LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 27 lup. 324-335
  • ‘Obulungi Bwe nga Busuffu!’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Obulungi Bwe nga Busuffu!’
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ngeri Nkulu Nnyo Ezingirwa mu Kwagala kwa Katonda
  • Obujulizi Obulaga Obulungi bwa Yakuwa Obungi
  • Obulungi Obuvaamu Emiganyulo egy’Olubeerera
  • Engeri Endala ez’Obulungi bwa Yakuwa
  • ‘Sanyuka olw’Obulungi bwa Yakuwa’
  • Yakuwa—Ekyokulabirako Ekisingayo Obukulu mu Kulaga Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Obulungi—Tuyinza Tutya Okubukulaakulanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Weeyongere Okwoleka Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Koppa Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 27 lup. 324-335
Ebirimba by’ezzabbibu ennyengevu.

ESSUULA 27

‘Obulungi Bwe nga Busuffu!’

1, 2. Obulungi bwa Katonda bukoma wa, era Bayibuli eggumiza etya engeri eno?

AWO ng’enjuba egolooba, ab’omukwano bali ku kijjulo mu luggya. Baseka, banyumya, ng’eno bwe banyumirwa okutunuulira enjuba ng’egolooba. Mu kitundu ekirala, omulimi atunuulira ennimiro ye era n’asanyuka kubanga ebire bikutte era amatondo g’enkuba gatandise okutonnya ku birime bye ebyetaaga ennyo enkuba. Ate mu kitundu ekirala, omwami n’omukyala basanyuka bwe balaba ng’omwana waabwe atandiikiriza okutambula.

2 Ka babe ng’abantu abo bakimanyi oba nedda, bonna baganyulwa mu bulungi bwa Yakuwa. Bannaddiini abamu batera okuddiŋŋana ebigambo bino: “Katonda mulungi.” Yo Bayibuli eggumiza ebigambo ebyo n’okusingawo. Egamba nti: ‘Obulungi bwe nga busuffu!’ (Zekkaliya 9:17) Kyokka kirabika abantu batono nnyo leero abamanyi ebigambo ebyo kye bitegeeza. Obulungi bwa Yakuwa Katonda buzingiramu ki, era engeri eno eya Katonda etukwatako etya?

Ngeri Nkulu Nnyo Ezingirwa mu Kwagala kwa Katonda

3, 4. Obulungi kye ki, era lwaki obulungi bwa Yakuwa buyinza okwogerwako ng’engeri eyoleka okwagala kwe?

3 Mu Bayibuli, ekigambo ‘obulungi’ okusingira ddala kitegeeza empisa ennungi. N’olwekyo, tuyinza okugamba nti Yakuwa ye nsibuko y’obulungi. Engeri ze zonna gamba ng’amaanyi, obwenkanya, n’amagezi, nnungi nnyo. Wadde kiri kityo, obulungi buyinza okwogerwako ng’emu ku ngeri ezooleka okwagala kwa Yakuwa. Lwaki?

4 Obulungi ngeri eyeeyolekera mu bikolwa. Omutume Pawulo yalaga nti mu bantu, engeri eno esikiriza nnyo okusinga obutuukirivu. (Abaruumi 5:7) Omuntu omutuukirivu aba agoberera butiribiri amateeka, naye omuntu omulungi akola ekisingawo ku ekyo. Abaako ne ky’akolawo okuyamba abalala. Nga bwe tujja okulaba, Yakuwa mulungi mu ngeri eyo. Kya lwatu, obulungi ng’obwo busibuka mu kwagala kwa Yakuwa okungi.

5-7. Lwaki Yesu yagaana okuyitibwa “Omuyigiriza Omulungi,” era kintu ki ekikulu kye yaggumiza?

5 Yakuwa era wa njawulo mu ngeri gy’alagamu obulungi bwe. Ng’ebulayo ekiseera kitono Yesu attibwe, omusajja omu yamutuukirira n’amubuuza ekibuuzo, era n’amuyita “Omuyigiriza Omulungi.” Yesu yamuddamu nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.” (Makko 10:17, 18) Ebigambo ebyo biyinza okukwewuunyisa. Yesu yali ‘Muyigiriza Mulungi.’ Kati olwo lwaki yagolola omusajja oyo?

