LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 94 lup. 220-lup. 221 kat. 1
  • Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Okulindirira mu Yerusaalemi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Bikumi na Bikumi Bamulaba nga Pentekooti Tennatuuka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Tubatizibwa mu Linnya ly’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 94 lup. 220-lup. 221 kat. 1
Abantu mu Yerusaalemi nga beewuunya okulaba abayigirizwa ba Yesu nga boogera nabo mu nnimi zaabwe

ESSOMO 94

Abayigirizwa Bafuna Omwoyo Omutukuvu

Nga wayise ennaku kkumi oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be baafuna omwoyo omutukuvu. Olunaku lwali lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., era abantu bangi okuva mu bitundu eby’enjawulo baali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga. Abayigirizwa ba Yesu nga 120 baali bakuŋŋaanidde mu nnyumba emu mu kisenge ekya waggulu. Waaliwo okuwuuma okwali ng’okw’embuyaga okwajjula enju yonna era ennimi eziringa ez’omuliro ne zirabika. Buli lulimi lwatuula ku mutwe gwa buli omu ku bayigirizwa era bonna ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo.

Abagenyi abaali bazze mu Yerusaalemi baawulira okuwuuma okwo ne bajja ku nnyumba eyo okulaba ekyali kigenda mu maaso. Beewuunya nnyo okuwulira ng’abayigirizwa boogera ennimi ez’enjawulo. Baagamba nti: ‘Abantu bano b’e Ggaliraaya. Naye kijja kitya okuba nti basobola okwogera ennimi zaffe?’

Peetero n’abatume abalala baayimirira mu maaso g’ekibiina ky’abantu. Peetero yabuulira abantu engeri Yesu gye yattibwamu era Yakuwa n’amuzuukiza okuva mu bafu. Peetero yagamba nti: ‘Kati Yesu ali mu ggulu era atudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Y’afuse omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa be nga bwe yasuubiza. Eyo ye nsonga lwaki mulabye ekyamagero kino.’

Ebigambo Peetero bye yayogera byakwata nnyo ku bantu, ne babuuza nti: “Tukole ki?” Yabagamba nti: ‘Mwenenye ebibi byammwe era mubatizibwe mu linnya lya Yesu. Nammwe mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.’ Ku lunaku olwo abantu nga 3,000 baabatizibwa. Okuva olwo omuwendo gw’abayigirizwa gwatandika okweyongera buli lunaku mu Yerusaalemi. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa abatume okutandikawo ebibiina bingi kibasobozese okuyigiriza abantu ebintu byonna Yesu bye yabalagira.

“Singa olangirira mu lujjudde n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama waffe, era n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa.”​—Abaruumi 10:9

Ebibuuzo: Kiki ekyaliwo ku Pentekooti 33 E.E.? Lwaki abantu bangi baabatizibwa?

Ebikolwa 1:15; 2:1-42; 4:4; Yokaana 15:26

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share