Obulungi—Tuyinza Tutya Okubukulaakulanya?
FFENNA twagala abalala okututwala nti tuli bantu balungi. Naye mu nsi ya leero si kyangu okwoleka engeri ey’obulungi. Leero abantu bangi “tebaagala bulungi.” (2 Tim. 3:3) Abantu abasinga obungi leero bagoberera emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kirungi n’ekibi ne kiba nti ‘bayita ekirungi ekibi, ate ekibi ne bakiyita ekirungi.’ (Is. 5:20) Ate era embeera gye twakuliramu n’okuba nti tetutuukiridde nakyo kikifuula kizibu gye tuli okwoleka obulungi. Ekyo kiyinza okutuleetera okuwulira nga Anne.a Wadde ng’amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa, Anne agamba nti: “Kinkaluubirira okukkiriza nti nsobola okuba omuntu omulungi.”
Eky’essanyu kiri nti ffenna tusobola okukulaakulanya obulungi! Obulungi kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ate ng’omwoyo gwa Katonda gwa maanyi nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna ekiyinza okutulemesa okwoleka obulungi. Kati ka tulabe obulungi kye kitegeeza n’engeri gye tuyinza okwoleka engeri eyo mu bujjuvu.
OBULUNGI KYE KI?
Obulungi buzingiramu okuba n’empisa ennongoofu oba obutabaamu bwonoonefu bwonna. Omuntu omulungi bulijjo anoonya engeri gy’ayinza okuyambamu abalala era abakolera ebirungi.
Oyinza okuba ng’okirabye nti abantu abamu kibanguyira okukolera ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe ebintu ebirungi. Naye ekyo kyokka kye kifuula omuntu okuba omulungi? Kyo kituufu nti tetusobola kwoleka bulungi mu ngeri etuukiridde, kubanga Bayibuli egamba nti: “Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.” (Mub. 7:20) Omutume Pawulo yagamba nti: “Nkimanyi nti mu nze, kwe kugamba, mu mubiri gwange, temuli kirungi.” (Bar. 7:18) Kyeyoleka lwatu nti okusobola okukulaakulanya obulungi tulina okuyigira ku Yakuwa, Ensibuko y’obulungi.
“YAKUWA MULUNGI”
Yakuwa y’alina okututeerawo emitindo egikwata ku bulungi. Bayibuli emwogerako bw’eti: “Oli mulungi, ne by’okola birungi. Njigiriza amateeka go.” (Zab. 119:68) Kati ka twetegereze ebintu bibiri ebikwata ku bulungi bwa Yakuwa ebyogeddwako mu lunyiriri olwo.
Yakuwa mulungi. Yakuwa mulungi ekiseera kyonna. Lowooza ku ekyo ekyaliwo Yakuwa bwe yagamba Musa nti: “Nja kukusobozesa okulaba obulungi bwange bwonna.” Yakuwa yalaga Musa ekitiibwa kye awamu n’obulungi bwe. Musa yawulira eddoboozi nga lyogera bwe liti ku Yakuwa: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi, alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango.” (Kuv. 33:19; 34:6, 7) Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa mulungi mu buli ngeri. Wadde nga Yesu ye muntu eyasingayo okwoleka obulungi, yagamba nti: “Teri mulungi, okuggyako Katonda.”—Luk. 18:19.
Obulungi bwa Yakuwa bweyolekera mu bintu bye yatonda
Yakuwa by’akola birungi. Obulungi bweyolekera mu bintu byonna Katonda by’akola. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa mulungi eri bonna, era okusaasira kwe kweyolekera mu mirimu gye gyonna.” (Zab. 145:9) Olw’okuba Yakuwa mulungi, tasosola. Awa abantu bonna obulamu ne bye beetaaga okusobola okuba abalamu. (Bik. 14:17) Obulungi bwe era bweyolekera mu kuba nti atusonyiwa. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.” (Zab. 86:5) “Yakuwa talina kirungi kyonna ky’amma abo abatambulira mu bugolokofu.”—Zab. 84:11.
‘YIGA OKUKOLA EBIRUNGI’
Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tusobola okuba abalungi n’okukola ebirungi. (Lub. 1:27) Naye ekyo tekijja kyokka. Bayibuli etugamba nti: “Muyige okukola ebirungi.” (Is. 1:17) Naye tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eyo ennungi? Ka tulabe ebintu bisatu bye tuyinza okukola.
Ekisooka, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo omutukuvu. Omwoyo omutukuvu gutusobozesa okuba abalungi mu maaso ga Katonda. (Bag. 5:22) Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okwagala ebirungi n’okukyawa ekibi. (Bar. 12:9) Mu butuufu, Bayibuli egamba nti Yakuwa asobola ‘okutunyweza mu buli kikolwa ekirungi ne mu buli kigambo ekirungi.’—2 Bas. 2:16, 17.
Eky’okubiri, tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda. Bwe tukisoma, Yakuwa asobola okutuyigiriza “enkola yonna ey’ebintu ebirungi” era atusobozesa “okukola buli mulimu omulungi.” (Nge. 2:9; 2 Tim. 3:17) Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, tujjuza emitima gyaffe ebintu ebirungi ebikwata ku Katonda awamu n’ebyo by’ayagala. Mu ngeri eyo tuba twongera mu tterekero lyaffe ebintu bye tusobola okuggyayo oluvannyuma ne tubikozesa.—Luk. 6:45; Bef. 5:9.
