EKITUNDU EKY’OKUSATU
‘Nja Kubakuŋŋaanya’—Yakuwa Asuubiza Okuzzaawo Okusinza Okulongoofu
OMULAMWA: Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo
Abayisirayiri bali mu mbeera nzibu nnyo era tebakyali bumu olw’okuva ku kusinza okw’amazima n’olw’okuvvoola erinnya lya Katonda. Bwe kityo, Yakuwa awa Ezeekyeri obunnabbi obuwa abantu essuubi. Ng’akozesa engero n’okwolesebwa okutali kumu, Yakuwa azzaamu amaanyi Abayisirayiri abali mu buwambe awamu n’abalala bonna abaagala okulaba ng’okusinza okulongoofu kuzzibwawo.