Oluyimba 103
“Nnyumba ku Nnyumba”
Printed Edition
1. Buli nnyumba, buli luggi,
Tutwala ’bubaka.
Mu bibuga ne mu byalo,
’Ndiga ziriisibwa.
Enjiri y’Obwakabaka
Gye yalanga Yesu,
Ebuulirwa mu nsi yonna
’Bato n’abakulu.
2. Buli nnyumba, buli luggi;
Yonna tubuulira.
Abakoowoola Yakuwa
Balirokolebwa.
Balimukoowoola batya
Nga tebamumanyi?
Erinnya lye ka lituuke,
Mu nnyumba gye bali.
3. Ka tutuuse mu buli nju,
Obubaka buno.
’Bantu babe tebaagala,
Baneeronderawo.
Tumanyise ’linnya lya Ya,
N’amazima gonna.
Nga tubuulira nju ku nju,
’Ndiga tuzizuula.
(Era laba Bik. 2:21; Bar. 10:14.)