Oluyimba 80
Obulungi
Printed Edition
1. Kya ssanyu nnyo okumanya
’Bulungi bwa Yakuwa.
Nga Kitaffe w’omu ggulu,
’Ngeri ze zonna nnungi.
Alaga obusaasizi,
Obutatugwanira;
Tusaanye okumusinza
N’okumuweerezanga.
2. Yatutonda mu ngeri ye
Tukulaakulanyenga
Engeri zonna z’alina,
Omuli n’obulungi.
Twolekenga obulungi,
N’engeri ze endala.
Tusabenga omwoyo gwe,
Twolese ’ngeri zaagwo.
3. Newakubadde abantu
Bonna tubakolera
Ebirungi; Ba luganda,
Be tufaako ’kusinga.
Nga tubuulira abantu
’Njiri y’Obwakabaka,
Tulemenga kusosola;
Twoleke obulungi.
(Era laba Zab. 103:10; Mak. 10:18; Bag. 5:22; Bef. 5:9.)