Obujulirwa obw’Amaanyi Bujja Kuweebwa
1. Ng’oggyeko okwogera okunaaweebwa, kiki ekirala ekiyinza okuwa abagenyi obujulirwa ku Kijjukizo? Nnyonnyola.
1 Ddi? Ku mukolo gw’Ekijjukizo. Abantu bangi nnyo bayitiddwa okutwegattako ku mukolo guno. Abagenyi bye banaawulira si bye byokka ebiyinza okubawa obujulirwa. Ng’omukolo gw’Ekijjukizo guwedde, omukazi omu yayogera ku ebyo bye yalaba—buli omu yali ayoleka omukwano era ekizimbe kyali kirabika bulungi nga kiyonjo, so ng’ate baakola nga bannakyewa mu kukizimba era bwe batyo bwe bakola ne mu kukirabirira. N’olwekyo, si mwogezi yekka, naye ffenna tukolera wamu okuwa obujulirwa ku mukolo guno ogusingayo obukulu mu mwaka.—Bef. 4:16.
2. Buli omu ku ffe ayinza atya okuwa abagenyi obujulirwa?
2 Yoleka Omukwano ng’Olamusa Abagenyi: Bwe tunaaba n’akamwenyumwenyu era ne tuba basanyufu nga tulamusa abagenyi, kijja kubawa obujulirwa. (Yok. 13:35) Wadde ng’oyinza obutasobola kwogera na buli omu, osobola okwoleka omukwano ng’olamusa era nga weeyanjulira abo abanaakubeera okumpi. (Beb. 13:1, 2) Faayo ku bagenyi abalabika ng’abatalina gwe bamanyi. Oboolyawo baafuna akapapula akabaaniriza ku mukolo guno mu kaweefube eyakolebwa. Oyinza okubabuuza nti, “Leero lwe musoose okujja wano?” Basabe batuule wamu naawe era bategeeze nti oli mwetegefu okuddamu ekibuuzo kyonna kye bayinza okuba nakyo. Bwe kiba nti mulina kuvaamu mangu ab’ekibiina ekirala bakozese ekizimbe ekyo, oyinza okugamba abagenyi nti: “Nandyagadde okumanya endowooza yammwe ku ebyo ebibadde ku mukolo guno. Waliwo engeri yonna gye nnyinza okuddamu okubasisinkana?”
3. Ababuulizi abatakyabuulira tuyinza kubaaniriza tutya?
3 Yaniriza Abo Abatakyabuulira: Awatali kubuusabuusa, ababuulizi abatakyabuulira bajja kubaawo, nga mw’otwalidde n’abo abatatera kubaawo mu nkuŋŋaana zaffe naye nga teboosa kujja ku Kijjukizo. Baanirize, era obalage nti oli musanyufu nnyo okubalaba. (Bar. 15:7) Nga tewannayita kiseera kiwanvu oluvannyuma lw’Ekijjukizo, abakadde basaanidde okubakyalira basobole okubazzaamu amaanyi beeyongere okujja mu nkuŋŋaana. Tusuubira nti abantu bangi abanaabaawo ku Kijjukizo bajja kugulumiza Katonda, si olw’ebyo bye banaawulira byokka naye era ‘n’olw’ebikolwa byaffe ebirungi’ bye banaalaba.—1 Peet. 2:12.