LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 2/1 lup. 14-18
  • Weeyongere Okwoleka Obulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okwoleka Obulungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kibala kya Kitangaala
  • Kibala kya Mwoyo
  • ‘Kolanga Bulungi’
  • ‘Mubeerenga Beegendereza’
  • Obulungi Buvaamu Ebibala Ebirungi
  • Weeyongere ‘Okukola Ebirungi’
  • Yakuwa—Ekyokulabirako Ekisingayo Obukulu mu Kulaga Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • ‘Obulungi Bwe nga Busuffu!’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Obulungi—Tuyinza Tutya Okubukulaakulanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Koppa Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 2/1 lup. 14-18

Weeyongere Okwoleka Obulungi

“Mu bibala by’ekitangaala mulimu obulungi obwa buli kika n’obutuukirivu era n’amazima.”​—ABAEFESO 5:9, NW.

1. Obukadde n’obukadde bw’abantu balaga batya nti bakkiriziganya n’ebiri mu Zabbuli 31:19?

EKINTU ekisingayo obulungi omuntu yenna ky’ayinza okukola kwe kuwa Yakuwa ekitiibwa. Leero, obukadde n’obukadde bw’abantu kino bakikola nga batendereza Katonda olw’obulungi bwe. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa abeesigwa, tukkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyayimba: “Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g’abaana b’abantu!”​— Zabbuli 31:19.

2, 3. Kiki ekiyinza okubaawo singa tetuba na mpisa nnungi nga tukola omulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa?

2 Okutya Yakuwa kutuleetera okumutendereza olw’obulungi bwe. Era kutuleetera ‘okumwebazanga, okumutendereza, era n’okwogera ku kitiibwa ky’obwakabaka bwe.’ (Zabbuli 145:10-13) Eyo ye nsonga lwaki tunyiikirira omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Kya lwatu nti okugatta ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira tuteekwa okwoleka empisa ennungi. Bwe kitaba bwe kityo, tuyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa ettukuvu.

3 Abantu bangi bagamba nti baweereza Katonda, naye empisa zaabwe tezituukana na mitindo gy’empisa egiri mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Omutume Pawulo yawandiika bw’ati ku abo abaali batatuukana na mpisa nnungi ze baagamba nti bagoberera: “Ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? Abuulira obutabbanga, obba? Ayogera obutayendanga, oyenda? . . . Erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b’amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.”​—Abaruumi 2:21, 22, 24.

4. Empisa zaffe ennungi ziyinza kuvaamu birungi ki?

4 Mu kifo ky’okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa, tugezaako okuliweesa ekitiibwa okuyitira mu mpisa zaffe ennungi. Ekyo kirina ekirungi kye kiyinza okukola ku abo abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, kitusobozesa okusirisa abo abatuziyiza. (1 Peetero 2:15) N’ekisinga obukulu, empisa zaffe ennungi zisikiriza abantu okujja mu kibiina kya Yakuwa, ne kibasobozesa okumuwa ekitiibwa, era ne baba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Ebikolwa 13:48.

5. Bibuuzo ki bye tulina okwekenneenya kati?

5 Okuva bwe tuli abantu abatuukiridde, tuyinza tutya okwewala empisa ezitaweesa Yakuwa kitiibwa era ezeesitazza abantu abaagala amazima? Mazima ddala, tuyinza tutya okutuuka ku buwanguzi mu kwoleka obulungi?

Kibala kya Kitangaala

6. Bikolwa ki ebimu ‘ebitalina mugaso eby’ekizikiza,’ naye Abakristaayo basaanidde kubeera na bibala ki?

6 Ng’Abakristaayo abeewaayo eri Yakuwa, tulina ekintu ekituyamba okwewala ‘ebikolwa ebitalina mugaso eby’ekizikiza.’ Ebyo bitwaliramu ebikolwa ebitaweesa Katonda kitiibwa, gamba ng’okulimba, okubba, okuvuma, emboozi ezitasaana ezikwata ku kwetaba, empisa eziweebuula, okubalaata, n’obutamiivu. (Abaefeso 4:25, 28, 31; 5:3, 4, 11, 12, 18) Mu kifo ky’okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo, ‘tweyongera okutambula ng’abaana b’ekitangaala.’ Omutume Pawulo agamba nti “mu bibala by’ekitangaala mulimu obulungi obwa buli kika n’obutuukirivu era n’amazima.” (Abaefeso 5:8, 9, NW) N’olwekyo, bwe tutambulira mu kitangaala, tusobola okweyongera okwoleka obulungi. Naye kitangaala kya ngeri ki ekyogerwako?

7. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okweyongera okwoleka ekibala eky’obulungi?

7 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okwoleka obulungi singa tutambulira mu kitangaala eky’eby’omwoyo. Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, [n’ekitangaala] eri ekkubo lyange.” (Zabbuli 119:105) Bwe tuba twagala okweyongera okwoleka ‘ebibala eby’ekitangaala’ okuyitira mu ‘ngeri zonna ez’obulungi,’ tusaanidde okukozesa ekitangaala ky’eby’omwoyo ekisangibwa mu Kigambo kya Katonda, ekyekenneenyezebwa mu bitabo by’Ekikristaayo, era ekikubaganyizibwako ebirowoozo obutayosa mu nkuŋŋaana zaffe ez’okusinza. (Lukka 12:42; Abaruumi 15:4; Abaebbulaniya 10:24, 25) Era tuteekwa okussaayo ennyo omwoyo ku kyokulabirako n’okuyigiriza kwa Yesu Kristo, ‘ekitangaala ky’ensi,’ era oyo ‘ayolesa ekitiibwa kya Yakuwa.’​—Yokaana 8:12; Abaebbulaniya 1:1-3.

Kibala kya Mwoyo

8. Lwaki tusobola okwoleka obulungi?

8 Mazima ddala, ekitangaala ky’eby’omwoyo kituyamba okwoleka obulungi. Ate era, tusobola okwoleka engeri eyo kubanga tukulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi ge agakola. Obulungi kye kimu ku ‘bibala by’omwoyo.’ (Abaggalatiya 5:22, 23) Singa tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, tujja kubala ekibala kyagwo eky’obulungi.

9. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 11:9-13?

9 Okwagala okusanyusa ennyo Yakuwa nga twoleka ekibala ky’omwoyo eky’obulungi, kyandituleetedde okweyisa mu ngeri etuukana n’ebigambo bya Yesu: “Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n’anoonya alaba; n’eyeeyanjula aliggulirwawo. Era ani ku mmwe kitaawe w’omuntu omwana we bw’alimusaba ekyennyanja, n’amuwa omusota mu kifo ky’ekyennyanja? Oba bw’alisaba eggi, n’amuwa enjaba? Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu [abo] abamusaba.” (Lukka 11:9-13) Ka tugoberere okubuulirira kwa Yesu nga tusaba okuweebwa omwoyo gwa Yakuwa gutusobozese okweyongera okwoleka ekibala kyagwo eky’obulungi.

‘Kolanga Bulungi’

10. Ngeri ki ez’enjawulo obulungi bwa Yakuwa gye bwolesebwamu ezoogerwako mu Okuva 34:6, 7?

10 Bwe tubeera n’ekitangaala ekiva mu Kigambo kya Katonda era nga tulina obuyambi bw’omwoyo gwe omutukuvu, tusobola ‘okukolanga obulungi.’ (Abaruumi 13:3) Okuyitira mu kweyigiriza Baibuli obutayosa, tusobola okuyiga bingi nnyo ebikwata ku ngeri gye tusobola okukoppamu obulungi bwa Yakuwa. Mu kitundu ekyasooka twekenneenya engeri ez’enjawulo obulungi bwa Katonda gye bwolesebwamu mu kirangiriro eri Musa ekiri mu Okuva 34:6, 7 (NW), we tusoma: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era alumirirwa, alwawo okusunguwala, era ow’ekisa ekingi n’amazima, alaga ekisa eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi n’okwonoona n’ekibi, kyokka nga talemwa kuwa bibonerezo.” Bwe twekenneenya engeri ezo ez’obulungi bwa Yakuwa, kijja kutuyamba ‘okukolanga obulungi.’

11. Bwe tumanya nti Yakuwa wa kisa era alumirirwa abalala, kyanditukozeeko ki?

11 Ekirangiriro ekyo kiraga nti tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tuba ba kisa era abantu abalumirirwa abalala. Yesu yagamba nti, “balina omukisa ab’ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.” (Matayo 5:7; Lukka 6:36) Bwe tumanya nti Yakuwa wa kisa, kituleetera okwoleka ekisa n’okubeera n’engeri ennungi nga tukolagana n’abalala, nga mw’otwalidde n’abo be tubuulira. Kino kituukagana bulungi n’ebigambo bya Pawulo: ‘Ebigambo byammwe bibeerenga bya kisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.’​—Abakkolosaayi 4:6.

