OLUYIMBA 90
Tuzziŋŋanemu Amaanyi
Printed Edition
	- 1. Bwe tuzziŋŋanamu amaanyi - Nga tuweereza Yakuwa, - Tweyongera okwagalana - N’okuba obumu ffenna. - Okwagala okuli mu ffe - Kutuyamba okunywera. - Ekibiina bwe buddukiro - Era ffe kye kitukuuma. 
- 2. ’Kigambo ekituukirawo - Ddala kitusanyusa nnyo. - Tuwulir’e bigambo ng’ebyo - Okuva mu b’oluganda. - Kirungi ’kukolera ’wamu - Ne baganda baffe bonna. - Buli omu azimba munne, - Ffenna ne tuyambagana. 
- 3. Nga bwe lugenda lusembera - Olunaku lwa Yakuwa, - Tulina okukuŋŋaananga - Tunywerere mu mazima. - Ffenna ng’abantu ba Yakuwa, - Tuweererezenga wamu. - Ka tuzziŋŋanemu amaanyi - Tukuum’o bwesigwa bwaffe. 
(Laba ne Luk. 22:32; Bik. 14:21, 22; Bag. 6:2; 1 Bas. 5:14.)