Oluyimba 20
Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe
Printed Edition
1. Otuwenga omukisa,
Nga tuzze mu nkuŋŋaana.
Tukwebaza nnyo, Yakuwa;
Olw’enkuŋŋaana zaffe.
2. Otuyambenga Yakuwa;
Tuliise ’Kigambo kyo.
Tuyigiriz’o kwogera,
Awamu n’okwagala.
3. Kitaffe tuwe ’mikisa
Emirembe n’obumu.
Buli kimu kye tukola
Kikuweese ’kitiibwa.
(Era laba Zab. 22:22; 34:3; Is. 50:4.)