Koppa Obulungi bwa Yakuwa
1 Oluvannyuma lw’okunyumirwa okulaba enjuba ng’egolooba oba okulya ekijjulo ekiwoomu, muli tekitukubiriza okwebaza Yakuwa, Ensibuko y’ebintu ebirungi? Obulungi bwe butusikiriza okumukoppa. (Zab. 119:66, 68; Bef. 5:1) Tuyinza tutya okwoleka obulungi?
2 Bulage Abatakkiriza: Engeri emu mwe tuyinza okukoppa obulungi bwa Yakuwa kwe kufaayo ku abo abatali mu nzikiriza yaffe. (Bag. 6:10) Okubakolera ebirungi kirina kinene nnyo kye kikola ku ndowooza gye batulinako ng’Abajulirwa ba Yakuwa n’obubaka bwaffe.
3 Ng’ekyokulabirako, ng’alinda okulaba omusawo, ow’oluganda omuto akola nga payoniya yalinaana omukyala nnamukadde eyali alabika nga mulwadde nnyo okusinga abalala bonna abaaliwo. Ow’oluganda ono bwe yali ng’atuuse okulaba omusawo, yaleka omukyala ono ajjanjabibwe mu kifo kye. Oluvannyuma yaddamu okusisinkana omukyala oyo mu katale, era ku luno omukyala oyo yamusanyukira nnyo. Wadde ng’emabegako yali tasiima mawulire malungi, yagamba nti kati yali akitegedde nti Abajulirwa ba Yakuwa baagalira ddala baliraanwa baabwe. Baatandika okuyiga naye Baibuli.
4 Bulage Baganda Baffe: Era tukoppa obulungi bwa Yakuwa bwe tuyamba bakkiriza bannaffe. Mu biseera eby’obutyabaga, tuba bamu ku abo abawoma omutwe mu kudduukirira baganda baffe. Twoleka omwoyo gwe gumu bwe tuyamba abo abeetaga okutwalibwa mu nkuŋŋaana, bwe tukyalira abalina obunafu obw’amaanyi mu mubiri, era bwe tulaga okwagala abo be tutamanyi bulungi mu kibiina.—2 Kol. 6:11-13; Beb. 13:16.
5 Engeri endala Yakuwa mwalagira obulungi kwe kuba nti ‘ayanguwa okusonyiwa.’ (Zab. 86:5) Mu kumukoppa, tulaga okwagala kwaffe nga tusonyiwa abalala. (Bef. 4:32) Kino kisobozesa enkolagana yaffe ne bakkirizza bannaffe okuba ‘ennungi era esanyusa.’—Zab. 133:1-3.
6 Obulungi bwa Yakuwa obusukkiridde ka butuleetere okumutendereza era n’okubugaana essanyu. Era ka butuleetere okufuba okumukoppa mu buli kye tukola.—Zab. 145:7; Yer. 31:12.