Oluyimba 85
Empeera Egwanidde Yakuwa gy’Agaba
1. Yakuwa mwesigwa era amanyi
Bonna abamuweereza.
Akimanyi nti emirundi mingi
Babaako bye beefiiriza.
Bw’oba waleka nju oba ba ŋŋanda,
Katonda waffe alaba.
Kati akuwadde ab’oluganda
N’essuubi ery’ensi empya.
(CHORUS)
Yakuwa alaba buli kimu;
K’akuwe empeera egwanidde.
Funa obuddukiro gy’ali.
Yakuwa mwesigwa; Teyeerabira.
2. Abamu basazeewo okuba nga
Bali bwa nnamunigina.
Mu kukulembeza Obwakabaka,
Beemalira ku Katonda.
Mu kubeera kwabwe nga si bafumbo,
Oluusi bo bawuubaala.
Ka ffenna tubazzengamu amaanyi
Ng’ab’oluganda ’baagalwa.
(CHORUS)
Yakuwa alaba buli kimu;
K’akuwe empeera egwanidde.
Funa obuddukiro gy’ali.
Yakuwa mwesigwa; Teyeerabira.
(Era laba Balam. 11:38-40; Luus. 2:12; Mat. 19:12.)