“Okugonda Kusinga Ssaddaaka Obulungi”
SAWULO ye kabaka wa Isiraeri eyasooka. Wadde nga Katonda ow’amazima ye yamulonda, Sawulo oluvannyuma yafuuka mujeemu.
Bintu ki ebibi Sawulo bye yakola? Yandisobodde okwewala okubikola? Ekyokulabirako kye kituyigiriza ki?
Yakuwa Alaga Oyo Gw’Alonze Okuba Kabaka
Sawulo bwe yali tannafuuka kabaka, nnabbi Samwiri ye yali aweereza ng’omubaka wa Katonda mu Isiraeri. Samwiri yali akaddiye ate nga batabani be si beesigwa. Mu kiseera kye kimu, waaliwo amawanga agaali gaagala okulumba Isiraeri. Abakadde ba Isiraeri bwe baasaba Samwiri abalondere kabaka anaabalamula era abakulembere mu lutalo, Yakuwa yalagira Samwiri alonde Sawulo era n’agamba nti: “Ye alirokola abantu bange mu mukono gw’Abafirisuuti.”—1 Sam. 8:4-7, 20; 9:16.
Sawulo yali “mulenzi mulungi.” Ng’oggyeko okulabika obulungi, Sawulo yalina n’engeri ennungi. Yali mwetoowaze. Ng’ekyokulabirako, Sawulo yabuuza Samwiri nti: “Nze siri Mubenyamini, ow’omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? N’ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini? Kale kiki ekikwogeza nange bw’otyo?” Sawulo yali teyeetwala kuba wa waggulu, wadde nga kitaawe, Kiisi, yali ‘musajja wa maanyi era nga muzira.’—1 Sam. 9:1, 2, 21.
Lowooza ne ku ngeri Sawulo gye yeeyisaamu, Samwiri bwe yategeeza abantu oyo Yakuwa gwe yali alonze okuba kabaka wa Isiraeri. Samwiri yasooka n’afuka amafuta ku Sawulo nga bali bokka era n’amugamba nti: “Okolanga ng’omukono gwo bwe gunaasanga bwe biri; kubanga Katonda [ow’amazima] ali naawe.” Oluvannyuma, nnabbi yayita abantu bonna ababuulire oyo Yakuwa gwe yali alonze. Kyokka we yabategeereza nti Sawulo ye yali alondeddwa, Sawulo yali talabikako. Yali yeekwese olw’okuba yalina ensonyi. Yakuwa yababuulira wa we yali yeekwese, era Sawulo n’alangirirwa nga kabaka.—1 Sam. 10:7, 20-24.
Mu Lutalo
Mu kiseera kitono, Sawulo yakiraga nti yalina ebisaanyizo okuba kabaka. Abamoni bwe baali bateekateeka okulumba ekibuga kya Isiraeri, “omwoyo gwa Katonda [gwajja] ku Sawulo n’amaanyi.” Yakozesa obuyinza bwe n’akunga abasajja abalwanyi, n’abategeka, era ne balwana olutalo ne baluwangula. Naye Sawulo yakiraga nti Katonda ye yali abasobozesezza okutuuka ku buwanguzi obwo, ng’agamba nti: “Leero Mukama akoze obulokozi mu Isiraeri.”—1 Sam. 11:1-13.
Sawulo yalina engeri ennungi era yalina omukisa gwa Katonda. Yali akimanyi nti Yakuwa ye yamusobozesa okutuuka ku buwanguzi. Kyokka, Abaisiraeri awamu ne kabaka waabwe okusobola okweyongera okufuna emikisa, waaliwo ekintu ekikulu ennyo kye baalina okukola. Samwiri yagamba abantu ba Isiraeri nti: “Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne muwuliranga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kya Mukama, mmwe era ne kabaka abafuga [munaabanga bagoberezi ba] Mukama Katonda wammwe.” Abaisiraeri bandiganyuddwa batya bwe bandisigadde nga beesigwa eri Katonda? Samwiri yagamba nti: “Mukama taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga.”—1 Sam. 12:14, 22.
Okugondera Katonda kyali kintu kikulu nnyo okusobola okusiimibwa mu maaso ge, era ne leero kikyali kintu kikulu nnyo. Abaweereza ba Yakuwa bwe bagondera ebiragiro bye, naye abawa emikisa gye. Ate kiri kitya singa bamujeemera?
“Wakoze kya Busirusiru”
Ekintu ekirala Sawulo kye yaddako okukola kyanyiiza nnyo Abafirisuuti. Eggye eryali “ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja obungi” lyakuŋŋaana okulwana ne Sawulo. “Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga bali bubi (kubanga abantu baali balabye ennaku,) awo abantu ne beekweka mu mpuku ne mu bisaka ne mu mayinja ne mu mpampagama ne mu bunnya.” (1 Sam. 13:5, 6) Sawulo yandikoze ki?
Samwiri yali agambye Sawulo amusisinkane e Girugaali, nnabbi oyo gye yali agenda okuweerayo ssaddaaka eri Katonda. Sawulo yalinda Samwiri naye nga tatuuka, era eggye lya Sawulo lyali litandise okusaasaana. Sawulo yeetulinkiriza n’awaayo ssaddaaka. Bwe yali yakamala okugiwaayo, Samwiri n’atuuka. Oluvannyuma lw’okutegeera ekyo Sawulo kye yali akoze, Samwiri yamugamba nti: “Wakoze kya busirusiru: tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira: kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna. Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera: Mukama yeenoonyerezza omusajja [asanyusa] omutima gwe ye, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w’abantu be, kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira.”—1 Sam. 10:8; 13:8, 13, 14.
