LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Apuli lup. 2
  • Baanirize n’Essanyu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baanirize n’Essanyu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Obujulirwa obw’Amaanyi Bujja Kuweebwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Yaniriza Abagenyi Baffe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Baanirize!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Tuyinza Tutya Okuyamba Abo Abanaabaawo ku Kijjukizo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Apuli lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Baanirize n’Essanyu

Kwaniriza baani? Abo ababa bazze mu nkuŋŋaana zaffe; ka babe bapya oba abo be tumanyi. (Bar 15:7; Beb 13:2) Ayinza okuba mukkiriza munnaffe okuva mu nsi endala oba oyo abadde amaze ekiseera nga tajja mu nkuŋŋaana. Teeberezaamu singa obadde ggwe, tewandyagadde bakwanirize n’essanyu? (Mat 7:12) N’olwekyo, ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, fuba okubuuza abo abazze mu nkuŋŋaana. Kino kinyweza enkolagana ebaawo mu kibiina era kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (Mat 5:16) Kyo kituufu nti kiyinza okuba ekizibu okubuuza buli omu. Naye ffenna bwe tufuba, abo ababa bazze mu nkuŋŋaana bajja kukiraba nti tubafuddeko.a

Ku buli lukuŋŋaana tusaanidde okufaayo ku abo ababa bazze mu nkuŋŋaana, so si kubafaako ku Kijjukizo kwokka oba ku nkuŋŋaana ennene. Abapya bwe balaba okwagala okuliwo mu kibiina, bayinza okukwatibwako ne batandika okusinza Yakuwa.​—Yok 13:35.

a Bayibuli eraga nti tetusaanidde kubuuza abo abaagobebwa mu kibiina oba abeeyawula ku kibiina, ka babe nga bazze mu nkuŋŋaana.​—1Ko 5:11; 2Yo 10.

Ow’oluganda ayaniriza abapya abazze mu nkuŋŋaana

ENGERI GY’OYINZA OKUYAMBAMU OYO ABA AZZE MU NKUŊŊAANA

  • Mweyanjulire era omubuuze erinnya lye

  • Mugambe ajje atuule naawe

  • Bw’aba talina Bayibuli, mukozese eyiyo n’akatabo ko ak’ennyimba

  • Ng’enkuŋŋaana ziweddde, beera mwetegefu okuddamu ebibuuzo by’ayinza okuba nabyo

  • Bw’aba talina amuyigiriza Bayibuli, kola enteekateeka ey’okumuyigiriza bwe kiba kisoboka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share