6 Kya lwatu, omusajja oyo yakozesa ebigambo “Omuyigiriza Omulungi” ng’awa Yesu ekitiibwa eky’ensusso. Ekitiibwa ng’ekyo, mu bwetoowaze Yesu yakiwa Kitaawe ow’omu ggulu, omulungi ku kigero ekisingayo. (Engero 11:2) Kyokka era Yesu alina ekintu ekikulu kye yali aggumiza. Yakuwa yekka y’alina obuyinza obwenkomeredde okusalawo ekirungi n’ekibi. Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Yakuwa ne balya ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi, baayagala okuba n’obuyinza obwo. Obutafaananako Adamu ne Kaawa, Yesu yayoleka obwetoowaze ng’aleka Kitaawe okumusalirawo ekirungi n’ekibi.

7 Ate era Yesu yali amanyi nti Yakuwa ye Nsibuko ya buli kirungi kyonna. Ye Mugabi wa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.” (Yakobo 1:17) Ka tulabe engeri Yakuwa gy’ayolekamu obulungi bwe ng’agabira abalala.

Obujulizi Obulaga Obulungi bwa Yakuwa Obungi

8. Yakuwa akiraze atya nti mulungi eri abantu bonna?

8 Buli muntu eyali abaddewo ku nsi aganyuddwa mu bulungi bwa Yakuwa. Zabbuli 145:9 lugamba nti: “Yakuwa mulungi eri bonna.” Ebimu ku byokulabirako ebiraga obulungi bwa Yakuwa bye biruwa? Bayibuli egamba nti: “Yeewaako obujulirwa ng’akola ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.” (Ebikolwa 14:17) Bw’olya emmere ekuwoomera, osanyuka? Singa tebwali bulungi bwa Yakuwa mu kuteekateeka ensi awamu n’amazzi agagiriko, era “ng’abaza emmere mu biseera byayo,” tewandibaddewo mmere. Obulungi bwe tabulaze abo bokka abamwagala, wabula abulaze buli omu. Yesu yagamba nti: “Omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Matayo 5:45.

9. Apo eyoleka etya obulungi bwa Yakuwa?

9 Bangi tebasiima bulungi bwa Yakuwa olw’okuba ebintu ebyoleka obulungi bwe gamba ng’ekitangaala, enkuba, n’ebiseera emmere mw’ebalira, bulijjo bibaawo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kibala ekiyitibwa apo. Ekibala ekyo kirimibwa mu bitundu ebimu eby’ensi ebitali bya bbugumu nnyo era nga si binnyogovu nnyo. Kirabika bulungi, kiwooma nnyo, kiweweeza ng’okiridde, era kirimu ebiriisa bingi. Obadde okimanyi nti okwetooloola ensi yonna waliyo ebika bya apo nga 7,500, nga mwe muli ebya langi emmyufu, eya kyenvu, kiragala, era ng’eriyo entono ennyo ezenkana ensaali n’ennene ennyo ezenkana sseccungwa? Bw’otunuulira akasigo ka apo akatono ennyo, kayinza okulabika ng’akatalina mugaso. Kyokka akasigo ako akatono ennyo kavaamu omuti omulungi. (Oluyimba 2:3) Mu kiseera ekigere omuti gwa apo gumulisa ebimuli oluvannyuma ne gussaako ebibala bingi. Omuti gwa apo guyinza okuwangaala emyaka 75, nga buli mwaka gubala ebibala ebijjuza ebibokisi 20 nga buli kimu kizitowa kilo 19!

Yakuwa ‘abawa enkuba n’ebiseera eby’okubaliramu emmere’

Omusiri gwa apo ezengedde. Akafaananyi akatono kalaga ng’omuntu akutte akasigo ka apo.

Akaweke kano akatono ennyo kavaamu omuti oguyinza okuliisa n’okusanyusa abantu okumala emyaka mingi

10, 11. Okulaba, okuwulira, okuwunyiriza, okukwatako, n’okuloza, byoleka bitya obulungi bwa Katonda?

