OLUYIMBA 117
Okwoleka Obulungi
Printed Edition
1. Ai Yakuwa Katonda,
’Nsibuko y’ebirungi,
Oli mwesigwa, wa kisa;
’Ngeri zo zonna nnungi.
Otulag’o busaasizi
Obutatugwanira.
Tugwanidd’o kukusinza
Era n’okkuweereza.
2. ’Bulungi bwo bweyoleka
Mw’abo bonna b’otuma.
’Mpisa zaabwe zibwoleka
N’ebyo bye babuulira.
’Basumba bo abalungi,
Booles’o bulungi bwo.
Otuwenga omwoyo gwo,
Twolese obulungi.
3. Ebirungi bye tukola
Bisiimibwe ’maaso go.
Twagale nnyo ’b’oluganda;
Tubafeeko nnyo ddala.
Wonna wonna gye tugenda,
Wonna we tuba tuli,
Ka tufubenga nnyo ddala
’Kwoleka obulungi.
(Laba ne Zab. 103:10; Mak. 10:18; Bag. 5:22; Bef. 5:9.)