Eky’okusatu, tusaanidde okufuba ‘okukoppa ebirungi.’ (3 Yok. 11) Mu Bayibuli mulimu bangi be tusobola okukoppa. Ekyokulabirako ekisingayo obulungi kye tusobola okukoppa kye kya Yakuwa ne Yesu. Naye waliwo n’ebyokulabirako ebirala eby’abantu abaali abalungi. Abamu ku bo ye Tabbiisa ne Balunabba. (Bik. 9:36; 11:22-24) Osobola okuganyulwa mu kyokulabirako kye bassaawo singa osoma ku ebyo Bayibuli by’eboogerako. Ng’obasomako, weetegereze ebyo bye baakola okuyamba abalala. Lowooza ku ebyo by’oyinza okukola okuyamba abali mu maka go oba mu kibiina kyo. Weetegereze engeri Tabbiisa ne Balunabba gye baaganyulwa mu kukolera abalala ebirungi. Naawe osobola okuganyulwa mu kukolera abalala ebirungi.
Ate era tusobola n’okulowooza ku bantu leero abakola ebirungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bakadde mu kibiina abakola ennyo era ‘abaagala ebirungi.’ Era lowooza ku bannyinaffe abeesigwa ‘abayigiriza ebirungi’ okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa. (Tit. 1:8; 2:3) Mwannyinaffe ayitibwa Roslyn agamba nti: “Mukwano gwange afuba okuyamba abalala mu kibiina n’okubazzaamu amaanyi, oluusi ne bwe kitaba kyangu. Alowooza ku mbeera yaabwe era atera okubawaayo obulabo oba okubayamba mu ngeri ezitali zimu. Nkiraba nti muntu mulungi.”
Yakuwa akubiriza abaweereza be ‘okunoonya ekirungi.’ (Am. 5:14) Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuleetera okweyongera okwagala emitindo gya Yakuwa n’okwagala okukola ebirungi.
Tusaanidde okufuba okuba abalungi n’okukola ebirungi
Okusobola okuba abalungi tekitegeeza nti tulina okukolera abalala ebintu ebinene oba okubawa ebirabo eby’ebbeeyi. Ng’ekyokulabirako: Omusiizi w’ebifaananyi bw’aba asiiga ekifaananyi tassa langi nnyingi ku bbulaasi n’asiiga olusiiga lumu, wabula agenda assaako langi ntonotono nga bw’asiiga. Mu ngeri y’emu, bwe tugifuula empisa yaffe okukoleranga abalala obuntu obutonotono obubayamba, tuba twoleka obulungi.
Bayibuli etukubiriza okuba ‘abeetegefu’ okukola ebirungi. (2 Tim. 2:21; Tit. 3:1) Bwe tufaayo ku mbeera abalala gye bayitamu, tusobola okulaba engeri gye tusobola okubasanyusaamu ‘ku lw’obulungi bwabwe, tusobole okubazimba.’ (Bar. 15:2) Kino kiyinza okutwaliramu okubaako kye tubawa. (Nge. 3:27) Tusobola okuyita omuntu ewaffe ne tuliirako wamu naye ekijjulo oba ne tunyumyako naye. Bwe tukitegeerako nti waliwo omuntu alwadde, tuyinza okumusindikirayo kakaadi, okumulambula, oba okumukubira essimu. Mu butuufu, tusobola okulaba engeri ezitali zimu mwe tusobola okwogerera “ekirungi ekisobola okuzimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.”—Bef. 4:29.
Okufaananako Yakuwa, naffe tufuba okukolera abantu bonna ebirungi. N’olwekyo, tetusosola mu bantu. Engeri emu ekyo gye tukiragamu kwe kubuulira bonna amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Nga Yesu bwe yalagira, tufuba okukolera abalala ebirungi nga mw’otwalidde n’abo abatatwagala. (Luk. 6:27) Si kibi okuba ab’ekisa n’okukolera abalala ebirungi kubanga ebintu “ng’ebyo tebiriiko tteeka libikugira.” (Bag. 5:22, 23) Bwe tweyongera okukola ebirungi ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa oba nga twolekagana n’ebizibu, tuyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga amazima ne bagulumiza Katonda.—1 Peet. 3:16, 17.
BWE TUKOLA EBIRUNGI TUGANYULWA
Bayibuli egamba nti: “Omuntu omulungi afuna empeera eva mu bikolwa bye.” (Nge. 14:14) Egimu ku miganyulo egiva mu kukola ebirungi gye giruwa? Bwe tukolera abalala ebirungi, emirundi mingi nabo batuyisa bulungi. (Nge. 14:22) Abalala ne bwe baba nga tebatuyisa bulungi, tulina okweyongera okubakolera ebirungi. Bwe tukola bwe tutyo, basobola okukyusa endowooza yaabwe ne batandika okutuyisa obulungi.—Bar. 12:20.
Ab’oluganda bangi ne bannyinaffe bakirabye nti okulekayo ebibi ne bakola ebirungi kibaganyudde nnyo. Lowooza ku Nancy. Agamba nti: “Nnakula seefiirayo, nga nneenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, era nga sissaamu balala kitiibwa. Naye bwe nnayiga emitindo gya Katonda egikwata ku kirungi era ne ngikolerako, nnafuna essanyu. Kati mpulira nga nnina ekitiibwa.”
Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okukulaakulanya obulungi eri nti, kisanyusa Yakuwa. Abalala ne bwe baba nga tebalaba birungi bye tukola, Yakuwa abiraba. Amanya ebirungi byonna bye tukola ne bye tulowooza. (Bef. 6:7, 8) Mpeera ki gy’atuwa? Bayibuli egamba nti: “Yakuwa asiima omuntu omulungi.” (Nge. 12:2) N’olwekyo ka tweyongere okukulaakulanya obulungi. Yakuwa asuubiza nti: “Buli muntu akola ebirungi ajja kufuna ekitiibwa n’emirembe.”—Bar. 2:10.
a Amannya agamu gakyusiddwa.