OLUYIMBA 85
Musembezaganye
Printed Edition
	- 1. Twaniriziddwa mu lukuŋŋaana - ’Kuyigirizibwa Yakuwa. - Y’ayigiriza bonna ’mazima; - Tuzze gy’ali n’omutima gwaffe gwonna. 
- 2. Twesiimye nnyo ’lwa baganda baffe; - N’essanyu, ’batwaniriza ffe. - Ka tweyongere okubaagala - Era naffe twanirize abalala. 
- 3. Katonda ky’ayagaliza bonna - Kwe kutegeera amazima. - Kati ffe tusembezeddwa gy’ali. - Ka tusembezenga ’balala gye tuli. 
(Laba ne Yok. 6:44; Baf. 2:29; Kub. 22:17.)