12. (a) Okuva Katonda bw’alwawo okusunguwala, twandyeyisizza tutya eri abalala? (b) Ekisa kya Yakuwa kituleetera kukola ki?

12 Okuva Katonda bw’alwawo okusunguwala, okwagala ‘okukolanga ebirungi’ eri abalala kutuleetera okugumiikiriza obusobyosobyo bwa bakkiriza bannaffe, era essira ne tulissa ku ngeri ennungi ze balina. (Matayo 7:5; Yakobo 1:19) Ekisa kya Yakuwa kituleetera okwoleka okwagala okunywevu, wadde nga twolekaganye n’embeera enzibu ennyo. Mazima ddala ekyo tukyagala nnyo.​—Engero 19:22.

13. Twandyeyisizza tutya okulaga nti Yakuwa ‘alina amazima amangi’?

13 Okuva Kitaffe ow’omu ggulu bw’alina ‘amazima amangi,’ naffe ‘twetaaga okulaga nti tuli baweereza be nga twogera ebigambo eby’amazima.’ (2 Abakkolinso 6:3-7, NW) Mu bintu omusanvu eby’omuzizo eri Yakuwa, mwe muli “olulimi olulimba” ne “omujulirwa ayogera eby’obulimba.” (Engero 6:16-19) N’olwekyo, okwagala okusanyusa Katonda kutuleetera ‘okwambula obulimba era ne twogera amazima.’ (Abaefeso 4:25) Ka tuleme kulemererwa kwoleka bulungi mu ngeri eno enkulu.

14. Lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala?

14 Ekirangiriro kya Katonda eri Musa era kyandituleetedde okusonyiwa abalala, kubanga Yakuwa asonyiwa. (Matayo 6:14, 15) Kya lwatu, Yakuwa abonereza aboonoonyi abateenenya. N’olw’ensonga eyo, tusaanidde okugoberera emitindo gye ku nsonga ezikwata ku kukuuma ekibiina nga kiyonjo mu by’omwoyo.​—Abaleevi 5:1; 1 Abakkolinso 5:11, 12; 1 Timoseewo 5:22.

‘Mubeerenga Beegendereza’

15, 16. Okubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaefeso 5:15-19 kusobola kutya okutuyamba okweyongera okukola obulungi?

15 Okusobola okweyongera okwoleka obulungi wadde nga twetooloddwa obubi bungi, twetaaga okujjuzibwa omwoyo gwa Katonda era n’okwegendereza engeri gye tutambulamu. N’olw’ensonga eyo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo ab’omu Efeso: “Mwegendereze nnyo mutambule ng’abantu ab’amagezi so si ng’abatalina magezi, nga mweguliranga ebiseera, kubanga ennaku zino mbi. N’olw’ensonga eyo, temubeera ng’abatalina magezi, naye mutegeerenga Yakuwa ky’ayagala bwe kiri. Ate era, temutamiiranga mwenge, kubanga ekyo kyonoona empisa, naye mujjulenga omwoyo, nga mwogeranga buli omu eri munne zabbuli n’okutendereza Katonda n’ennyimba ez’eby’omwoyo, nga muyimbiranga Yakuwa era nga mumutenderezanga mu mitima gyammwe.” (Abaefeso 5:15-19, NW) Mazima ddala, okubuulirira kuno kutugwanira mu nnaku zino ez’oluvannyuma enzibu ennyo.​—2 Timoseewo 3:1.

16 Bwe tuba ab’okweyongera okukola obulungi, tuteekwa okwegendereza tutambule ng’abo abalina amagezi agava eri Katonda. (Yakobo 3:17) Tuteekwa okwewala okukola ebibi eby’amaanyi era tuteekwa okujjuzibwa omwoyo omutukuvu, era tuguleke gutukulembere mu bulamu bwaffe. (Abaggalatiya 5:19-25) Bwe tukozesa obulagirizi bw’eby’omwoyo bwe tufuna mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo ennene n’entono, tusobola okweyongera okukola obulungi. Ebigambo bya Pawulo eri Abaefeso era biyinza okutujjukiza nti mu nkuŋŋaana zaffe ez’okusinza ezisinga obungi, tuganyulwa mu kuyimba “ennyimba ez’eby’omwoyo” nga nnyingi ku zo zissa essira ku ngeri ez’eby’omwoyo, gamba ng’obulungi.

