazaaleesi.

Yusufu bwe yakimanya nti Maliyamu ali lubuto, yayagala okumulekawo mu kyama. Naye malayika wa Yakuwa yalabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti: ‘Totya kuwasa Maliyamu. Tewali kibi kye yakola.’ Bwe kityo, Yusufu yawasa Maliyamu.

“Yakuwa akola buli kintu ky’ayagala mu ggulu ne ku nsi.”​—Zabbuli 135:6

Ebibuuzo: Kiki Gabulyeri kye yagamba Maliyamu ekikwata ku mwana gwe yandizadde? Erizabeesi ne Maliyamu baawulira batya olw’ebyo ebyali bibatuuseeko?

Matayo 1:18-25; Lukka 1:26-56; Isaaya 7:14; 9:7; Danyeri 2:44; Abaggalatiya 4:4

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share