OLUYIMBA 93
Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe
Printed Edition
1. Tukwebaza nnyo Yakuwa,
Olw’enkuŋŋaana zaffe.
Otuwenga omukisa
Nga tuzze mu nkuŋŋaana.
2. Nga tukuŋŋaanye Yakuwa,
Tuliise ’Kigambo kyo.
Tuyigiriz’o kwogera
Awamu n’okwagala.
3. Kitaffe tuwe ’mikisa,
Emirembe, n’obumu,
Buli kimu kye tukola
Kikuweese ’kitiibwa.
(Laba ne Zab. 22:22; 34:3; Is. 50:4.)