OLUYIMBA 37
Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwaffe Gwonna
Printed Edition
1. Nze nkwagala nnyo Yakuwa
’Mufuzi w’obutonde bwonna.
Ŋŋwanidde okukusinza.
Obwesigwa nja kubukuuma.
Amateeka go ngagondera;
Nja kukola by’oyagala.
(CHORUS)
Ai Yakuwa ŋŋwanidde
Okukwemalirako ddala.
2. Buli kimu kye wakola
Kikuweesa ggwe ekitiibwa.
Mpaayo obulamu bwange
Bwonna n’amaanyi gange gonna.
Nneewaayo okukuweereza
Era nja kkituukiriza.
(CHORUS)
Ai Yakuwa ŋŋwanidde
Okukwemalirako ddala.
(Laba ne Ma. 6:15; Zab. 40:8; 113:1-3; Mub. 5:4; Yok. 4:34.)