Tuyinza Tutya Okuyamba Abo Abanaabaawo ku Kijjukizo?
1. Bujulirwa ki obw’amaanyi obujja okuweebwa nga Maaki 22, 2008?
1 Nga Maaki 22, 2008, obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna bajja kufuna obujulirwa obw’amaanyi. Abo abanaabaawo ku Kijjukizo bajja kuwulira ebikwata ku kwagala okw’amaanyi Yakuwa kwe yalaga abantu ng’ayitira mu nteekateeka y’ekinunulo. (Yok. 3:16) Bajja kuyiga ebikwata ku Bwakabaka era n’engeri Yakuwa gy’ajja okubukozesaamu okutuukiriza ebigendererwa bye eri ensi yonna. (Mat. 6:9, 10) Bajja kwerabirako n’agaabwe ku kwagala n’obumu ebiri mu bantu ba Katonda era n’engeri gye tunaabaanirizaamu n’essanyu.—Zab. 133:1.
2. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli abanaabaawo ku Kijjukizo?
2 Abayizi ba Baibuli: Mu abo abanaabaawo mwe muli n’abo abaakatandika okuyiga naffe Baibuli. Banjule eri baganda baffe ne bannyinaffe. Bategeeze ku nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki era obalambuze Ekizimbe ky’Obwakabaka. Omwogezi ajja kubakubiriza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Osobola okukozesa ebyo by’ayogedde okweyongera okubazzaamu amaanyi.
3. Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi ababuulizi abatakyajja mu nkuŋŋaana abanaabaawo ku Kijjukizo?
3 Abo Abatakyajja mu Nkuŋŋaana: Mu abo abanaabaawo ku Kijjukizo mwe muli n’ababuulizi abatakyajja mu nkuŋŋaana. Batuukirire era obabuuze n’ebbugumu. Weewale okubabuuza ebibuuzo ebibaweebuula oba okwogera ebintu ebiyinza okubaswaza. Oluvannyuma lw’ennaku entonotono ng’Ekijjukizo kiwedde, abakadde basaanidde okukyalira ababuulizi ng’abo abaaliwo ku Kijjukizo, okubeebaza olw’okufuba okujja ku mukolo ogwo, era n’okubayita okubaawo ku lukuŋŋaana lw’ekibiina olunaddako.
4. Buli omu ku ffe ayinza atya okuyamba abagenyi abanaaba baze ku Kijjukizo?
4 Abagenyi: Mikwano gyaffe oba ab’omu maka gaffe be twayita, bayinza okuba abamu ku abo abanaabaawo ku Kijjukizo. Abamu bayinza okuba nga baafuna akapapula akayita abantu okubaawo ku Kijjukizo bwe twali mu kaweefube ow’enjawulo. Bw’olaba abantu b’otamanyi, baanirize era obeeyanjulire. Guyinza okuba nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe. Bw’oba onyumya nabo, oyinza okumanya gye babeera oba okufuna endagiriro yaabwe. Oluvannyuma lw’ennaku entonotono ng’Ekijjukizo kiwedde, oyinza okubakyalira oba okubakubira essimu ng’obakubiriza okutandika okuyiga naawe Baibuli.
5. Biki bye tuyinza okwogera okusobola okutandika okuyigiriza abantu Baibuli?
5 Ebyo ebinaayogerwako mu mboozi eneeweebwa ku Kijjukizo biyinza okukozesebwa okwanjulira abantu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza nga tuzzeeyo okubakyalira. Ng’ekyokulabirako, oyo anaawa emboozi ku Kijjukizo ajja kusoma Isaaya 65:21-23. Ng’ozzeeyo okubakyalira, oyinza okwogera ku ebyo ebyali mu mboozi eyo era n’ogamba nti: “Ka nkulageyo emikisa emirala gye tunaafuna okuyitira mu kinunulo.” Oluvannyuma yogera ku ebyo ebiri ku lupapula 4-5 mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Oba oyinza okugamba nti, “Bangi beebuuza ekiseera obunnabbi bwa Isaaya lwe bulituukirizibwa.” Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku katundu 1-3 mu ssuula 9. Oba oyinza okwogera ku ebyo ebyali mu mboozi eyaweebwa ku Kijjukizo, oluvannyuma n’omwanjulira akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’omulaga engeri gye tukakozesaamu okusoma n’abantu Baibuli.
6. Nga tugondera ekiragiro kya Yesu eky’okujjukira okufa kwe, kakisa ki ke tulina?
6 Ka ffenna tufube okuyamba abayizi ba Baibuli, ababuulizi abatakyajja mu nkuŋŋaana, n’abagenyi abanaabaawo ku Kijjukizo. (Luk. 22:19) Mazima ddala, Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe bwe tunaagaziya ku buweereza bwaffe obw’Obwakabaka.