Olw’okuba Sawulo teyalina kukkiriza, yeetulinkiriza n’amenya ekiragiro kya Katonda n’atalinda Samwiri kujja kuwaayo ssaddaaka. Ng’ekyo Sawulo kye yakola kyali kya njawulo nnyo ku ekyo Gidyoni, eyaliko omudduumizi w’eggye lya Isiraeri, kye yakola! Yakuwa yalagira Gidyoni okukendeeza ku muwendo gw’abasajja be abalwanyi okuva ku 32,000 okutuuka ku 300. Gidyoni yamugondera. Lwaki? Olw’okuba yalina okukkiriza. Katonda yamuyamba okuwangula eggye eryalimu abantu 135,000. (Balam. 7:1-7, 17-22; 8:10) Ne Sawulo Yakuwa yandisobodde okumuyamba. Kyokka olw’okuba Sawulo yali mujeemu, Abafirisuuti baalumba Isiraeri ne baginyaga.—1 Sam. 13:17, 18.
Bwe twolekagana n’embeera enzibu, tweyisa tutya? Abo abatalina kukkiriza bayinza okulowooza nti kiba kya magezi okusambajja emisingi gya Katonda. Samwiri bwe yali tannajja, Sawulo ayinza okuba nga yali alowooza nti ekyo kye yali akoze kyali kya magezi. Kyokka abo abaagala okusiimibwa Katonda, bagoberera emisingi gy’Ebyawandiikibwa mu buli kimu kye baba basalawo mu bulamu.
Yakuwa Aggyako Sawulo Obwakabaka
Bwe yali alwana n’Abamaleki, Sawulo yakola ensobi endala ey’amaanyi. Katonda yali asalidde Abamaleki omusango olw’okulumba Abaisiraeri nga bava e Misiri. (Kuv. 17:8; Ma. 25:17, 18) Ate era, Abamaleki beegatta ku mawanga amalala okulwanyisa abantu ba Katonda abalonde mu biseera by’Abalamuzi. (Balam. 3:12, 13; 6:1-3, 33) Bw’atyo Yakuwa yasalira Abamaleki omusango era n’alagira Sawulo abazikirize.—1 Sam. 15:1-3.
Mu kifo ky’okugondera ekiragiro kya Yakuwa okuzikiriza Abamaleki abo ababi, Sawulo yawamba kabaka waabwe era n’ataliza n’ensolo zaabwe ezaali zisinga obulungi. Sawulo yeeyisa atya nga Samwiri amulaze ensobi ye? Sawulo yagezaako okwewolereza ng’agamba nti: “Abantu baasonyiye endiga n’ente ezaasinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.” Ka kibe nti Sawulo yalina ekigendererwa eky’okuwaayo ebisolo ebyo nga ssaddaaka oba nedda, ekituufu kiri nti yajeema. Sawulo yali takyeraba ‘ng’omutono mu maaso ge ye.’ Bw’atyo nnabbi wa Katonda yagamba Sawulo nti yali ajeemedde Katonda. Era yamugamba nti: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi . . . Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.”—1 Sam. 15:15, 17, 22, 23.
Yakuwa bwe yaggyako Sawulo omwoyo gwe omutukuvu n’omukisa gwe, ‘omwoyo omubi’ gwatandika okufuga kabaka wa Isiraeri ono eyasooka. Sawulo yatandika okwekengera n’okukwatirwa obuggya Dawudi—omusajja Yakuwa gwe yali agenda okuwa obwakabaka. Emirundi mingi, Sawulo yagezaako n’okutta Dawudi. Bayibuli eraga nti bwe yalaba nga “Mukama ali ne Dawudi, . . . Sawulo n’aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna.” Sawulo yamunoonya ng’ayagala okumutta era yalagira batte bakabona 85 n’abantu abalala. Tekyewuunyisa nti Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka!—1 Sam. 16:14; 18:11, 25, 28, 29; 19:10, 11; 20:32, 33; 22:16-19.
Abafirisuuti bwe baddamu okulumba Isiraeri, Sawulo yasalawo okwebuuza ku musamize. Ku lunaku olwaddako, yatuusibwako ebisago eby’amaanyi mu lutalo era ne yetta. (1 Sam. 28:4-8; 31:3, 4) Nga byogera ku kabaka wa Isiraeri eyasooka eyali omujeemu, Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Sawulo n’afa olw’okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw’ekigambo kya Mukama ky’ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko [omwoyo omubi], okumubuulizaamu, n’atalagulwa eri Mukama.”—1 Byom. 10:13, 14.
Ekyokulabirako kya Sawulo ekibi kiraga bulungi nti okugondera Yakuwa kisinga ssaddaaka yonna gye tuyinza okuwaayo gy’ali. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yok. 5:3) Ka bulijjo tukijjukire nti: Okusobola okusigala nga tuli mikwano gya Katonda tulina okumugondera.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Lwaki Samwiri yagamba Sawulo nti “okugonda kusinga ssaddaaka obulungi”?