Emiganyulo Egiva mu Kusiima Okwagala kwa Yakuwa—Ekitundu 2
1 Wansi w’omutwe guno omwezi ogwayita, twalaba engeri nnya mwe tuyinza okulaga nti tusiima okwagala kwa Yakuwa nga tuli mu nnimiro. (1 Yok. 4:9-11) Tujja kwongerayo engeri endala ttaano ez’okukolamu kino. Bwe twenyigira mu bujjuvu mu kuyamba abalala mu by’omwoyo tufuna emikisa.
2 Okubuulira Embagirawo: Engeri eno nnungi mu kuzuula abalina enjala n’ennyonta ey’obutuukirivu n’okubagabira ebitabo byaffe. Kya muganyulo ‘okwegulira ebiseera’ okubuulira mu buli mbeera n’eri buli yenna gwe tusanga. (Bef. 5:16) Bwe tukyalira ab’eŋŋanda tufube okufuna engeri y’okubabuuliramu. Twetaaga okuba n’obuvumu okubuulira mu ngeri eno, naye bwe tuba nga tusiima okwagala kwa Katonda era nga tufaayo ne ku byetaago by’abantu, tujja kubuulira buli we tufunira akakisa.—2 Tim. 1:7, 8.
3 Omuminsani yaganyulwa nnyo bwe yatandika emboozi ne musaabaze munne mu takisi. Omusaabaze oyo yalaga okusiima. Okuddiŋŋana kwakolebwa, era yatandika okuyigirizibwa Baibuli. Omusaabaze oyo yayiga amazima era n’akulaakulana n’afuuka omukadde mu kibiina.
4 Okuwandiika Amabaluwa: Oboolyawo tetusobola kubuulira nnyumba ku nnyumba olw’obulwadde oba embeera y’obudde embi. Tuyinza okuwandiika amabaluwa, ne tuwa obujulirwa obumpimpi abantu be tumanyi abafiiriddwa abaagalwa baabwe oba abo be tutasanze waka gye tuba tubuulidde. Mu bbaluwa tuyinza okuteekamu emu ku tulakiti zaffe erimu obubaka bwa Baibuli obusikiriza era obumukubiriza okutuddamu bw’aba alina ebibuuzo. Kozesa endagiriro yo oba ey’Ekizimbe ky’Obwakabaka, so si eya ofiisi y’ettabi.
5 Okubuulira ku Ssimu: Eno ngeri nnungi ey’okutuuka ku bantu mu bibuga ebinene n’ebitono be tutasobola kusanga mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Singa tukikola mu ngeri ey’amagezi, ey’ekisa era n’obukujjukujju, kiyinza okuvaamu ebibala ebirungi.
6 Mwannyinaffe omu bwe yali abuulira ku ssimu, yabuuza omukazi oba yali afumiitirizza ku biseera bye eby’omu maaso n’eby’ab’omu nju ye. Omukazi yaddamu nti yali akikoze. Yagamba nti, olw’okuggwamu essuubi yali yeesaze ku bantu. Ng’akwatiddwako olw’okufaayo kwa mwannyinaffe, omukazi ono yakkiriza basisinkane mu katale akaali okumpi. N’ekyavaamu, omukazi yakkiriza okuyiga Baibuli!
7 Okwaniriza Be Tutamanyi: Bwe tuba nga twagala baliraanwa baffe, tujja kuba bulindaala okwaniriza abantu be tutamanyi ababa bakyadde mu bifo gye tukuŋŋaanira. (Bar. 15:7) Abantu bano basaanye okuwulira nti bali mu abo ababafaako mu by’omwoyo. Okubafaako mu bwesimbu n’okubategeeza ku nteekateeka y’okubayigiriza Baibuli biyinza okubaleetera okukkiriza obuyambi bwaffe.
8 Enneeyisa Yaffe Ennungi: Empisa zaffe ennungi zisikiriza abantu eri amazima. (Tit. 2:10) Abantu b’ensi bwe batwogerako obulungi ng’Abajulirwa ba Yakuwa, kiweesa Katonda ettendo. (1 Peet. 2:12) Kino nakyo kiyinza okuyamba abantu okutandika okutambulira mu kkubo ery’obulamu.
9 Lwaki tewejjukanya engeri zino ettaano mwetulagira nti tusiima okwagala kwa Yakuwa era ozisse mu nkola? (1 Yok. 4:16) Ojja kufuna emikisa mingi bw’onookola bw’otyo.