Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maaki 8
Oluyimba 16
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Bonna bajjukize okuleeta brocuwa empya ‘Laba Ensi Ennungi’ mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Febwali 15 ne Awake! aka Febwali 22.
Ddak. 15: Okukozesa Tulakiti Okutandika Okunyumya n’Abantu. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Ekitera okuba ekizibu ennyo mu kuwa obujulirwa, kwe kutandika okunyumya n’omuntu. Tulakiti ziyinza okukozesebwa okutandika okunyumya n’abantu ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, mu bifo by’obusuubuzi, ne mu bifo ebya lukale abantu gye bayinza okusangibwa. Mu bufunze, yogera ku tulakiti bbiri oba satu eziyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Bigambo ki ebiyinza okwogerwa mu nnyanjula ng’ogaba tulakiti ezo? Ebifaananyi biyinza kukozesebwa bitya? Bibuuzo ki ebiyinza okubuuzibwa mu ngeri ey’amagezi? Yogera ku katundu kamu mu buli tulakiti akayinza okukozesebwa singa nnyinimu alaga nti ayagala okumanya ebisingawo. Laga ekyokulabirako kimu ku ngeri y’okutandikamu okunyumya n’omuntu ng’okozesa tulakiti. Saba omubuulizi ayogere ku katundu kamu okuva mu tulakiti era akomekkereze ng’agaba akatabo Okumanya.
Ddak. 20: “Mwagalenga Yakuwa, Mmwe Mmwenna Abeesigwa gy’Ali.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bayiseemu abantu okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo.
Oluyimba 24 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 15
Oluyimba 21
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku nsonga enkulu eziri mu kitundu “Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo.” Bategeeze olunaku Omunaala gw’Omukuumi ogwa wiiki erimu Ekijjukizo lwe gujja okusomebwa.
Ddak. 15: Okwogera ku Byakakolebwa mu Kaweefube ow’Enjawulo mu Kiseera eky’Ekijjukizo. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku nteekateeka ez’enjawulo ezikoleddwa. Muweeyo ebyokulabirako ebizzaamu amaanyi. Kubiriza abo abasobola okukola nga bapayoniya abawagizi mu Apuli ne Maayi beewandiise. Mu bufunze yogera ku nsonga enkulu eziri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali.
Ddak. 20: Ganyulwa mu Brocuwa ‘Laba Ensi Ennungi.’ Brocuwa eno empya esobola okufuula okusoma kwaffe n’okuyiga Ekigambo kya Katonda okuba okw’amakulu ennyo. Okusobola okugiganyulwamu twetaaga okukozesa endagiriro yaayo. Soma Isaaya 63:1, awoogera ku Yakuwa ng’ava e Bozula. Saba bonna okuzuula ekigambo Bozula mu ndagiriro ya brocuwa “Ensi Ennungi.” Nnyonnyola “Bozula 11 G11” kye bitegeeza ng’okozesa akasanduuko akali ku lupapula 34, era zzuula Bozula ne Edomu ku mmaapu eragiddwa. Ng’okozesa endagiriro, zzuula ekkubo Yesu lye yayitamu ng’ava e Yerusaalemi okutuuka e Sukali. (Yok. 4:3-5) Era kola kye kimu okuzuula ekidiba ky’e Besesuda. (Yok. 5:1-3) Londayo ekifo kimu oba bibiri ebyayogerwako mu kusoma Baibuli mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Saba abawuliriza balage ebifo ebyo gye biyinza okusangibwa mu brocuwa era boogere n’engeri gye tuyinza okuganyulwa singa tukozesa mmaapu ezo. Mu bufunze yogera ku mmaapu ezimu eziri mu brocuwa n’ekyali kigenda mu maaso mu kiseera ekyo. Mmaapu eri ku lupapula 18 ne 19 eraga ebifo bingi nnyo ebyogerwako mu Baibuli. Bonna bakubirize okukozesa obulungi brocuwa ‘Laba Ensi Ennungi.’
Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 22
Oluyimba 85
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Bonna bakubirize okugoberera enteekateeka ey’okusoma Baibuli mu kiseera ky’Ekijjukizo okuva nga Maaki 30 okutuuka nga Apuli 4 nga bw’eragibwa mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2004 ne mu 2004 Calendar.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 20: “Okulumba kw’Eggye ly’Abeebagazi b’Embalaasi Okukukwatako.”b Musome era mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ng’ebiseera bwe bibasobozesa.
Oluyimba 81 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 29
Oluyimba 52
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maaki. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Apuli. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Maaki 1 ne Awake! aka Maaki 8.
Ddak. 15: Tulina Ebisaanyizo Okuyigiriza Abalala. Yogera ku nsonga eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2003, eziri mu wiiki etandika Ddesemba 1. Bonna bakubirize okufuna abayizi ba Baibuli era n’okubayigiriza obulungi.
Ddak. 20: Amazima Gagatta Wamu ab’Omu Maka. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Abaagala amazima batera okutya okuweereza Yakuwa olw’okuba baziyizibwa ab’omu maka gaabwe. Mukubaganye ebirowoozo ku byokulabirako ebiri mu Watchtower aka Jjanwali 1, 2002, empapula 14-15; Watchtower aka Ddesemba 1, 2000, olupapula 8; Watchtower aka Ssebutemba 1, 1999, olupapula 32; Watchtower aka Jjanwali 1, 1999, olupapula 4; ne Awake! aka Febwali 22, 1998, olupapula 31. Kiggumize nti obulamu bw’ab’omu maka butera okulongooka ne bwe kiba nti omuntu omu mu maka y’assa mu nkola emisingi gya Baibuli.
Oluyimba 53 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 5
Oluyimba 75
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku kitundu ekigamba “Engeri ey’Okubayambamu.” Bategeeze nti enteekateeka eno okusingira ddala y’abo aboogera olulimi olulala.
Ddak. 20: Obuyonjo mu Mubiri Bututenderezesa. Kwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjuuni 1, 2002, empapula 28-31. Lagayo ekyokulabirako ng’omukadde ategeeza payoniya engeri gy’ayinza okuyambamu omuyizi we owa Baibuli mu ngeri ey’amagezi okulaba obukulu bw’okukuumamu amaka ge nga mayonjo, ng’akozesa essomo 9, akatundu 5, mu brocuwa Atwetaagisa.
Ddak. 15: Yogera ku bintu ebirungi ebyaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo era ne mu kaweefube w’okubuulira mu Maaki.
Oluyimba 98 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.