LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Maaki lup. 2
  • Yaniriza Abagenyi Baffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yaniriza Abagenyi Baffe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Baanirize!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Obujulirwa obw’Amaanyi Bujja Kuweebwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Tuyinza Tutya Okuyamba Abo Abanaabaawo ku Kijjukizo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Baanirize n’Essanyu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Maaki lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yaniriza Abagenyi Baffe

Nga Maaki 23, abantu abasukka mu bukadde 12 be basuubirwa okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bajja kuganyulwa nnyo omwogezi bw’anaaba annyonnyola ebikwata ku kinunulo, n’egimu ku mikisa abantu gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso! (Is 11:6-9; 35:5, 6; 65:21-23; Yok 3:16) Kyokka, omwogezi si ye yekka ajja okuwa obujulirwa ku mukolo guno omukulu ennyo. Ffenna tusobola okwenyigiramu nga twaniriza abagenyi n’essanyu. (Bar 15:7) Ka tulabe ebimu ku bye tuyinza okukola.

Omujulirwa wa Yakuwa ayaniriza omugenyi ku Kijjukizo; Omujulirwa wa Yakuwa ng’akozesa Bayibuli ye awamu n’abaganyi abazze ku Kijjukizo
  • Mu kifo ky’okutuula obutuuzi n’olinda programu etandike, yaniriza abagenyi n’essanyu nga mw’otwalidde n’abo abaggwaamu amaanyi abanaaba bazze

  • Wadde ng’ojja kufaayo nnyo ku abo b’onooba oyise, osaanidde okufaayo ne ku abo abanaaba bazze ku lwabwe. Saba abapya batuule naawe. Mukozese Bayibuli yo n’akatabo ko ak’ennyimba

  • Emboozi bw’eggwa, beera mwetegefu okuddamu ebibuuzo omupya by’ayinza okubuuza. Obudde bwe butabaawo olw’okuba waliwo ekibiina ekirala ekigenda okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, kola enteekateeka osobole okumukyalira oluvannyuma lw’ennaku ntono. Bw’oba tolina ndagiriro ye oba ennamba ye ey’essimu, oyinza okumugamba nti: “Nandyagadde okumanya engeri gye tuyinza okuddamu okusisinkana nsobole okuddamu ekibuuzo kyonna ky’oyinza okuba nakyo ekikwata ku mukolo guno?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share