Oluyimba 143
Ekitangaala mu Nsi ey’Ekizikiza
Printed Edition
Wanula:
Mu nnaku zino enzibu,
Ez’ekizikiza,
Waliwo n’ekitangaala
Ekyakaayakana.
(CHORUS)
Obubaka bwaffe
Buli ng’ekitangaala;
Buleeta essuubi.
’Kiseera kituuse,
Enzikiza ebe nga
Tekyaliwo.
Kiseera kya kuzuukusa
Abo abeebase.
Tugumya, tubudaabuda
Bonna ’bali ng’abo.
(CHORUS)
Obubaka bwaffe
Buli ng’ekitangaala;
Buleeta essuubi.
’Kiseera kituuse,
Enzikiza ebe nga
Tekyaliwo.
(Era laba Yok. 3:19; 8:12; Bar. 13:11, 12; 1 Peet. 2:9.)