OLUYIMBA 77
Ekitangaala mu Nsi ey’Ekizikiza
Printed Edition
	- 1. Mu nnaku zino enzibu - Ez’ekizikiza, - Waliwo ekitangaala - Ekyakaayakana. - (CHORUS) - Obubaka bwaffe - Buling’e kitangaala; - Bulimu essuubi. - ’Kiseera kituuse - Enzikiza ebe nga - Tekyaliwo. 
- 2. Kiseera kya kuzuukusa - Abo abeebase. - Tugumya; tubudaabuda - Bonna ’bali ng’abo. - (CHORUS) - Obubaka bwaffe - Buling’e kitangaala; - Bulimu essuubi. - ’Kiseera kituuse - Enzikiza ebe nga - Tekyaliwo. 
(Laba ne Yok. 3:19; 8:12; Bar. 13:11, 12; 1 Peet. 2:9.)