Oluyimba 41
Sinza Katonda mu Buvubuka Bwo
Printed Edition
1. ’Baana mmwenna muli ba muwendo
Nnyo ddala mu maaso ga Katonda.
Abafaako ’kuyitira mu ffe
Bazadde bammwe, mikwano gyammwe.
2. Ssaamu bazadde bo ekitiibwa,
Olemenga kubasunguwaza.
Bw’osiimibwa Katonda n’abantu,
’Buvubuka bwo buba bwa ssanyu.
3. Mu buto bwo, jjukira Katonda;
Oyagalenga nnyo amazima.
Bw’oneemalira ggwe ku Katonda,
’Ssanyu lingi ly’onoomuleetera.
(Era laba Zab. 71:17; Kung. 3:27; Bef. 6:1-3.)