EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 ABASSESSALONIKA 1-5
“Muzziŋŋanengamu Amaanyi era Muzimbaganenga”
Buli Mukristaayo asobola okuzzaamu abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, tuzzaamu Bakristaayo bannaffe amaanyi bwe tubaawo mu nkuŋŋaana era ne twenyigira mu buweereza obutayosa, wadde nga tuli balwadde oba nga tulina ebizibu ebirala. (1Se 2:2) Ate era, bwe tusooka ne tulowooza ku ky’okwogera era ne tunoonyereza, tusobola okuzzaamu abalala amaanyi.
Wa w’oyinza okuggya ebinaakuyamba okumanya engeri gy’oyinza okuzzaamu omuntu amaanyi?
Ani mu kibiina gw’oyagala okuzzaamu amaanyi?