OLUYIMBA 72
Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka
Printed Edition
	- 1. Ffenna twali tetumanyi - Kkubo ttuufu lya kukwata. - Twalaba omusana, - Oguva eri Yakuwa. - Twategeera by’ayagala: - ’Kugondera ’Bufuzi bwe, - ’Kutenda erinnya lye, - N’okuliweesanga ekitiibwa. - Tubuulira ’bantu bonna, - Mu mayumba ne ku nguudo. - Tubalaga amazima, - Ne gabafuula ba ddembe. - Ka tufub’o kubuulira - N’okubunyisa ’mazima, - ’Kutuusa lw’anaagamba - Nty’omulimu tugumalirizza. 
(Laba ne Yos. 9:9; Is. 24:15; Yok. 8:12, 32.)