Emiganyulo Egiva mu Kusiima Okwagala kwa Yakuwa—Ekitundu 1
1 Omutume Yokaana yawandiika: “Ffe twagala kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yok. 4:19) Bwe tulowooza ku ebyo byonna Yakuwa by’atuwadde, kituleetera okulaga okusiima okw’amaanyi ennyo. Yesu yassaawo ekyokulabirako mu kukola ekyo ng’abuulira ebikwata ku linnya lya Katonda n’Obwakabaka. (Yok. 14:31) Kiba kya muganyulo okwekenneenya engeri ezimu mwe tuyinza okulagira nti tusiima okwagala kwa Yakuwa era n’emiganyulo egivaamu.
2 Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Yesu yayigiriza abayigirizwa be engeri y’okubuuliramu Obwakabaka. Obulagirizi bwe yabawa bulaga bulungi nti baabuulira nnyumba ku nnyumba nga basaasaanya amawulire amalungi. (Luk. 9:1-6; 10:1-7) Kitwetaagisa okwagala Katonda ne muliraanwa okusobola okweyongera okubuulira nnyumba ku nnyumba wadde nga tusanga abantu abateefiirayo era nga tuyigganyizibwa. Kyokka, bwe tubuulira nnyumba ku nnyumba, ffe kennyini tuganyulwa kubanga okukkiriza kwaffe kunywera, era tweyongera okubeera n’essuubi ettangaavu.
3 Olw’okuba tukola omulimu guno wansi w’obulagirizi bwa bamalayika, tufunye bangi abalumwa enjala n’ennyonta ey’okufuna amazima. (Kub. 14:6) Bannyinimu bangi bagambye nti baali basaba Katonda okufuna obuyambi mu kiseera ekyo kyennyini Abajulirwa kye baagenderamu mu maka gaabwe. Abajulirwa babiri n’omwana omuto baali babuulira nnyumba ku nnyumba mu kizinga ekiyitibwa Caribbean. Abakulu bwe baagamba nti ekiseera kyali kituuse baddeyo eka, omwana yagenda yekka ku nnyumba eyali eddako era n’akonkona. Omukyala yaggulawo oluggi. Abakulu bwe baalaba ekyo, baagenda ne boogera n’omukyala oyo. Omukyala oyo yabaaniriza okuyingira mu nnyumba era n’abagamba nti mu kiseera ekyo kyennyini, yali asaba Katonda asindike Abajulirwa bamuyigirize Baibuli!
4 Okubuulira ku Nguudo: Okuva bwe kiri ekizibu ennyo mu bifo ebimu okusanga abantu awaka, okubuulira ku nguudo ngeri nnungi nnyo ey’okuwaamu abantu obujulirwa. Okwongereza ku ekyo, abantu bangi babeera mu maka agaliko enkomera oba mu maka agakuumibwa ennyo nga tetuyinza kubuulirayo nnyumba ku nnyumba. Kyokka, okusiima kwe okwagala kwa Yakuwa kutukubiriza okukola kyonna ekisoboka nga mw’otwalidde n’okubuulira ku nguudo okusobola okutuukirira abantu n’obubaka bw’Obwakabaka.—Nge. 1:20, 21.
5 Okuddiŋŋana: Okuva bwe tunoonya abo ‘abafaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo,’ twagala okukola kyonna ekisoboka okumatiza obwetaavu obwo. (Mat. 5:3) Ekyo kiba kitegeeza nti tuddeyo tufukirire ensigo ez’amazima ze twasiga. (1 Kol. 3:6-8) Mwannyinaffe omu mu Australia yawa ka tulakiti omukyala eyali alabise ng’atalaze bulungi kusiima. Wadde kyali bwe kityo, mwannyinaffe yafuba nnyo okulaba nti addayo mu maka g’omukyala oyo. Bwe yamusanga, mwannyinaffe yakizuula nti omukyala oyo yali aguze Baibuli. Mwannyinaffe yatandika okumuyigiriza!
6 Okuyigiriza Abantu Baibuli: Kino kiyinza okuba nga kye kitundu eky’obuweereza bwaffe ekisingayo okunyuma ennyo era nga kivaamu emiganyulo. Nga mukisa gwa maanyi nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okubalaba nga bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okumusanyusa, ate era n’okubalaba nga babatizibwa ng’akabonero akooleka okwewaayo kwabwe eri Katonda!—1 Bas. 2:20; 3 Yok. 4.
7 Mu katabo kaffe akanaddako, tujja kwekenneenya engeri endala mwe tufunira emiganyulo olw’okulaga nti tusiima okwagala kwa Yakuwa.