LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 96 lup. 224-lup. 225 kat. 2
  • Yesu Alonda Sawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Alonda Sawulo
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Mu Kkubo Erigenda e Ddamasiko
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • “Okugonda Kusinga Ssaddaaka Obulungi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 96 lup. 224-lup. 225 kat. 2
Ekitangaala eky’amaanyi nga kyaka okwetooloola Sawulo

ESSOMO 96

Yesu Alonda Sawulo

Sawulo yali mutuuze wa Rooma eyazaalibwa mu Taluso. Yali Mufalisaayo eyali yakuguka mu Mateeka g’Ekiyudaaya, era yali tayagala Bakristaayo. Yasikambulanga abasajja n’abakazi Abakristaayo mu nnyumba zaabwe n’abatwala mu kkomera. Era yaliwo ng’abantu bakuba Siteefano amayinja okutuusa lwe baamutta.

Ng’oggyeeko okusiba mu kkomera Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi, Sawulo era yali ayagala akwate n’Abakristaayo abaali mu bitundu ebirala. Yasaba kabona asinga obukulu amuwe olukusa okugenda mu kibuga ky’e Ddamasiko akwate Abakristaayo abaaliyo. Sawulo bwe yali anaatera okutuuka mu kibuga ekyo, ekitangaala eky’amaanyi kyayaka okumwetooloola era n’agwa wansi. Yawulira eddoboozi erigamba nti: ‘Sawulo, lwaki onjigganya?’ Sawulo yabuuza nti: ‘Ggwe ani?’ Yamuddamu nti: ‘Nze Yesu. Genda mu Ddamasiko era ojja kutegeezebwa ky’olina okukola.’ Mu kiseera ekyo Sawulo yaziba amaaso, era baalina okumukwata ku mukono okumutwala mu kibuga ekyo.

Mu Ddamasiko waaliyo Omukristaayo omwesigwa ayitibwa Ananiya. Okuyitira mu kwolesebwa, Yesu yamugamba nti: ‘Genda mu nnyumba ya Yuda esangibwa ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, obuuze omusajja ayitibwa Sawulo.’ Ananiya yagamba nti: ‘Mukama wange, omusajja oyo mmumanyi bulungi! Asiba abayigirizwa bo mu kkomera!’ Naye Yesu yamugamba nti: ‘Genda gy’ali. Nnonze Sawulo okubuulira amawulire amalungi mu mawanga mangi.’

Sawulo ng’azibye amaaso oluvannyuma lw’okulaba ekitangaala eky’amaanyi

Ananiya yagenda n’asisinkana Sawulo n’amugamba nti: ‘Sawulo muganda wange, Yesu antumye okukuzibula amaaso.’ Amangu ago amaaso ga Sawulo gaazibuka. Yayiga ebikwata ku Yesu era n’afuuka omugoberezi we. Bwe yamala okubatizibwa, Sawulo yatandika okubuulira mu makuŋŋaaniro, ng’ali wamu ne Bakristaayo banne. Abayudaaya beewuunya nnyo okulaba Sawulo ng’abuulira abikwata ku Yesu. Baagamba nti: ‘Ono si ye musajja eyayigganyanga abagoberezi ba Yesu?’

Sawulo yabuulira mu Ddamasiko okumala emyaka esatu. Abayudaaya baakyawa Sawulo ne bakola olukwe okumutta. Naye ab’oluganda baagwa mu lukwe olwo ne bayamba Sawulo okudduka. Baamuteeka mu kisero ne bamuyisa mu ddirisa eryali ku kisenge ky’ekibuga ne bamussa wansi.

Sawulo bwe yagenda e Yerusaalemi, yagezaako okwegatta ku b’oluganda, naye baali bamutya. Kyokka omuyigirizwa omu ayitibwa Balunabba yatwala Sawulo eri abatume n’abakakasa nti Sawulo yali akyuse. Sawulo yatandika okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu ng’ali wamu n’ab’oluganda ab’omu Yerusaalemi. Oluvannyuma baatandika okumuyita Pawulo.

“Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu boonoonyi abo nze nsingayo.”​—1 Timoseewo 1:15

Ebibuuzo: Lwaki Abakristaayo baali batya Sawulo? Kiki ekyaleetera Sawulo okukyuka?

Ebikolwa 7:54–8:3; 9:1-28; 13:9; 21:40–22:15; Abaruumi 1:1; Abaggalatiya 1:11-18

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share