17. Bwe kiba nti embeera zaabwe tezibasobozesa kubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, abo abalwadde ennyo bayinza kuba bakakafu ku ki?

17 Naye ate kiri kitya eri bakkiriza bannaffe abatasobola kujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa olw’obulwadde obw’amaanyi obw’olukonvuba? Bayinza okuwulira nga baweddemu amaanyi kubanga tebasobola kusinza Yakuwa nga bali wamu ne baganda baabwe ne bannyinaabwe mu by’omwoyo. Naye basobola okuba abakakafu nti Yakuwa ategeera embeera zaabwe, era nti ajja kubakuumira mu mazima. Era bayinza okuba abakakafu nti ajja kubawa omwoyo gwe omutukuvu era abayambe okweyongera okukola obulungi.​—Isaaya 57:15.

18. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okukola obulungi?

18 Okusobola okweyongera okukola obulungi, kitwetaagisa okwegendereza baani be tukolagana nabo era n’okweyawula ku abo “abatayagala bulungi.” (2 Timoseewo 3:2-5; 1 Abakkolinso 15:33) Okukolera ku kubuulirirwa ng’okwo kituyamba okwewala ‘okunakuwazanga omwoyo gwa Katonda omutukuvu’ nga tukola ebyo ebikontana n’obulagirizi bwagwo. (Abaefeso 4:30) Ate era, tuyambibwa okukola ebirungi singa tubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’abo abeeyisa mu ngeri eraga nti baagala obulungi era nti bakulemberwa omwoyo gwa Yakuwa.​—Amosi 5:15; Abaruumi 8:14; Abaggalatiya 5:18.

Obulungi Buvaamu Ebibala Ebirungi

19-21. Waayo ebyokulabirako ebiraga omuganyulo oguva mu kwoleka obulungi.

19 Okutambulira mu kitangaala eky’eby’omwoyo, okugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, era n’okwegendereza engeri gye tutambulamu, bijja kutuyamba okwewala ekibi ‘n’okweyongera okukola obulungi.’ Ekyo kisobola okuvaamu ebibala ebirungi. Lowooza ku kyokulabirako kya Zongezile, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu South Africa. Lumu ku makya bwe yali agenda ku ssomero, yayitirako ku banka okumanya obusente bwe yali asigazzaayo ku akaawunta ye. Omuwendo ogwali ku kapapula akaava mu kyuma ekiraga ssente omuntu z’alina ku akaawunta, gwalaga nti ekyuma ekyo kyali kibaze bubi era nga kimwongeddemu doola 6,000. Omukuumi ku banka n’abantu abalala baamukubiriza aggyeyo ssente ezo aziteeke mu banka endala. Omugogo gw’Abajulirwa abafumbo be yali abeera nabo, be bokka abaamwebaza olw’obutaggyayo ssente ezo.

20 Bwe yaddayo ku lunaku olulala nga banka egguddewo, Zongezile yategeeza ab’omu banka ensobi eyo. Kyazuulibwa nti ennamba y’akaawunta ye yali efaanagana n’ey’omusuubuzi omugagga ennyo eyali atadde ssente ze mu bukyamu ku akaawunta eyo endala. Omusuubuzi oyo yeewunya nnyo nti Zongezile yali takozesezza ssente ezo era yamubuuza: “Oli wa ddiini ki?” Zongezile yannyonnyola nti yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Abakungu ba banka baamwebaza nnyo era ne bagamba: “Kyandibadde kirungi singa abantu bonna baali beesigwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa.” Mazima ddala, ebikolwa ebyoleka obwesigwa n’obulungi biyinza okuleetera abalala okuwa Yakuwa ekitiibwa.​—Abaebbulaniya 13:18.

