Siima Yakuwa olw’Ekisa kye Ekyesigamiziddwa ku Kwagala
Ekijjukizo ky’Okufa kwa Kristo Kijja Kubaawo nga Maaki 24
1. Yakuwa atulaze atya ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala?
1 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Abantu ka batendereze Yakuwa olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala, era n’olw’ebikolwa bye eby’ekitalo by’akoledde abantu.” (Zab. 107:8, NW) Ekisa kya Katonda ekyesigamiziddwa ku kwagala kisingawo ku kuba nti afaayo ku bantu. Kino kyeyolekera bulungi mu bigambo bino eby’okutendereza ebyaluŋŋamizibwa: “Ekisa kyo ekyesigamiziddwa ku kwagala, Ai Yakuwa, kyampaniriranga.” (Zab. 94:18, NW) Nga Yakuwa yayoleka ekisa eky’ensusso bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ku lwaffe!—1 Yok. 4:9, 10.
2. Tuyinza tutya okwoleka okusiima eri Yakuwa?
2 Ng’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kigenda kisembera, tuyinza tutya okwoleka nti tusiima ‘Katonda olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala’? (Zab. 59:17, NW) Buli omu ku ffe yandiwaddeyo ebiseera okufumiitiriza ku nnaku za Yesu ezaasembayo ng’ali ku nsi. (Zab. 143:5) Ate era kijja kuba kya muganyulo okugoberera enteekateeka ey’enjawulo ey’okusoma Baibuli ey’omu kiseera ky’Ekijjukizo eri mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2005. Ate bwe kiba nga kisoboka, soma essuula 112-16 ez’ekitabo Greatest Man era onoonyereze ne mu bitabo ebirala ebikwata ku Baibuli. Tosoma ng’oyanguyiriza, wabula fuba okufumiitiriza ku ebyo by’osoma. (1 Tim. 4:15) Bwe tusaba era ne tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda, tekikoma ku kutuzimba mu bya mwoyo kyokka, naye era kyoleka nti twagala Yakuwa.—Mat. 22:37.
3, 4. (a) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya baganda baffe ab’omu Liberia? (b) Baani b’oteeseteese okuyita ku Kijjukizo?
3 Kubiriza Abalala Okusiima Katonda: Omwaka oguwedde, abantu 16,760,607 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu nsi yonna. Emyaka mitono egiyise, ab’oluganda mu kyalo ekimu eky’omu Liberia, baawandiikira omwami w’ekyalo ebbaluwa emutegeeza nti baali baagala okuba n’olukuŋŋaana ku kyalo ekyo olw’okujjukira eky’Ekiro kya Mukama waffe. Omwami oyo yabawa olukusa okukozesa ekisaawe ky’omupiira eky’ekyalo era n’ayisa n’ekirango ekikwata ku mukolo ogwo mu kitundu kyonna, ng’ayaniriza abantu bonna okubaawo. Wadde ng’ekyalo ekyo kyaliko ababuulizi bataano bokka, abantu 636 be baaliwo ku mukolo ogw’Ekijjukizo!
4 Mu ngeri y’emu, naffe twagala okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okutwegattako ku mukolo gw’Ekijjukizo. Lwaki tokola lukalala lw’abo b’oyagala okuyita? Ku lupapula olusembayo olwa Awake! aka Maaki 8 n’olwa Watchtower aka Maaki 15 kuliko ebigambo ebyaniriza bye tuyinza okweyambisa okuyita abantu. Tuyinza n’okukozesa obupapula obwaniriza abantu ku Kijjukizo. Wandiikako ekifo omukolo we gunaabeera n’ekiseera era okawe oyo gw’oyita. Nga Maaki 24 lunaatera okutuuka, ddayo eri abo be wayita obajjukize era okole nabo enteekateeka ezisembayo.
5. Tusobola tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
5 Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli abatannatandika kujja mu nkuŋŋaana okubaawo n’okuganyulwa mu mukolo guno? Buli lwe tuyiga nabo, tusaanidde okuwaayo eddakiika ntonotono okubayamba okuteegera obukulu bw’omukolo ogwo. Tuyinza okukozesa ebiri mu Watchtower aka Maaki 15, 2004 empapula 3-7, n’akatabo Reasoning, empapula 266-9.
6. Lwaki kikulu nnyo okwaniriza abagenyi ku mukolo gw’Ekijjukizo?
6 Yaniriza Abagenyi: Ku mukolo gw’Ekijjukizo, yaniriza abagenyi. (Bar. 12:13) Tuula n’abo be wayise era kakasa nti buli omu alina Baibuli n’akatabo k’ennyimba. Naddala tulina okwaniriza n’ebbugumu baganda baffe ne bannyinaffe ababadde tebakyajjumbira nkuŋŋaana naye nga bafubye okubaawo ku mukolo guno ogw’Ekijjukizo. Bwe tubafaako, kiyinza okubayamba okuddamu okunyiikirira enkuŋŋaana. (Luk. 15:3-7) Ka tukole kyonna ekisoboka okukubiriza abalala okutwegattako mu kusiima Yakuwa ‘olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala,’ ku mukolo guno ogusingayo okuba omutukuvu.—Zab. 31:21.