OLUYIMBA 83
“Nnyumba ku Nnyumba”
Printed Edition
1. Tugenda ku buli nnyumba;
Tutwal’o bubaka.
Mu bibuga ne mu byalo,
’Ndiga ziriisibwa.
Enjiri y’Obwakabaka
Gye yalanga Yesu,
Ebuulirwa mu nsi yonna
’Bato n’abakulu.
2. Tugenda ku buli nnyumba;
Tubuulira wonna.
Abakoowoola Yakuwa
Balirokolebwa.
Balimukoowoola batya
Nga tebamumanyi?
Erinnya lye ka lituuke
Mu nnyumba gye bali.
3. Ka tutuuse mu buli nju
Obubaka buno.
Tuwe bonna akakisa
Okweronderawo.
Tumanyise ’linnya lya Ya
N’amazima gonna.
Bwe tubuulira nju ku nju,
’Ndiga tuzizuula.
(Laba ne Bik. 2:21; Bar. 10:14.)