OLUYIMBA 108
Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka
Printed Edition
1. Katonda kwagala.
Tuli bakakafu ddala.
Yawaayo ’Mwana we Yesu
N’afiirira buli muntu.
Kati tulin’e ssuubi lya
Bulamu bwa lubeerera.
(CHORUS)
’Bayonta mujje munywe
Amazzi ’g’obulamu.
’Kwagala kwa Katonda
Tekujjulukuka.
2. Katonda kwagala.
Ye by’akola bikiraga.
Olw’okwagala kw’alina
Yafuula Yesu kabaka.
Obwakabaka bwe obwo
Bwa kujja; buli kumpi nnyo!
(CHORUS)
’Bayonta mujje munywe
Amazzi ’g’obulamu.
’Kwagala kwa Katonda
Tekujjulukuka.
3. Katonda kwagala.
Tufub’o kumufaanana.
Ka tuyambenga ’balala
Okumanya by’ayagala.
Ka tubuulirenga bonna
Awatali kusosola.
(CHORUS)
’Bayonta mujje munywe
Amazzi ’g’obulamu.
’Kwagala kwa Katonda
Tekujjulukuka.
(Laba ne Zab. 33:5; 57:10; Bef. 1:7.)