EKITUNDU EKY’OKUTAANO
“Nnaabeeranga mu Bantu”—Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo
OMULAMWA: Ebintu ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa ne kye bituyigiriza ku kusinza okulongoofu
Yakuwa yawa nnabbi Ezeekyeri n’omutume Yokaana okwolesebwa okulimu ebintu ebifaanagana. Ebintu ebiri mu kwolesebwa okwo bituyamba okumanya engeri gye tuyinza okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima era n’okumanya obulamu bwe buliba mu Lusuku lwa Katonda nga tufugibwa Obwakabaka bwe.