Ennyanjula yʼEkitundu 9
Ekitundu kino kyogera ku baana, bannabbi, ne bakabaka abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Omuwala Omuyisirayiri eyali mu Busuuli yali mukakafu nti nnabbi wa Yakuwa yandiwonyezza Naamani. Nnabbi Erisa yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwonyezza okuva mu mikono gy’eggye eddene eryali limulumbye. Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu yateeka obulamu bwe mu kabi n’akweka Yekowaasi aleme okuttibwa jjajjaawe, Asaliya. Kabaka Keezeekiya yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye ekibuga Yerusaalemi, era teyakkiriza kwewaayo mu mikono gy’Abaasuli. Kabaka Yosiya yamalawo okusinza ebifaananyi mu nsi ya Isirayiri, yalongoosa yeekaalu, era yayamba abantu okuddamu okusinza Yakuwa.