EKITUNDU EKISOOKA
“EGGULU NE LIBIKKULIBWA”
OMULAMWA: Okwolesebwa okukwata ku ebyo ebiri mu ggulu
Tewali muntu asobola kulaba Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna n’asigala nga mulamu. (Kuv. 33:20) Naye Yakuwa yawa Ezeekyeri okwolesebwa okukwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye. Okwolesebwa okwo kutuwuniikiriza nnyo era kutuleetera okwongera okusiima enkizo gye tulina ey’okusinza Katonda omu ow’amazima.