OLUYIMBA 36
Tukuuma Emitima Gyaffe
Printed Edition
	- 1. Tukuuma ’mitima gyaffe; - ’Kibi tukyesamba. - Katonda ’laba ebiri - Munda mu mutima. - Omutima gugezaako - Nnyo okutulimba. - Tufube okugukuuma - Guleme ’ttuwabya. 
- 2. Tusemberera Katonda - Nga tumusabanga. - Tumwebaza buli lukya; - Tumutendereza. - Yakuwa by’atulagira - Tubigoberera. - ’Mitima gyaffe ginywera, - Ne tumusanyusa. 
- 3. Tuliisa ’mitima gyaffe - ’Bintu ebisaana. - Ekigambo kya Katonda - Kye kituluŋŋamya. - Abantu be abeesigwa - Yakuwa ’baagala. - Kale tujja kumusinza - Emirembe gyonna. 
(Laba ne Zab. 34:1; Baf. 4:8; 1 Peet. 3:4.)