10 Ow’okuba Yakuwa mulungi, yatuwa omubiri ‘ogwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo,’ nga gutusobozesa okutegeera bye yakola n’okubisanyukira. (Zabbuli 139:14) Lowooza ku ebyo ebyayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno. Biki bye tulaba ebitusanyusa? Akaseko k’omwana asanyuse. Enkuba ng’etonnya mu nnimiro. Langi emmyufu, eya kyenvu, n’endala ezirabibwa ng’enjuba egolooba. Eriiso ly’omuntu lisobola okulaba langi ez’enjawulo mitwalo na mitwalo, oba bukadde na bukadde! Era tuyinza okuwulira amaloboozi agatali gamu, gamba ng’okuwuuma kw’empewo ekunta mu miti, n’okuseka kw’omwana omuto. Lwaki tusobola okulaba n’okuwulira ebintu ng’ebyo? Bayibuli egamba nti: “Amatu agawulira n’amaaso agalaba—Byombi Yakuwa ye yabikola.” (Engero 20:12) Naye ebyo bintu bibiri byokka bye twogeddeko.

11 Okuwunyiriza kye kintu ekirala ekyoleka obulungi bwa Yakuwa. Ennyindo y’omuntu esobola okwawulawo obuwoowo obw’enjawulo obuwerera ddala ng’obuwumbi 1,000,000. Ng’ekyokulabirako, esobola okuwunyiriza akawoowo k’emmere gy’oyagala, ebimuli, n’omukka oguva mu kyokero. Okukwatako nakwo kukusobozesa okuwulira obuweweevu bw’ekibala, empewo ng’ekufuuye ku mubiri, oba omwagalwa wo ng’akugudde mu kifuba. Bw’olya ekibala, oba okozesa obusobozi obw’okulozaako. Owulira obuwoomi bwakyo. Mazima ddala tulina ensonga ennungi okwogera bwe tuti ku Yakuwa: “Obulungi bwo nga bungi nnyo! Obuterekedde abo abakutya.” (Zabbuli 31:19) Naye Yakuwa ‘aterekedde’ atya obulungi abo abamutya?

Obulungi Obuvaamu Emiganyulo egy’Olubeerera

12. Nteekateeka ki okuva eri Yakuwa ezisinga obukulu, era lwaki?

12 Yesu yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’” (Matayo 4:4) Mazima ddala, enteekateeka za Yakuwa ez’eby’omwoyo zituganyula nnyo n’okusinga ez’eby’omubiri, kubanga zitusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Mu ssuula 8 ey’ekatabo kano, twalaba nti Yakuwa akozesezza amaanyi ge ag’okuzza obuggya ebintu mu nnaku zino ez’enkomerero okusobola okussaawo olusuku olw’eby’omwoyo. Mu lusuku olwo tulina emmere nnyingi nnyo ey’eby’omwoyo.

13, 14. (a) Kiki nnabbi Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa, era kirina makulu ki gye tuli leero? (b) Nteekateeka ki ez’eby’omwoyo Yakuwa z’akolera abaweereza be abeesigwa?

13 Mu bumu ku bunnabbi obukulu ennyo obw’okuzza ebintu obuggya, nnabbi Ezeekyeri yalaba mu kwolesebwa ensi ezziddwa obuggya ne yeekaalu egulumiziddwa. Amazzi gaakulukuta okuva mu yeekaalu, ne gagenda nga geeyongera obungi okutuusa lwe gaafuuka omugga. Buli gye gwakulukutiranga, gwaleetanga emikisa. Ku mabbali gaagwo kwakulako emiti egyaliko ebibala n’ebikoola ebiwonya. Era omugga ogwo gwaleeta obulamu mu Nnyanja Enfu! (Ezeekyeri 47:1-12) Naye ebyo byonna byali bitegeeza ki?

14 Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu kwali kutegeeza nti Yakuwa yandizzizzaawo okusinza okulongoofu. Okusinza okwo kwandibadde kutuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Okufaananako omugga ogwo gwe yalaba mu kwolesebwa, enteekateeka za Katonda ez’okusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo zandikulukuse eri abantu be mu bungi. Okuva okusinza okulongoofu lwe kwazzibwawo mu 1919, Yakuwa akoledde abantu be enteekateeka ez’okufuna obulamu. Mu ngeri ki? Okuyitira mu Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, n’enkuŋŋaana ennene n’entono, Yakuwa ayigirizza abantu bangi nnyo amazima ag’omuwendo naddala agakwata ku ssaddaaka ya Yesu. Olw’okuba Yesu yatufiirira, abo bonna abaagala Yakuwa basobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi era n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.a N’olwekyo, mu nnaku zino ez’enkomerero, ng’ensi eri mu njala ey’eby’omwoyo, abantu ba Yakuwa bafuna emmere ey’eby’omwoyo mu bungi.—Isaaya 65:13.

