Oluyimba 149
Okusiima Yakuwa olw’Ekinunulo
Printed Edition
Wanula:
Yakuwa, Katonda
tuli mu maaso go,
Kubanga watulaga
okwagala kungi.
Wawaayo ’Mwana wo omu
gw’oyagala,
Kuba oyagala ’bantu
babe balamu.
(CHORUS)
Yesu yatufiiririra
Tusobole okuteebwa.
Okuviira
ddala ku mutima, tukwebaza.
Ne Yesu kyeyagalire
yajja ku nsi,
N’awaayo ’bulamu bwe
kuba yatwagala.
Kati tulina essuubi
ekkakafu,
Ery’okubeera ’balamu
’mirembe gyonna.
(CHORUS)
Yesu yatufiiririra
Tusobole okuteebwa.
Okuviira
ddala ku mutima, tukwebaza.
(Era laba Beb. 9:13, 14; 1 Peet. 1:18, 19.)