LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 51 lup. 124-lup. 125 kat. 2
  • Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abaana Abasanyusa Katonda
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Omululu Gwaleetera Gekazi Okufiirwa Enkolagana Ye ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 51 lup. 124-lup. 125 kat. 2
Naamani ng’agenze ewa Erisa okuwonyezebwa

ESSOMO 51

Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto

Omuwala omuto Omuyisirayiri yatwalibwa mu nsi ya Busuuli eyali ewala ennyo okuva ewaabwe. Yatwalibwa amagye ga Busuuli n’afuuka omuweereza wa mukyala w’omukulu w’eggye eyali ayitibwa Naamani. Omuwala oyo omuto yali asinza Yakuwa wadde ng’abantu be yalimu baali tebamusinza.

Naamani yalina obulwadde bw’ebigenge, era yali mu bulumi bwa maanyi. Omuwala oyo yali ayagala okuyamba Naamani. Yagamba mukyala wa Naamani nti: ‘Mmanyi omuntu asobola okuyamba omwami wo okuwona. Mu Isirayiri waliyo nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Erisa. Asobola okuwonya omwami wo.’

Mukyala wa Naamani yabuulira Naamani ebyo omuwala omuto bye yali amugambye. Naamani yali mwetegefu okukola kyonna ekisoboka okuwona, era bw’atyo yakkiriza okugenda mu Isirayiri ewa Erisa. Naamani yali asuubira Erisa okumwaniriza mu ngeri ey’enjawulo. Naye mu kifo ky’okwogera ne Naamani butereevu, Erisa yamutumira omuweereza we amugambe nti: ‘Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani. Ojja kuwona.’

Ekyo kyanyiiza nnyo Naamani, era n’agamba nti: ‘Mbadde ndowooza nti nnabbi ono ajja kukoowoola erinnya lya Katonda we era nga bw’ayisaayisa engalo ze awali ebigenge byange amponye! Mu kifo ky’ekyo, aŋŋamba kugenda kunaaba mu mugga gw’omu Isirayiri. Mu Busuuli waliyo emigga egisinga egy’omu Isirayiri obulungi. Lwaki sigenda ne nnaaba mu egyo?’ Naamani yasunguwala nnyo era n’ava ewa Erisa n’agenda.

Naamani yennyika mu Mugga Yoludaani n’awona

Abaweereza ba Naamani baamuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Baamugamba nti: ‘Mukama waffe, tewandikoze kyonna ekyetaagisa osobole okuwona? Nnabbi oyo ky’akugamba okukola kyangu nnyo. Lwaki tokikola?’ Naamani yabawuliriza era n’agenda ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu. Oluvannyuma lw’okwennyikamu omulundi ogw’omusanvu, Naamani yava mu mazzi ng’awonye. Ekyo kyamusanyusa nnyo era n’agenda ewa Erisa okumwebaza. Naamani yagamba nti: ‘Kati nkitegedde nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.’ Olowooza omuwala omuto Omuyisirayiri yawulira atya Naamani bwe yakomawo awaka ng’awonye?

“Oleetedde akamwa k’abaana abato n’abawere okukutendereza.” ​—Matayo 21:16

Ebibuuzo: Olowooza kyayanguyira omuwala Omuyisirayiri okwogera ne mukyala wa Naamani? Olowooza kiki ekyayamba omuwala oyo okuba omuvumu?

2 Bassekabaka 5:1-19; Lukka 4:27

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share