21 Ebikolwa ebirungi tebirina kubeera bya maanyi nnyo okusobola okubaako ekirungi kye bikola ku bantu. Okuwaayo ekyokulabirako: Omujulirwa omuvubuka akola ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna ku kizinga ky’e Samoa yagenda mu ddwaliro. Abantu baali balinze okulaba omusawo, era Omujulirwa ono yeetegereza nti omukyala omukadde eyali amuliraanye yali mulwadde nnyo. Yagamba omukyala oyo adde mu kifo kye asobole okukolwako amangu. Nga wayiseewo ennaku ntono, Omujulirwa yasisinkana omukyala oyo omukadde mu katale. Omukyala oyo yajjukira Omujulirwa oyo awamu n’ekikolwa ekirungi kye yamukolera ng’ali mu ddwaliro. Omukyala oyo yagamba: “Kati nkitegedde nti Abajulirwa ba Yakuwa baagala nnyo baliraanwa baabwe.” Wadde ng’emabegako yali tayagala bubaka bw’Obwakabaka, ebirungi Omujulirwa bye yamukolera byalina kinene kye byamukolako. Yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli mu maka ge era n’atandika okutegeera ebiri mu Kigambo kya Katonda.

22. Ngeri ki emu enkulu ennyo ‘ey’okukolamu obulungi’?

22 Awatali kubuusabuusa, oyinza okuttottola ebyokulabirako bingi ebiraga nga bwe kiri eky’omuganyulo okwoleka obulungi. Engeri emu enkulu ‘ey’okukolangamu obulungi’ kwe kwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obutayosa. (Matayo 24:14) Ka twenyigirenga n’obunyiikivu mu mulimu guno omukulu ennyo nga tumanyi nti eno ye ngeri emu ey’okukolamu ebirungi, nnaddala eri abo abaagala obubaka. N’ekisinga obukulu, obuweereza bwaffe n’empisa zaffe ennungi biweesa Yakuwa, ensibuko y’obulungi ekitiibwa.​—Matayo 19:16, 17.

Weeyongere ‘Okukola Ebirungi’

23. Lwaki obuweereza obw’Ekikristaayo mulimu mulungi?

23 Awatali kubuusabuusa, obuweereza bwaffe mulimu mulungi. Buyinza okutuviirako okulokolebwa awamu n’abo abawuliriza obubaka obuva mu Baibuli, era ne batandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. (Matayo 7:13, 14; 1 Timoseewo 4:16) Bwe tuba n’eby’okusalawo, okwagala okukola ekirungi kuyinza okutuleetera okwebuuza: ‘Kye nnaasalawo kinaakwata kitya ku mulimu gwange ogw’okubuulira Obwakabaka? Ddala kye njagala okukola kya muganyulo? Kinaansobozesa okuyamba abalala okukkiriza ‘amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe’ ne bafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda? (Okubikkulirwa 14:6) Tufuna essanyu lya maanyi bwe tusalawo mu ngeri etusobozesa okuwagira eby’Obwakabaka.​—Matayo 6:33; Ebikolwa 20:35.

24, 25. Ngeri ki gye tuyinza okukolamu ebirungi mu kibiina, era tuyinza kubeera bakakafu ku ki bwe tweyongera okukola obulungi?

24 Ka tuleme kubuusa maaso emiganyulo egiva mu kukola obulungi. Tuyinza okwoleka engeri eno nga tuwagira ekibiina Ekikristaayo era nga tukola kyonna kye tusobola okukuuma obulungi bwakyo. Mazima ddala, tuba tukola birungi bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa era ne tuzenyigiramu. Bwe tubeerawo, kizzaamu basinza bannaffe amaanyi, era ne bye tuddamu ebiba bitegekeddwa obulungi bibazimba mu by’omwoyo. Era tuba tukola bulungi bwe tukozesa eby’obugagga byaffe okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka era n’okuyamba mu kukirabirira obulungi. (2 Bassekabaka 22:3-7; 2 Abakkolinso 9:6, 7) Mazima ddala, “bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.”​—Abaggalatiya 6:10.

25 Tetuyinza kwogera ku buli mbeera gye tuyinza okwolekeramu obulungi. N’olwekyo, bwe twolekagana n’embeera empya, tunoonyereze amagezi okuva mu Byawandiikibwa, tusabe omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, era tukole kyonna ekisoboka okukola ebirungi era ebituufu by’ayagala. (Abaruumi 2:9, 10; 12:2) Tusobola okubeera abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tweyongera okwoleka obulungi.

Wandizzeemu Otya?

• Tuyinza tutya okukola ekisingirayo ddala obulungi?

• Lwaki obulungi buyitibwa ‘ekibala eky’ekitangaala’?

• Lwaki obulungi buyitibwa ‘ekibala eky’omwoyo’?

• Empisa zaffe ennungi ziyinza kuvaamu bibala ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu bituyamba okwoleka obulungi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]

Okwoleka obulungi kivaamu ebibala ebirungi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share