Yigiriza Abaana Bo
Omululu Gwaleetera Gekazi Okufiirwa Enkolagana Ye ne Katonda
WALI owuliddeko ng’oyagala nnyo ekintu?—a Bwe kiba bwe kityo, olinga abantu abasinga obungi. Naye, osaanidde okulimba olw’okuba olina ky’oyagala okufuna?— Nedda. Omuntu akola bw’atyo aba wa mululu. Ka tulabe engeri omusajja ayitibwa Gekazi gye yafiirwamu enkolagana ye ne Katonda olw’omululu. Yali muweereza wa Erisa, nnabbi wa Yakuwa, Katonda ow’amazima.
Erisa ne Gekazi baaliwo dda nnyo, emyaka nga lukumi nga Yesu, omwana wa Katonda, tannazaalibwa ku nsi. Yakuwa yasobozesa Erisa okukola ebintu ebyewuunyisa—yakolanga eby’amagero! Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku musajja ow’ekitiibwa eyali mu ggye lya Busuuli eyali omulwadde w’ebigenge. Teri n’omu yasobola kumuwonya, naye Erisa yamuwonya.
Katonda bw’akozesa Erisa okuwonya abantu, Erisa takkiriza ssente ze bamuwa. Omanyi lwaki?— Erisa akimanyi nti amaanyi g’akozesa okukola ebyamagero si gage, wabula gava eri Yakuwa. Naamani bw’awonyezebwa asanyuka nnyo era asalawo okuwa Erisa zzaabu, ffeeza, n’ebyambalo ebirungi. Erisa agaana ebyo, naye ye Gekazi ayagala kubyetwalira.
Nga Naamani amaze okugenda, Gekazi amugoberera nga tabuuliddeeko Erisa. Gekazi bw’asanga Naamani, omanyi Gekazi ky’amugamba?— ‘Erisa antumye gy’oli nkugambe nti afunye abagenyi babiri. Akusaba omuwe ebyambalo bibiri asobole okubiwa abagenyi abo.’
Naye Gekazi alimba! Ebyo by’agambye Naamani nti abagenyi babiri bazze ayiiyizza biyiiye. Abimugambye olw’okuba ayagala ebyambalo Naamani by’abadde ayagala okuwa Erisa. Naye Naamani tamanyi nti Gekazi amulimba. N’olwekyo, Naamani asanyuka nnyo, era awa Gekazi ebirabo ebisinga n’ebyo Gekazi by’amusabye. Omanyi ekiddirira?—
Gekazi bw’addayo eka, Erisa amubuuza nti: ‘Ova wa?’
Gekazi amuddamu nti: ‘Sirina gye nva.’ Kyokka, Yakuwa asobozesezza Erisa okumanya ekyo Gekazi ky’akoze. N’olwekyo Erisa agamba Gekazi nti: ‘Kino si kiseera kya kukkiriza ssente n’ebyambalo!’
Olw’okuba Gekazi atutte ssente n’ebyambalo ebitali bibye, Katonda amulwaza ebigenge ebibadde ku Naamani. Ekyo kituyigiriza ki?— Kituyigiriza nti tetusaanidde kwogera bintu bitali bituufu.
Lwaki Gekazi yayogera eby’obulimba?— Kubanga yali wa mululu. Yeegomba ebintu ebitaali bibye, era n’alimba asobole okufuna ebintu ebyo. Ekyo kyamuviiramu okulwala obulwadde obubi ennyo okutuusa lwe yafa.
Kyokka waliwo ekintu ekibi ennyo n’okusinga okulwala ebigenge, ekyatuuka ku Gekazi. Okimanyi?— Yafiirwa enkolagana ye ne Katonda. Ka tuleme kukola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda! Mu kifo ky’ekyo, ka tubeere ba kisa era tugabane n’abalala ebintu bye tulina.
Soma mu Bayibuli yo
2 Bassekabaka 5: 5, 20-27; Yuda 21
[Obugambo obuli wansi]
a Bw’oba ng’osoma n’omwana, akasittale kalaga nti olina okusiriikiriramu n’oleka omwana n’awa endowooza ye.