15. Obulungi bwa Yakuwa bunaakulukuta mu ngeri ki eri abantu abeesigwa mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?

15 Naye omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa tegujja kulekera awo kukulukuta ng’enteekateeka ya Sitaani ezikiriziddwa. Gujja kweyongera okukulukuta ne mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Olwo nno, okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, Yakuwa ajja kukozesa ssaddaaka ya Yesu mu bujjuvu, mpolampola afuule abantu abatuukiridde. Mu kiseera ekyo, nga tulisanyukira nnyo obulungi bwa Yakuwa!

Engeri Endala ez’Obulungi bwa Yakuwa

16. Bayibuli eraga etya nti obulungi bwa Yakuwa buzingiramu n’engeri endala, era ezimu ku zo ze ziruwa?

16 Obulungi bwa Yakuwa tebukoma ku kuba nti mugabi. Yagamba Musa nti: “Nja kukusobozesa okulaba obulungi bwange bwonna, era nja kulangirira erinnya lya Yakuwa mu maaso go; nja kulaga ekisa oyo gwe nnaalaga ekisa era nja kusaasira oyo gwe nnaasaasira.” Oluvannyuma Yakuwa yayita mu maaso ge ng’alangirira nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi.” (Okuva 33:19; 34:6) N’olwekyo, obulungi bwa Yakuwa buzingiramu engeri endala ennungi. Ka tulabeyo bbiri ku zo.

17. Yakuwa akolagana atya n’abantu abatatuukiride, era ngeri ki emuleetera okukolagana nabo bw’atyo?

17 ‘Wa kisa.’ Engeri eyo ereetera Yakuwa okukolagana n’ebitonde bye mu ngeri ey’obukkakkamu era ng’atuukirikika. Mu kifo ky’okubeera ow’ettima, atalina mukwano, oba nnaakyemalira ng’abantu abalina obuyinza bwe batera okubeera, Yakuwa mukkakkamu era wa kisa. Ng’ekyokulabirako, yagamba Ibulaamu nti: “Nkusaba oyimuse amaaso go ng’oyima w’oli otunule ebukiikakkono, n’ebukiikaddyo, n’ebuvanjuba, n’ebugwanjuba.” (Olubereberye 13:14) Mu lunyiriri olwo abavvuunuzi ba Bayibuli bangi baggyamu ekigambo “nkusaba.” Naye abeekenneenya ba Bayibuli bagamba nti ebigambo by’Olwebbulaniya olwasooka ebikozesebwa mu lunyiriri luno byoleka okusaba mu bukkakkamu so si okulagira. Waliwo n’ebyokulabirako ebirala ebifaananako n’ekyo. (Olubereberye 31:12; Ezeekyeri 8:5) Kirowoozeeko, Omufuzi w’obutonde bwonna ayogera n’abantu mu bukkakkamu ng’alina ky’abasaba! Mu nsi ejjudde abantu abatalina kisa, tekizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa Katonda waffe wa kisa?

18. Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’alina amazima amangi,’ era lwaki ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi?

18 ‘Alina amazima mangi.’ Abantu bangi si beesigwa leero. Naye Bayibuli egamba nti: “Katonda si muntu nti asobola okulimba.” (Okubala 23:19) Mu butuufu, Tito 1:2, lugamba nti ‘Katonda tayinza kulimba.’ Mulungi nnyo ne kiba nti tasobola kulimba. N’olwekyo, ebisuubizo bya Yakuwa byesigika era by’ayogera bulijjo bituukirira. Ate era Yakuwa ayitibwa “Katonda ow’amazima.” (Zabbuli 31:5, obugambo obuli wansi) Ng’oggyeeko okuba nti talimba, ategeeza abalala amazima mu bungi. Takola bintu mu nkukutu; wabula awa abaweereza be abeesigwa ekitangaala okuva mu tterekero lye ery’amagezi.b Abayigiriza n’engeri y’okukolera ku mazima g’abayigiriza ne basobola ‘okutambulira mu mazima.’ (3 Yokaana 3) Obulungi bwa Yakuwa bwanditukutteko butya kinnoomu?

‘Sanyuka olw’Obulungi bwa Yakuwa’

19, 20. (a) Sitaani yaleetera atya Kaawa okubuusabuusa obulungi bwa Yakuwa, era kiki ekyavaamu? (b) Bw’olowooza ku bulungi bwa Yakuwa, okwatibwako otya?

19 Sitaani bwe yali akema Kaawa mu lusuku Edeni, mu ngeri ey’olukujjukujju yamuleetera okubuusabuusa obulungi bwa Yakuwa. Yakuwa yali agambye Adamu nti: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala.” Ku miti gyonna egyali mu lusuku olwo, gumu gwokka Yakuwa gwe yabagaana okulyako. Kyokka weetegereze engeri Sitaani gye yabuuzaamu Kaawa. Yamubuuza nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” (Olubereberye 2:9, 16; 3:1) Sitaani yanyoolanyoola ebigambo bya Yakuwa, Kaawa alowooze nti Yakuwa yalina ekirungi kye yali abakweka. Eky’ennaku, akakodyo ako kaakola. Kaawa, okufaananako abasajja n’abakazi bangi abaamuddirira, yatandika okubuusabuusa obulungi bwa Katonda eyali amuwadde buli kimu kye yalina.

20 Tumanyi ennaku n’okubonaabona ebyava mu kubuusabuusa okwo. N’olwekyo, ka tukolere ku bigambo ebiri mu Yeremiya 31:12 awagamba nti: ‘Balisanyuka olw’obulungi bwa Yakuwa.’ Mazima ddala, obulungi bwa Yakuwa bwandituleetedde essanyu ppitirivu. Tetulina kubuusabuusa biruubirirwa bya Katonda waffe, ajjudde obulungi. Tusaanidde okumwesiga mu bujjuvu kubanga abo abamwagala abaagaliza birungi byereere.

21, 22. (a) Ngeri ki ezimu mw’oyinza okulagira nti osiima obulungi bwa Yakuwa? (b) Ngeri ki gye tujja okwogerako mu ssuula eddako, era eyawukana etya ku bulungi?

21 Ate era bwe tufuna akakisa okutegeeza abalala ku bulungi bwa Yakuwa, tufuna essanyu. Zabbuli 145:7 lwogera bwe luti ku bantu ba Katonda: “Ebigambo byabwe eby’okutendereza bijja kukulukuta ng’amazzi bwe banajjukiranga obulungi bwo obungi.” Buli lunaku tuganyulwa mu bulungi bwa Yakuwa mu ngeri emu oba endala. Lwaki togifuula mpisa yo okwebaza Yakuwa buli lunaku olw’obulungi bwe, ng’oyogera ku kintu ekirungi ky’aba akoze? Okulowooza ku bulungi bwe, okububuulirako abalala, n’okumwebaza buli lunaku, kijja kutuyamba okukoppa Katonda waffe omulungi. Ate era bwe tufuba okwoleka obulungi nga Yakuwa bw’akola, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okunywera. Omutume Yokaana yagamba nti: “Omwagalwa, tokoppanga bibi wabula koppanga ebirungi. Oyo akola ebirungi ava eri Katonda.”—3 Yokaana 11.

22 Obulungi bwa Yakuwa era bukwataganyizibwa n’engeri endala. Ng’ekyokulabirako, Katonda “alina okwagala kungi okutajjulukuka” oba mwesigwa nnyo. (Okuva 34:6) Engeri eno, okusingira ddala Yakuwa agyoleka eri abaweereza be abeesigwa. Mu ssuula eddako, tujja kuyiga engeri gy’agyolekamu.

a Ekinunulo kye kisingayo okwoleka obulungi bwa Yakuwa. Ku bukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo, Yakuwa yalondamu Omwana we omu yekka omwagalwa, okutufiiririra.

b Nga kituukirawo, Bayibuli ekwataganya amazima n’ekitangaala. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Sindika ekitangaala kyo n’amazima go.” (Zabbuli 43:3) Abo abaagala okuyigirizibwa Yakuwa abawa ekitangaala eky’eby’omwoyo mu bungi.—2 Abakkolinso 4:6; 1 Yokaana 1:5.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • 1 Bassekabaka 8:54-61, 66 Sulemaani yasiima atya obulungi bwa Yakuwa, era ekyo kyakwata kitya ku Bayisirayiri?

  • Zabbuli 119:66, 68 Okusaba kwaffe kuyinza kutya okulaga nti twagala okukoppa obulungi bwa Yakuwa?

  • Lukka 6:32-38 Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abagabi nga Yakuwa?

  • Abaruumi 12:2, 9, 17-21 Tuyinza tutya okwoleka obulungi eri abalala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share